Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 At the turn of the year, when kings march to war, Joab led the army out and devastated the Ammonites' land, then came and besieged Rabbah, while David stayed in Jerusalem. Joab struck Rabbah and tore it down. Awo mu biro, bakabaka mwe bagenderanga okulwana, Yowaabu n’akulembera eggye, n’azisa ensi y’abaana ba Amoni, ate era n’azingiza Labba. Naye Dawudi ye n’asigala mu Yerusaalemi, Yowaabu ye n’alumba Labba, n’akizikiriza.
2 David took the crown from the head of their king. It weighed about seventy-five pounds of gold and was set with a precious stone, and it was placed on David's head. He also carried off a great amount of plunder from the city. Awo Dawudi n’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agitikka ku mutwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga ekyo.
3 He brought out its people and put them to work with saws, iron picks, and axes. David did the same to all the Ammonite cities. Then David and his whole army returned to Jerusalem. Yatwala abantu abaali mu kibuga ekyo n’abawa emirimu nga bakozesa n’emisumeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi. Bw’atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni, oluvannyuma ye n’eggye lye lyonna ne baddayo e Yerusaalemi.
4 After this, war broke out with the Philistines at Gezer. At that time Sibbecai the Hushathite killed Sippai, one of Rapha's descendants, and the Philistines were subdued. Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebyo ne wabalukawo entalo n’Abafirisuuti e Gezeri. Mu kiseera ekyo Sibbekayi Omukusasi n’atta Sippayi omu ku bazzukulu b’agasajja aganene ddala, era ne bawangula Abafirisuuti.
5 War broke out again with the Philistines. Elhanan son of Jair killed Lahmi, brother of Goliath the Gittite, whose spear shaft was as thick as a heavy wooden beam. Mu lutalo olulala n’Abafirisuuti, Erukanani mutabani wa Yayiri n’atta Lakani muganda wa Goliyaasi Omugitti, eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.
6 Once more war broke out at Gath, where there was a huge man, six fingers on each hand and six toes on each foot, twenty-four in all—also born to Rapha. Mu lutalo olulala olwali e Gaasi, waaliwo omusajja omuwanvu ennyo eyali omu ku bazzukulu b’agasajja aganene, ng’alina engalo mukaaga ku buli mukono, n’obugere mukaaga ku buli kigere.
7 When he taunted Israel, Jonathan son of Shimea, David's brother, struck him down. Yasoomooza nnyo Isirayiri, era Yonasaani mutabani wa Simeeyi, muganda wa Dawudi n’amutta.
8 These were born to Rapha in Gath, and fell by the hand of David and his servants. Abo bonna baali bazzukulu ba lisajja Laafa ow’e Gaasi, era bonna ne bagwa mu mikono gya Dawudi n’abasajja be.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]