Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 19 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Some time later, Nahash king of the Ammonites died, and his son became king in his place. Awo oluvannyuma lw’ebyo, nga wayiseewo ebbanga, Nakasi kabaka w’Abamoni n’afa, mutabani we n’amusikira.
2 David said, "I'll show kindness to Hanun son of Nahash, since his father showed kindness to me." So David sent messengers to comfort him over his father. But when David's servants came to the land of the Ammonites, to Hanun, to comfort him, Dawudi n’alowooza nti, “Nzija kulaga ebyekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga ne kitaawe yankolera ebyekisa.” Awo Dawudi n’amuweereza ababaka okumukubagiza nga kitaawe amaze okufa. Naye abasajja ba Dawudi bwe baatuuka eri Kanuni mu nsi ey’Abamoni okumukubagiza,
3 Ammon's commanders told Hanun, "Does David really honor your father by sending you comforters? Haven't his servants come to you to search out, overthrow, and spy on the land?" abakungu b’abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti, “Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, bwakuweerezza abakubagizza? Era olowooza nga, abasajja be tebazze kulawuna na kuketta nsi era na kugirya?”
4 Hanun seized David's servants, shaved them, cut their garments in half at the hips, sent them away. Awo Kanuni n’alagira abasajja ba Dawudi bakwatibwe, n’abamwako enviiri n’abasalako n’ebirevu, n’asala ebyambalo byabwe wakati okukoma ku nnyuma, n’oluvannyuma n’abagoba baddeyo.
5 When they told David about the men, he sent messengers to meet them, since they were badly ashamed. The king said, "Stay in Jericho till your beards grow, then return." Awo Dawudi bwe yawulira bye baakola abasajja be yatuma, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo.”
6 When the Ammonites saw they'd become a stench to David, Hanun and the Ammonites sent about thirty-eight tons of silver to hire chariots and horsemen from Aram-naharaim, Aram-maacah, and Zobah. Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga Dawudi abanyiigidde; bo ne kabaka waabwe Kanuni ne baweereza ttani eza ffeeza amakumi asatu mu nnya e Mesopotamiya n’e Alamumaaka, ne Zoba, okubeyazikako amagaali n’abeebagala embalaasi.
7 They hired 32,000 chariots, plus the king of Maacah and his troops, who came and camped opposite Medeba. The Ammonites gathered from their cities and came out to fight. Beeyazika amagaali n’abeebagala embalaasi emitwalo esatu mu enkumi bbiri, era ne kabaka w’e Maaka n’eggye lye, abajja okumwegattako ne basiisira okumpi ne Medeba. Abaana ba Amoni bo baakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bagenda okutabaala.
8 When David heard of it, he sent Joab and the whole army of fighting men. Olwawulira ekyo, Dawudi n’aweereza Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira.
9 The Ammonites marched out and lined up for battle at the city's entrance, while the kings who had come stood alone in the field. Abamoni ne bavaayo bategeke okutabaala nga basimbye ennyiriri ku wankaaki w’ekibuga kyabwe, ate nga bakabaka abaali bazze okubayamba baali bokka ku ttale.
10 Joab saw the battle was set against him, front and rear, so he chose Israel's best troops and lined them up against the Arameans. Awo Yowaabu bwe yalaba ng’abalabe bamutabaala mu maaso n’emabega, n’alonda mu basajja be, abasajja abazira mu Isirayiri, era abo n’abaweereza okulwana n’Abasuuli.
11 He put the rest of the troops under his brother Abishai, and they lined up against the Ammonites. Abalala n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, ne bagenda okulwana n’Abamoni.
12 Joab said, "If Aram overpowers me, rescue me; if Ammon overpowers you, I'll rescue you. Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Abasuuli bwe banaaba nga bansinza amaanyi, onojja n’ombeera, naye Abamoni bwe banaaba nga bakusinza amaanyi nange nzija kujja nkubeere.
13 Be strong; let us fight courageously for our people and our Father's cities, and may our Father do what is good in his eyes." Guma omwoyo, tulwanirire abantu baffe n’ebibuga bya Katonda waffe n’obuzira. Mukama akole ng’okusiima kwe bwe kuli.”
14 Then Joab and the troops with him advanced to fight the Arameans, and they fled before him. Awo Yowaabu n’abalwanyi be yalina ne batabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka.
15 Seeing Aram had fled, the Ammonites also fled before Abishai his brother and came into the city. Joab then came to Jerusalem. Abaana ba Amoni bwe balaba ng’Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne bayingira ekibuga. Awo Yowaabu n’addayo e Yerusaalemi.
16 When the Arameans saw that Israel had defeated them, they sent messengers and brought out the Arameans from beyond the Euphrates, with Shophach, commander of Hadadezer's army, at their head. Abasuuli bwe baalaba nga Isirayiri abawangudde, ne batuma ababaka, okuggyayo Abasuuli abaali emitala w’Omugga Fulaati, nga Sofaki omuduumizi ow’eggye lya Kadalezeri yabakulembedde.
17 David was told; he gathered all Israel, crossed the Jordan, came against them, and lined up for battle. David lined up for battle against the Arameans, and they fought him. Awo Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’asomoka Yoludaani nabo, n’agenda n’abalumba n’asimba ennyiriri ng’abesimbye mu maaso. Dawudi n’atandika okulwana n’Abasuuli, n’abo ne bamulwanyisa.
18 The Arameans fled before Israel. David killed 7,000 of their charioteers and 40,000 foot soldiers, then killed Shophach, commander of their army. Naye Abasuuli ne badduka Isirayiri, era Dawudi n’atta abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ena. Ate n’atta ne Sofaki omuduumizi w’eggye lyabwe.
19 When Hadadezer's servants saw Israel had defeated them, they made peace with David and served him. Aram was no longer willing to help the Ammonites. Awo abantu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne batabagana ne Dawudi era ne bafuuka abaddu be; so n’Abasuuli tebakkiriza kuyamba abaana be Amooni nate.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]