Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 15 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 David built houses for himself in the city of David, prepared a place for the ark of our Father, and pitched a tent for it. Dawudi bwe yamala okwezimbira embiri ze mu kibuga kya Dawudi, n’ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n’agikubira eweema.
2 Then David said, "No one but the Levites is to carry the ark of our Father, for our Father chose them to carry his ark and serve him forever." Awo Dawudi n’ayogera nti, “Tewali muntu yenna akkirizibwa kusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi, kubanga Mukama be yalonda okugisitula, era n’okumuweerezanga ennaku zonna.”
3 David gathered all Israel at Jerusalem to bring the ark of our Father up to its prepared place. Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna mu Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde.
4 He gathered together the descendants of Aaron and the Levites: N’ayita abazzukulu ba Alooni n’Abaleevi:
5 from the sons of Kohath, Uriel the leader, with 120 of his relatives; ku bazzukulu ba Kokasi, Uliyeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu abiri;
6 from the sons of Merari, Asaiah the leader, with 220 of his relatives; ku bazzukulu ba Merali, Asaya omukulembeze ne baganda be bibiri mu abiri;
7 from the sons of Gershom, Joel the leader, with 130 of his relatives; ku bazzukulu ba Gerusomu, Yoweeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu asatu;
8 from the sons of Elizaphan, Shemaiah the leader, with 200 of his relatives; ku bazzukulu ba Erizafani, Semaaya omukulembeze ne baganda be ebikumi bibiri,
9 from the sons of Hebron, Eliel the leader, with eighty of his relatives; ku bazzukulu ba Kebbulooni, Eryeri omukulembeze ne baganda be kinaana;
10 from the sons of Uzziel, Amminadab the leader, with 112 of his relatives. ku bazzukulu ba Wuziyeeri, Amminadaabu omukulembeze ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri.
11 David called the priests Zadok and Abiathar, and the Levites Uriel, Asaiah, Joel, Shemaiah, Eliel, and Amminadab. Awo Dawudi n’atumya Zadooki ne Abiyasaali bakabona, ne Uliyeri, ne Asaya, ne Yoweeri, ne Semaaya, ne Eryeri ne Amminadaabu Abaleevi,
12 He said to them, "You are heads of the Levite families. Dedicate yourselves, you and your relatives, to bring up the ark of our Father to the place I have prepared for it. n’abagamba nti, “Mmwe bakulembeze mu nnyumba z’Abaleevi, era mmwe ne baganda bammwe mujja kwetukuza, mulyoke mwambuse essanduuko ya Mukama Katonda wa Isirayiri, okugiteeka mu kifo kye ngitegekedde.
13 Because you did not carry it the first time, our Father broke out against us, since we did not seek him properly." Kubanga mmwe temwagisitula omulundi ogwasooka Mukama Katonda waffe kyeyava atusunguwalira, olw’obutamwebuuzaako okutegeera nga bwe kyalagibwa.”
14 So the priests and the Levites consecrated themselves to bring up the ark of our Father. Awo bakabona n’Abaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya Mukama, Katonda wa Isirayiri.
15 The Levites carried our Father's ark on their shoulders with the poles, as Moses commanded, by the word of our Father. Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Mukama ku bibegabega byabwe n’emisituliro gyako, nga Musa bwe yalagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
16 David told the Levite leaders to appoint their relatives as singers, raising joyful voices to lyres, harps, and cymbals. Awo Dawudi n’alagira abakulembeze b’Abaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa.
17 The Levites appointed Heman son of Joel; his relative Asaph son of Berechiah; and their relatives the Merarites, Ethan son of Kushaiah. Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri, ku baganda be ne balonda Asafu mutabani wa Berekiya, ne ku batabani ba Merali, baganda baabwe, ne balonda Esani mutabani wa Kusaya;
18 And with them, their relatives of second rank: Zechariah, Jaaziel, Shemiramoth, Jehiel, Unni, Eliab, Benaiah, Maaseiah, Mattithiah, Eliphelehu, Mikneiah, Obed-edom, and Jeiel, the gatekeepers. ne baganda baabwe abaabaddiriranga nga be ba Zekkaliya, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yeyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Benaaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, n’abaggazi Obededomu ne Yeyeeri,
19 The singers Heman, Asaph, and Ethan were to sound the bronze cymbals; ne Kemani, ne Asafu, ne Esani abayimbi abaalina okukuba ebitaasa eby’ebikomo;
20 Zechariah, Aziel, Shemiramoth, Jehiel, Unni, Eliab, Maaseiah, and Benaiah were to play the harps according to Alamoth; ne Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya ne Benaya baali baakukuba entongooli ez’ekyalamosi;
21 and Mattithiah, Eliphelehu, Mikneiah, Obed-edom, Jeiel, and Azaziah were to lead with lyres according to the Sheminith. naye Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeri, ne Azaziya baali baakukulemberamu nga bakuba ennanga ez’ekiseminisi.
22 Chenaniah, chief of the Levites, was in charge of the singing; he directed the music because he was skilled. Kenaniya omukulembeze w’Abaleevi mu by’okuyimba, avunaanyizibwe eby’okuyimba kubanga yali mukugu mu byo.
23 Berechiah and Elkanah were to be gatekeepers for the ark. Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera.
24 Shebaniah, Joshaphat, Nethanel, Amasai, Zechariah, Benaiah, and Eliezer, the priests, were to blow the trumpets before the ark of our Father; Obed-edom and Jehiah were gatekeepers for the ark. Sebaniya, ne Yosafaati, ne Nesaneri, ne Amasayi, ne Zekkaliya, ne Benaya, ne Eryeza be bakabona abaafuuwanga amakondeere mu maaso g’essanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yekiya n’abo baali baggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera.
25 David, Israel's elders, and the commanders of thousands went to bring the ark of our Father's covenant up from Obed-edom's house with joy. Awo Dawudi n’abakadde aba Isirayiri, n’abaduumizi b’enkumi ne bagenda okwambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu nga basanyuka.
26 Because our Father helped the Levites carrying the ark of our Father's covenant, they sacrificed seven bulls and seven rams. Olw’okubeera Katonda kwe yabeera Abaleevi abaali basitudde essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baawaayo sseddume z’ente musanvu ne z’endiga musanvu nga ssaddaaka.
27 David wore a fine linen robe, as did all the Levites carrying the ark, the singers, and Chenaniah, leader of the singing; David also had on a linen ephod. Dawudi yali ayambadde olugoye olwa linena, ng’Abaleevi bonna abaali basitudde essanduuko, era ng’abayimbi ne Kenaniya eyali avunaanyizibwa okuyimba. Dawudi yali ayambadde n’ekkanzu eya linena.
28 All Israel brought up the ark of our Father's covenant with shouts of joy, horn blasts, trumpets, and cymbals, sounding harps and lyres. Awo Isirayiri yenna ne bambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama nga baleekaana n’amaloboozi ag’essanyu, n’eddoboozi ery’eŋŋombe, ery’amakondeere, n’ebitaasa, era nga bakuba nnyo entongooli n’ennanga.
29 As the ark of our Father's covenant entered the city of David, Michal daughter of Saul looked through the window. When she saw King David dancing and celebrating, she despised him in her heart. Awo essanduuko ey’endagaano ya Mukama bwe yali ng’eyingizibwa mu kibuga kya Dawudi, Makali muwala wa Sawulo n’alingiza mu ddirisa, n’alaba Kabaka Dawudi ng’azina era ng’ajjaguza, n’amunyooma mu mutima gwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]