Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 24 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 These are the divisions of Aaron's sons. Aaron's sons: Nadab and Abihu, Eleazar and Ithamar. Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti: Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
2 Nadab and Abihu died before their father, leaving no sons; so Eleazar and Ithamar served as priests. Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogw’obwakabona.
3 David divided them with Zadok, Eleazar's descendant, and Ahimelech, Ithamar's descendant, by their appointed service order. Dawudi ng’ayambibwako Zadooki muzzukulu wa Eriyazaali, ne Akimereki muzzukulu wa Isamaali, yabaawulamu ebibinja nga bwe baalondebwa mu kuweereza kwabwe.
4 Eleazar's sons were found to have more leaders than Ithamar's, so they were divided: sixteen family heads for Eleazar's, eight for Ithamar's, by their families. Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu b’ennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu b’ennyumba.
5 They divided them by lot, both alike, since officials of the sanctuary and officials of our Father came from the sons of Eleazar and the sons of Ithamar. Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, n’abalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali.
6 Shemaiah son of Nethanel, a Levite scribe, wrote them before the king, the officials, Zadok the priest, Ahimelech son of Abiathar, and the heads of the priestly and Levite families—one family chosen for Eleazar, one for Ithamar. Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali.
7 The first lot fell to Jehoiarib, the second to Jedaiah, Akalulu akaasooka kaagwa ku Yekoyalibu, n’akokubiri ku Yedaya,
8 the third to Harim, the fourth to Seorim, n’akokusatu ku Kalimu, n’akokuna ku Seyolimu,
9 the fifth to Malchijah, the sixth to Mijamin, n’akookutaano ku Malukiya, n’ak’omukaaga ku Miyamini,
10 the seventh to Hakkoz, the eighth to Abijah, n’ak’omusanvu ku Kakkozi, n’ak’omunaana ku Abiya,
11 the ninth to Jeshua, the tenth to Shecaniah, n’ak’omwenda ku Yesuwa, n’ak’ekkumi ku Sekaniya,
12 the eleventh to Eliashib, the twelfth to Jakim, n’ak’ekkumi n’akamu ku Eriyasibu, n’ak’ekkumi noobubiri ku Yakimu,
13 the thirteenth to Huppah, the fourteenth to Jeshebeab, n’ak’ekkumi noobusatu ku Kuppa, n’ak’ekkumi noobuna ku Yesebeyabu,
14 the fifteenth to Bilgah, the sixteenth to Immer, ak’ekkumi noobutaano ku Biruga, n’ak’ekkumi n’omukaaga ku Immeri,
15 the seventeenth to Hezir, the eighteenth to Happizzez, n’ak’ekkumi n’omusanvu ku Keziri, n’ak’ekkumi n’omunaana ku Kapizzezi,
16 the nineteenth to Pethahiah, the twentieth to Jehezkel, n’ak’ekkumi n’omwenda ku Pesakiya, n’ak’amakumi abiri ku Yekezukeri,
17 the twenty-first to Jachin, the twenty-second to Gamul, ak’amakumi abiri mu kamu ku Yakini, n’ak’amakumi abiri mu bubiri ku Gamuli,
18 the twenty-third to Delaiah, and the twenty-fourth to Maaziah. n’ak’amakumi abiri mu busatu ku Deraya, n’ak’amakumi abiri mu buna ku Maaziya.
19 These were their appointed duties for serving in our Father's house, by the order Aaron their father gave them, as our Father of Israel had commanded him. Kuno kwe kwali okulondebwa kw’obuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya Mukama, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.
20 The rest of Levi's sons: of Amram's sons, Shubael; of Shubael's sons, Jehdeiah. Bazzukulu ba Leevi abalala baali: okuva mu batabani ba Amulaamu, yali Subayeri; okuva mu batabani ba Subayeri yali Yedeya.
21 Of Rehabiah: of the sons of Rehabiah, Isshiah the first. Ku ba Lekabiya, Issiya ye yali omuggulanda.
22 Of the Izharites, Shelomoth; of the sons of Shelomoth, Jahath. Ku Bayizukaali Seromosi, ate ku batabani ba Seromosi yali Yakasi.
23 The sons of Hebron: Jeriah the first, Amariah the second, Jahaziel the third, Jekameam the fourth. Ku batabani ba Kebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, Amaliya nga ye wookubiri, Yakaziyeri nga ye wookusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.
24 The sons of Uzziel: Micah; of the sons of Micah, Shamir. Mutabani wa Winziyeeri, ye yali Mikka; ne ku batabani ba Mikka, ne Samiri.
25 The brother of Micah: Isshiah; of the sons of Isshiah, Zechariah. Muganda wa Mikka ye yali Issiya, ne ku batabani ba Issiya, Zekkaliya.
26 The sons of Merari: Mahli and Mushi. The sons of Jaaziah: Beno. Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi. Mutabani wa Yaaziya ye yali Beno.
27 The sons of Merari through Jaaziah: Beno, Shoham, Zaccur, and Ibri. Batabani ba Merali, mu Yaaziya: Beno, ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli.
28 Of Mahli: Eleazar, who had no sons. Okuva ku Makuli, Eriyazaali, ataazaala baana babulenzi.
29 Of Kish: the sons of Kish, Jerahmeel. Okuva ku Kiisi, yali mutabani we Yerameeri.
30 The sons of Mushi: Mahli, Eder, and Jerimoth. These were the Levites by their families. Ne ku batabani ba Musi, Makuli, ne Ederi ne Yerimosi. Abo be baali Abaleevi, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
31 They too cast lots, like their relatives the sons of Aaron, before King David, Zadok, Ahimelech, and the heads of the priestly and Levite families—the head of each family the same as his younger brother. Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, n’abakulu b’ennyumba za bakabona n’Abaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri y’emu ng’ey’omuto.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]