Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now the Accuser rose up against Israel and incited David to count Israel. Awo Setaani n’atandika okulwana ne Isirayiri, Dawudi n’asendebwasendebwa okubala Abayisirayiri.
2 David told Joab and the army's commanders, "Go, count Israel from Beersheba to Dan, and report to me, so I may know their number." Dawudi n’alagira Yowaabu, n’abaduumizi b’eggye nti, “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, mukomewo, muntegeeze bwe beenkana.”
3 Joab said, "May our Father add to his people a hundredfold! My lord king, are all these not my lord's servants? Why does my lord ask for this? Why bring guilt on Israel?" Naye Yowaabu n’amuddamu nti, “Mukama ayongere ku bantu be, n’okusingawo emirundi kikumi. Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange, kale kiki ekimukoza kino? Lwaki aleetera Isirayiri emitawaana?”
4 But the king overrode Joab, so Joab went out, traveled through all Israel, then came to Jerusalem. Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ebya Yowaabu, era Yowaabu n’agenda n’abuna Isirayiri yonna, n’akomawo e Yerusaalemi.
5 Joab gave David the census count: All Israel had one million 100,000 swordsmen, Judah 470,000 swordsmen. Yowaabu n’ategeeza Dawudi omuwendo gw’abasajja abalwanyi. Mu Isirayiri mwalimu abasajja abalwanyi akakadde kamu n’emitwalo kkumi, ng’okwo kw’otadde emitwalo amakumi ana mu emitwalo musanvu abaali mu Yuda.
6 He did not count Levi and Benjamin, for Joab detested the king's command. Naye teyabalirako Baleevi n’Ababenyamini, kubanga ekiragiro kya kabaka tekyasanyusa Yowaabu.
7 This was deeply wrong in our Father's sight, so he struck Israel. Ekikolwa ekyo ky’okubala abantu, kyali kya kivve mu maaso ga Katonda era n’abonereza Isirayiri.
8 Then David said to our Father, "I have sinned greatly in doing this. Now, please take away your servant's guilt, for I have acted very foolishly." Awo Dawudi n’agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekikolwa ekyo. Kaakano, nkusaba ogyewo obutali butuukirivu obw’omuddu wo, kubanga nkoze ekintu eky’obusirusiru ennyo.”
9 And our Father spoke to Gad, David's seer: Mukama Katonda n’ayogera ne nnabbi Gaadi eyaluŋŋamyanga Dawudi nti,
10 Go and say to David, "Your Father says: I hold three things over you—choose one of them, and I will do it to you." “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: nkuteekeddewo eby’okulondako bisatu, weerobozeeko ekimu kye nnaakukola.’ ”
11 Gad came to David and said to him, "This is what our Father says: 'Choose for yourself, Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ku bisatu:
12 either three years of famine, or three months swept before your foes as their sword overtakes you, or three days of the sword of our Father: plague in the land, the angel of our Father destroying throughout all Israel's territory.' Now decide what answer I bring back to the one who sent me." emyaka esatu egy’enjala, oba emyezi esatu egy’okumalibwawo abalabe bo, oba ennaku ssatu ez’ekitala kya Mukama Katonda, kawumpuli agwe mu nsi, ne malayika wa Mukama azikirize abantu mu bitundu byonna ebya Isirayiri.’ Kale nno, ssalawo kye mbanziramu oyo antumye.”
13 David told Gad, "I'm in great distress. Let me fall into our Father's hand, for his compassion is very great—but not into the hand of man." Dawudi n’addamu Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo. Wakiri ka ngwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi, okusinga okugwa mu mukono gw’omuntu.”
14 So our Father sent a plague on Israel, and 70,000 men of Israel fell. Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri, abantu emitwalo musanvu ne bafa.
15 And our Father sent an angel to destroy Jerusalem; but as the angel destroyed it, our Father saw and relented from the calamity, and said to the angel, "Enough! Stay your hand." The angel of our Father stood by the threshing floor of Ornan the Jebusite. Ate era Katonda n’atuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, n’alumwa nnyo olw’ebyo byonna, n’alagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
16 David looked up and saw the angel of our Father standing between earth and heaven, sword drawn in hand, reaching out over Jerusalem. Then David and the elders, covered in sackcloth, fell facedown. Dawudi n’ayimusa amaaso ge, n’alaba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde wakati w’ensi n’eggulu ng’asowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n’abakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe.
