Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 23 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When David was old and had lived many years, he made his son Solomon king over Israel. Awo Dawudi bwe yawangaala ennyo n’akaddiwa emyaka mingi n’afuula Sulemaani mutabani we okuba kabaka wa Isirayiri.
2 He gathered together all the leaders of Israel, along with the priests and the Levites. Era yakuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri bonna, wamu ne bakabona n’Abaleevi.
3 The Levites thirty years old or older were counted, and their total number was 38,000. Abaleevi abaali baweza emyaka amakumi asatu n’okusingawo baabalibwa, n’omuwendo gw’abasajja bonna gwali emitwalo esatu mu kanaana.
4 Of these, 24,000 were to oversee the work of our Father's house; 6,000 were officers and judges. Awo Dawudi n’agamba nti, “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya be banaalabiriranga omulimu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate kakaaga banaabanga bakungu n’abalamuzi.
5 4,000 were gatekeepers, and 4,000 praised our Father with instruments David made for praise. Enkumi nnya banaabanga baggazi, ate enkumi ennya abasigaddewo be banatenderezanga Mukama n’ebivuga bye nateekateeka ku lw’okutendereza.”
6 And David divided them into divisions according to the sons of Levi: Gershon, Kohath, and Merari. Awo Dawudi n’agabanyamu Abaleevi mu bibinja ng’abaana ba Leevi bwe baali: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
7 Of the Gershonites: Ladan and Shimei. Abaana ba Gerusoni baali Ladani ne Simeeyi.
8 The sons of Ladan: Jehiel the chief, then Zetham and Joel, three in all. Batabani ba Ladani baali Yekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu bonna awamu.
9 Shimei's sons: Shelomoth, Haziel, and Haran—three. These were Ladan's family heads. Batabani ba Simeeyi baali Seromisi, ne Kasiyeri, ne Kalani, basatu bonna awamu, era be baali abakulu b’ennyumba ya Ladani.
10 And the sons of Shimei: Jahath, Zina, Jeush, and Beriah. These four were the sons of Shimei. Batabani ba Simeeyi omulala Yakasi, ne Zina, ne Yewusi ne Beriya, be bana bonna awamu.
11 Jahath was chief, Zizah second; Jeush and Beriah had few sons, so they were counted together as one family, one assignment. Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali owookubiri, naye Yewusi be Beriya tebaalina baana noolwekyo baabalibwa ng’ekika kimu era nga bakola omulimu gwe gumu.
12 The sons of Kohath: Amram, Izhar, Hebron, and Uzziel, four in all. Batabani ba Kokasi baali Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri, be bana.
13 The sons of Amram: Aaron and Moses. Aaron was set apart to consecrate the most holy things, he and his sons forever, to make offerings before our Father, to serve him, and to bless in his name forever. Batabani ba Amulaamu baali Alooni ne Musa. Alooni yayawulibwa, ye n’abazzukulu be emirembe gyonna, atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, okuwangayo ssaddaaka eri Mukama, n’okumuweerezanga, era n’okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna.
14 But Moses, man of our Father—his sons were counted among Levi's tribe. Batabani ba Musa omusajja wa Katonda babalibwa nga ba mu kika kya Leevi.
15 The sons of Moses: Gershom and Eliezer. Batabani ba Musa baali Gerusomu ne Eryeza.
16 The sons of Gershom: Shebuel the chief. Mu bazzukulu ba Gerusomu, Sebweri ye yali omukulu.
17 Eliezer's sons: Rehabiah the chief. Eliezer had no other sons; Rehabiah's sons were very numerous. Mu bazzukulu ba Eryeza, Lekabiya ye yali omukulu. Eryeza teyalina baana balala, naye batabani ba Lekabiya baali bangi ddala.
18 The sons of Izhar: Shelomith the chief. Mu batabani ba Izukali, Seromisi ye yali omukulu.
19 The sons of Hebron: Jeriah the chief, Amariah the second, Jahaziel the third, and Jekameam the fourth. Mu batabani ba Kebbulooni, Yeriya omukulu, Amaliya nga wakubiri, Yakaziyeri nga wakusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.
20 The sons of Uzziel: Micah the chief and Isshiah the second. Mu batabani ba Wuziyeeri, Mikka ye yali omukulu, ne Issiya nga ye wookubiri.
21 The sons of Merari: Mahli and Mushi. The sons of Mahli: Eleazar and Kish. Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi. Batabani ba Makuli baali Eriyazaali ne Kiisi.
22 Eleazar died having no sons, only daughters; so their relatives, the sons of Kish, married them. Eriyazaali n’afa nga tazadde baana babulenzi wabula aboobuwala bokka. Baganda baabwe, batabani ba Kiisi be babawassa.
23 The sons of Mushi: Mahli, Eder, and Jeremoth, three in all. Batabani ba Musi baali Makuli, Ederi ne Yeremosi be basatu.
24 These were Levi's sons by family, family heads registered by name, who served in our Father's house, age twenty and up. Abo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ng’emitwe gy’ennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya Mukama.
25 For David said, "Our Father, Israel's God, gave his people rest, and lives in Jerusalem forever. Dawudi yali agambye nti, “Olw’okuba Mukama Katonda wa Isirayiri, awadde abantu be emirembe, era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna,
26 So the Levites no longer carry the tabernacle or all its service vessels." Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema oba ebintu ebikozesebwa mu kuweereza.”
27 For by these final instructions of David the Levites were counted from twenty years old or older. Nga bagoberera ebigambo bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi abaabalibwa baali ba myaka amakumi abiri n’okusingawo.
28 Their duty was assisting Aaron's sons in serving the house of our Father: caring for the courts and the chambers, purifying all holy things, and any work in the house of our Father. Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya Mukama, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, n’okukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda.
29 They cared for the Bread of the Presence, the fine flour for grain offerings, wafers made without yeast, the baking and mixing, and all measures of quantity and size. Baavunaanyizibwanga emigaati egy’okulaga ku mmeeza, n’obutta obulungi obw’ekiweebwayo eky’obutta, n’obugaati obutazimbulukusibbwa, n’okufumba, n’okutabula, olw’ebiweebwayo, n’ebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo.
30 They were to stand every morning to thank and praise our Father, and again in the evening, Be baayimiriranga okwebazanga n’okutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi,
31 and for all burnt offerings to our Father on Sabbaths, new moons, and appointed feasts—in the required number, always before our Father. ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa.
32 They kept the charge of the tent of meeting, the charge of the sanctuary, and the charge of their brothers, Aaron's sons, in the service of the house of our Father. Awo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okw’omu yeekaalu ya Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]