Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 22 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 David said, "This is the house of our Father, and this the altar of burnt offering for Israel." Awo Dawudi n’ayogera nti, “Wano we wanaabeeranga ennyumba ya Mukama Katonda, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku lwa Isirayiri.”
2 David ordered the foreigners in Israel gathered, then appointed stonecutters to cut dressed stones for building the house of our Father. Dawudi n’alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu Isirayiri, era mu bo n’alondamu abatemi b’amayinja, bagabajje nga kuzimbisa nnyumba ya Mukama.
3 David provided abundant iron for gate-door nails and clamps, and abundant bronze beyond weighing, Yateekawo ebyuma bingi olw’okukola emisumaali egy’enzigi egya wankaaki, n’olwebigatta, n’ebikomo bingi ebyayinga obungi n’obuzito.
4 and cedar timbers beyond counting, for the Sidonians and Tyrians brought David cedar logs in abundance. Yawaayo n’emivule egitabalika, Abazidoni n’Abatuulo gye baamuleetera.
5 For David said, "My son Solomon is young and untested, and the house built for our Father must be truly great, famed, and glorious in every land. Let me prepare for it." So David laid in vast provisions before he died. Dawudi n’ayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto n’obumanyirivu bwe butono. Ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey’ekitiibwa ekinene ennyo, ng’eyatiikirira era ng’etenderezebwa mu mawanga gonna. Noolwekyo nzija kuteekateeka ebinaagizimba.” Era Dawudi yakola entegeka nnene ddala nga tannaba kufa.
6 Then he called Solomon his son and charged him to build a house for our Father of Israel. Awo n’ayita Sulemaani mutabani we n’amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ennyumba.
7 David told Solomon, "My son, I had it in my heart to build a house for my Father's name. Dawudi n’agamba Sulemaani nti, “Mwana wange, kyali mu mutima gwange okuzimba ennyumba ku lwa Mukama Katonda wange.
8 The word of our Father came to me: 'You have shed much blood and fought great wars. You will not build a house for my name, because you have shed so much blood on the earth before me.' Naye ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, ‘Oyiye omusaayi mungi, era olwanye entalo nnyingi. Tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oyiye omusaayi mungi mu maaso gange.
9 A son will be born to you, a man of rest; I will give him rest from all his enemies around him. His name will be Solomon; I will give Israel peace and quiet in his days. Laba, omwana owoobulenzi alizaalibwa gy’oli, era aliba omusajja ow’emirembe, ne muwa emirembe eri abalabe bonna enjuuyi zonna. Aliyitibwa Sulemaani. Ndiwa Isirayiri emirembe n’obutebenkevu ku mulembe gwe.
10 He will build a house for my name. He will be my son, and I his father. I will secure his royal throne over Israel forever. Oyo ye alizimba ennyumba ku lw’erinnya lyange. Aliba mutabani wange, nange ndiba kitaawe. Era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe mu Isirayiri emirembe gyonna.’
11 Now, my son, may our Father be with you, so that you may succeed and build the house of your Father, as he said about you. “Kaakano, mwana wange, Mukama abeere naawe, era olabe omukisa, ozimbire Mukama Katonda wo ennyumba, nga bwe yayogera.
12 Only, may our Father give you wisdom and understanding when he puts you in charge of Israel, to keep the law of your Father. Mukama akuwe amagezi ag’okwawula n’okutegeera ng’okulembera Isirayiri, olyoke okuumenga amateeka ga Mukama Katonda wo.
13 Then you'll prosper, if you carefully keep the statutes and rules our Father commanded Moses for Israel. Be strong and brave. Don't be afraid or discouraged. Olwo onoolaba omukisa bw’oneekuumanga ebiragiro n’amateeka Mukama ge yawa Musa ku lwa Isirayiri. Beera n’amaanyi era gguma omwoyo, totya so totekemuka.
14 See, with great effort I've provided for the house of our Father nearly 4,000 tons of gold, about 34,000 tons of silver, and bronze and iron beyond weighing—there's so much. I've also provided timber and stone; you may add to them. “Mu kutegana okungi ntegekedde yeekaalu ya Mukama ttani eza zaabu enkumi ssatu mu bina mu ataano, ne ttani eza ffeeza emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bitaano; n’ebikomo n’ebyuma bingi nnyo ebitapimika muwendo gwabyo, n’embaawo n’amayinja. Ate okyayinza n’okwongerako.
15 You have many workers with you: stonecutters, masons, carpenters, and all kinds of craftsmen skilled in every trade. Olina abakozi bangi; abatemi b’amayinja, n’abazimbi, n’ababazzi, n’abantu bonna abalina obumanyirivu mu kuweesa
16 Skilled with gold, silver, bronze, and iron beyond count. Rise up and work; may our Father be with you." zaabu ne ffeeza, n’ebikomo, n’ekyuma. Kaakano tandikirawo okukola era Mukama akuluŋŋamye.”
17 David also commanded all the leaders of Israel to help Solomon his son, saying, Awo Dawudi n’alagira abakulembeze bonna aba Isirayiri okuyamba mutabani we Sulemaani ng’agamba nti,
18 "Isn't your Father with you? Hasn't he given you rest on every side? For he has given the land's people into my hand, and the land is subdued before our Father and his people. “Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde okuwummula n’emirembe ku njuyi zonna? Agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange, era ensi ekkakkanye eri Mukama n’eri abantu be.
19 Now set your heart and soul to seek your Father. Arise and build the sanctuary of our Father, to bring the ark of his covenant and his holy vessels into the house built for his name." Kaakano mumalirire mu mitima gyammwe ne mu mmeeme zammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe. Mutandike okuzimba awatukuvu wa Mukama, n’oluvannyuma muleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama, n’ebintu ebitukuvu ebya Katonda mu yeekaalu eneezimbibwa ku lw’erinnya lya Mukama.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]