Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 They brought the ark of our Father and set it inside the tent that David had pitched for it, and they offered burnt offerings and peace offerings before our Father. Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda.
2 When David had finished offering the burnt offerings and peace offerings, he blessed the people in the name of our Father. Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama,
3 And he distributed to every Israelite, both men and women, a loaf of bread, a date cake, and a raisin cake. era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.
4 He appointed some of the Levites to minister before the ark of our Father, to invoke, to give thanks, and to praise our Father. Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri.
5 Asaph was the chief, and second to him were Zechariah, then Jeiel, Shemiramoth, Jehiel, Mattithiah, Eliab, Benaiah, Obed-edom, and Jeiel, with harps and lyres; and Asaph sounded the cymbals. Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa.
6 Benaiah and Jahaziel the priests were to blow the trumpets regularly before the ark of the covenant of our Father. Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.
7 On that day David first appointed Asaph and his brothers to give thanks to our Father: Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:
8 Give thanks to our Father; call upon his name; proclaim his deeds among the peoples! Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
9 Sing to him; sing praises to him; tell of all his wondrous works! Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza mwogere ku byamagero bye byonna.
10 Exult in his holy name; let the hearts of those who seek our Father rejoice! Erinnya lye ligulumizibwe, n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.
11 Seek our Father and his strength; seek his presence continually! Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge; munoonye amaaso ge ennaku zonna.
12 Remember the wondrous works that he has done, his miracles and the judgments he pronounced. Mujjukire ebyewuunyo by’akoze, n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,
13 You children of Israel his servant, you sons of Jacob, his chosen ones! mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be, mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
14 He is our Father; his judgments are in all the earth. Ye Mukama Katonda waffe; okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.
15 Remember his covenant forever, the word he commanded for 1,000 generations, Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna, n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,
16 the covenant he made with Abraham, his sworn oath to Isaac, gye yakola ne Ibulayimu, era n’agirayiza Isaaka.
17 which he confirmed to Jacob as a statute, to Israel as an everlasting covenant, N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo, n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,
18 saying, "To you I will give the land of Canaan as your allotted inheritance." ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”
19 When you were few in number, of little importance, and strangers in the land, Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono, era omutono ddala, nga batambuze mu yo,
20 wandering from nation to nation, from one kingdom to another people, baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala, n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.
21 he allowed no one to oppress them; he rebuked kings on their account, Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza; weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:
22 "Do not touch my anointed ones, and do my prophets no harm!" ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, so bannabbi bange temubakolanga akabi.”
23 Sing to our Father, all the earth! Proclaim his salvation day after day. Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.
24 Publish his glorious deeds among the nations; tell every people the amazing things he has done! Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.
25 For great is our Father, and most worthy of praise; he is to be feared above all gods. Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa; era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.
26 For all the gods of the peoples are idols, but our Father made the heavens. Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu.
27 Splendor and majesty are before him; strength and joy are in his dwelling. Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge, amaanyi n’essanyu biri wamu naye.
28 Ascribe to our Father, all families of the peoples, ascribe to our Father glory and strength! Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna, mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
29 Ascribe to our Father the glory due his name; bring an offering and come before him! Worship our Father in the splendor of holiness. Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge; musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.
30 Tremble before him, all the earth! Indeed, the world is firmly established; it will never be moved. Mukankane mu maaso ge ensi yonna, weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.
31 Let the heavens be glad, and let the earth rejoice, and let them say among the nations, "Our Father reigns!" Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze; boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”
32 Let the sea roar, and all that fills it; let the fields exult, and everything in them! Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna, n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo!
33 Then the trees of the forest will sing for joy before our Father, for he comes to judge the earth. Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba, ginaayimbira Mukama n’essanyu, kubanga akomawo okusalira ensi omusango.
34 Give thanks to our Father, for he is good; for his covenant love endures forever! Weebaze Mukama kubanga mulungi; era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
35 Say also: "Save us, our Father; gather us and rescue us from among the nations, that we may give thanks to your holy name and exult in your praise." Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga, twebaze erinnya lyo ettukuvu, era tujagulize mu ttendo lyo.”
36 Blessed be our Father, from everlasting to everlasting! Then all the people said, "Amen!" and praised our Father. Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri ow’emirembe n’emirembe. Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”
37 So David left Asaph and his brothers there before the ark of the covenant of our Father, to minister regularly before the ark as each day required, Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku.
38 and Obed-edom with his sixty-eight brothers; Obed-edom son of Jeduthun and Hosah were to be gatekeepers. Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.
39 And Zadok the priest and his fellow priests served before the tabernacle of our Father at the high place that was at Gibeon, Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni
40 to offer burnt offerings to our Father on the altar of burnt offering regularly, morning and evening, according to all that is written in the law of our Father, which he commanded Israel. okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri.
41 With them were Heman and Jeduthun and the rest of those chosen and designated by name to give thanks to our Father, for his covenant love endures forever. Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo.
42 Heman and Jeduthun had with them trumpets and cymbals to sound, and instruments for the sacred songs of our Father. The sons of Jeduthun were stationed at the gate. Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.
43 Then all the people departed, each to his home, and David turned to bless his own household. Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]