Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 David consulted with the commanders of thousands and of hundreds, with every leader. Dawudi n’ateesa n’abaduumizi be ab’enkumi n’ab’ekikumi.
2 David said to Israel's whole assembly, "If it seems good to you, and if it is from our Father, let us send word far and wide to our remaining brothers in all the lands of Israel, and with them the priests and Levites in their cities and pasturelands, to gather to us. N’ayogera eri ekkuŋŋaaniro ly’abantu bonna aba Isirayiri nti, “Bwe munaasiima, era nga kwe kusiima kwa Mukama Katonda waffe, ekigambo kitwalibwe era kibune eri baganda baffe mu nsi yonna eya Isirayiri, n’eri bakabona, n’Abaleevi ababeera nabo mu bibuga byabwe ne mu malundiro, bajje batwegatteko.
3 Let us bring the ark of our Father back to us, since we did not seek it in Saul's days." Tukomyewo essanduuko ya Katonda waffe, kubanga tetwamwebuuzangako mu mirembe gya Sawulo.”
4 And the whole assembly agreed to do so, for it seemed right to all the people. Olukuŋŋaana lwonna ne likikiriziganyako, kubanga ky’alabika nga kigambo kirungi mu maaso g’abantu bonna.
5 David gathered all Israel from Shihor of Egypt to Lebo-hamath, to bring the ark of our Father from Kiriath-jearim. Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna okuva ku Sikoli omugga gw’e Misiri okutuuka ku wayingirirwa e Kamasi, n’aleeta essanduuko ya Katonda okugiggya e Kiriyasuyalimu.
6 David and all Israel went up to Baalah, Kiriath-jearim in Judah, to bring up from there the ark of our Father, seated above the cherubim, where his Name is proclaimed. Dawudi n’Abayisirayiri bonna ne bagenda e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda okuggyayo essanduuko ya Katonda atuula ku ntebe ey’obwakabaka wakati wa bakerubi, eyitibwa erinnya lya Mukama.
7 They carried the ark of our Father on a new cart from Abinadab's house; Uzza and Ahio drove it. Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya okuva mu nnyumba ya Abinadaabu, nga Uzza ne Akiyo be bagikulembera.
8 David and all Israel celebrated before our Father with all their strength—songs, lyres, harps, tambourines, cymbals, trumpets. Dawudi ne Isirayiri yenna ne basanyuka nnyo mu maaso ga Katonda n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba nga bakuba entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa, n’ebisaala, n’amakondeere.
9 When they came to Kidon's threshing floor, Uzza reached out to grab the ark, because the oxen stumbled. Bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, ente ezaali zisika essanduuko ne zeesittalamu, Uzza n’agolola omukono gwe okutereeza essanduuko.
10 Then our Father's anger burned against Uzza, and he struck him down for reaching out his hand to the ark; he died there before our Father. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n’afiirawo, kubanga yakwata ku ssanduuko. N’afiira mu maaso ga Katonda.
11 David was angry that our Father burst out against Uzza, so the place is called Perez-uzza to this day. Awo Dawudi n’anyiiga nnyo kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, era ekifo ekyo ne kituumibwa Perezuzza, ne leero.
12 David feared our Father that day, saying, "How can I bring the ark of our Father to me?" Dawudi n’atya nnyo Katonda ku lunaku olwo, n’abuuza nti, “Nnyinza ntya okuleeta essanduuko ya Katonda gye ndi?”
13 So David did not bring the ark to the city of David; he turned it aside to Obed-edom the Gittite's house. Awo n’atatwala ssanduuko mu kibuga kya Dawudi, naye n’agitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
14 The ark of our Father stayed with Obed-edom's household in his house three months, and our Father blessed Obed-edom's household and all he owned. Essanduuko ya Katonda n’ebeera mu maka ga Obededomu okumala emyezi esatu, ne Mukama n’awa ennyumba ye n’ebintu bye byonna omukisa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]