Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 14 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Hiram king of Tyre sent messengers to David, with cedar logs, masons, and carpenters, to build him a house. Kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri.
2 David knew our Father had made him king over Israel, for his kingdom was raised high for the sake of his people Israel. Awo Dawudi n’ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era nga n’obwakabaka bwe bwagulumizibwa nnyo olw’abantu ba Mukama Isirayiri.
3 And David took more wives in Jerusalem, and he fathered more sons and daughters. Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala mu Yerusaalemi, ne bamuzaalira abaana abalala bangi aboobulenzi n’aboobuwala.
4 These are the names of the children born to him in Jerusalem: Shammua, Shobab, Nathan, and Solomon, Amannya g’abaana abaamuzaalirwa ge gaano: Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani,
5 Ibhar, Elishua, Elpelet, ne Ibukali, ne Eriswa, ne Erupereti,
6 Nogah, Nepheg, Japhia, ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya,
7 Elishama, Beeliada, and Eliphelet. ne Erisaama, ne Beeriyadda, ne Erifereti.
8 When the Philistines heard David was anointed king over all Israel, all of them went up seeking David. David heard and went out to face them. Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulirako era n’agenda okubatabaala.
9 Now the Philistines had come and raided the Valley of Rephaim. Abafirisuuti baali bazze nga bazinze ekiwonvu Lefayimu;
10 David asked our Father, "Will I go up against the Philistines? Will you hand them over to me?" So our Father told him, "Go up, and I will hand them over to you." Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende ntabaale Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”
11 They went up to Baal-perazim; David struck them there. David said, "Our Father broke through my enemies by my hand like a breaking flood." So they named that place Baal-perazim. Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu.
12 And the Philistines abandoned their gods there, and David gave orders, and they were burned. Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’alagira okwokya balubaale abo.
13 Once more the Philistines raided the valley. Abafirisuuti ne badda, ne bazinda ekiwonvu.
14 David asked our Father again, and our Father said, "Don't go up after them. Circle around them and come at them from opposite the balsam trees. Awo Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku Mukama, Mukama n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda.
15 When you hear marching sound in the balsam treetops, then go out to battle—for your Father has gone out ahead of you to strike the Philistine troops." Awo bw’onoowulira eddoboozi ery’okukumba waggulu mu mitugunda, onootabaala, kubanga ekyo kinaategeeza nti Katonda akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.”
16 David did as our Father commanded him, and they struck the Philistine army from Gibeon to Gezer. Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, ne bazikiriza eggye ly’Abafirisuuti, okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.
17 And David's fame spread throughout all the lands, and our Father made all the nations dread him. Awo ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna, Mukama n’aleetera amawanga gonna okutya Dawudi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]