17 David said to our Father, "Was it not I who ordered the people counted? I am the one who sinned and did great evil. But these sheep—what have they done? O my Father, let your hand be against me and my father's house, not against your people with plague." Dawudi n’agamba Katonda nti, “Si nze nalagira abantu babalibwe? Nze nnyonoonye, era nkoze ebibi. Bano ndiga, kiki kye bakoze? Ayi Mukama Katonda wange, ombonereze nze ne nnyumba yange, naye toganya kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”
18 The angel of our Father told Gad to have David go up and build an altar to our Father at Ornan the Jebusite's threshing floor. Awo malayika wa Mukama Katonda n’alagira Gaadi okugamba Dawudi ayambuke, azimbire Mukama ekyoto ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
19 So David went up at Gad's direction, which he had spoken in the name of our Father. Awo Dawudi n’agondera ekigambo Gaadi kye yayogera mu linnya lya Mukama Katonda, n’ayambuka.
20 Ornan turned and saw the angel; his four sons with him hid. He had been threshing wheat. Laba Olunaani bwe yali ng’awuula eŋŋaano, n’akyuka n’alaba malayika wa Mukama, ne batabani be abana abaaliwo ne beekweka.
21 When David came to Ornan, Ornan looked and saw David, left the threshing floor, and bowed to David, face to the ground. Awo Dawudi bwe yasembera okumpi ne Olunaani we yali, Olunaani n’amulaba, n’ava mu gguuliro, n’amuvuunamira.
22 David said to Ornan, "Give me this threshing-floor site so I can build an altar to our Father on it; give it to me at full price, so the plague is held back from the people." Dawudi n’amugamba nti, “Mpa ekifo egguuliro lyo mwe liri, nzimbire Mukama ekyoto, nange n’asasula omuwendo gwakyo gwonna, kawumpuli ave ku bantu.”
23 Ornan said to David, "Take it. Let my lord the king do what he sees fit. Look, I give the oxen for burnt offerings, the threshing sledges for wood, and the wheat for the grain offering—I give it all." Olunaani n’addamu Dawudi nti, “Kitwale! Mukama wange kabaka akole nga bw’asiima. Laba, nzija kukuwa ziseddume z’onoowaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebintu ebiwuula ng’enku, n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky’obutta. Ebyo byonna nzija kubikuwa.”
24 But King David said to Ornan, "No, I will surely buy it at full price. I won't take what is yours for our Father, or offer burnt offerings that cost me nothing." Naye Dawudi n’agamba Olunaani nti, “Nedda, maliridde okusasula omuwendo omujjuvu. Sijja kutwalira Mukama ekikyo, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bye sisasulidde.”
25 So David paid Ornan about fifteen pounds of gold for the site. Awo Dawudi n’agula ekifo kya Olunaani kilo musanvu eza zaabu.
26 David built an altar there to our Father, offered burnt offerings and peace offerings, and called on our Father, who answered him with fire from heaven on the altar of burnt offering. Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto mu kifo ekyo, era n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, ng’akoowoola Mukama, era Mukama n’amuddamu n’omuliro okuva mu ggulu ogwaka ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
27 Then our Father commanded the angel, and he put his sword back into its sheath. Awo Mukama Katonda n’alagira malayika okuzaayo ekitala kye mu kiraato kyakyo.
28 At that time, when David saw our Father had answered him at Ornan the Jebusite's threshing floor, he sacrificed there. Okuva mu kiseera ekyo, Mukama bwe yaddamu Dawudi ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, Dawudi n’aweerangayo ssaddaaka eyo.
29 Moses had made the tabernacle of our Father in the wilderness; it, with the altar of burnt offering, stood then at Gibeon's high place. Mu biro ebyo Eweema ya Mukama, Musa gye yali azimbidde mu ddungu, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa byali mu kifo ekigulumivu e Gibyoni.
30 David could not go there to seek our Father, for he feared the sword of the angel of our Father. Naye Dawudi yali tasobola kugendayo kwebuuza ku Katonda, kubanga yali atya ekitala kya malayika wa Mukama Katonda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]