Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 What should we say, then? Should we go on sinning so that grace may increase? Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere?
2 Absolutely not! How can we who died to sin still live in it? Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola?
3 Or are you unaware that all of us baptized into Christ Jesus were baptized into his death? Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye?
4 So we were buried with him through baptism into death, that as Christ was raised from the dead through our Father's glory, we too might walk in newness of life. Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.
5 For if we've been joined to his death's likeness, we'll surely also be joined to his resurrection. Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe.
6 We know our old self was crucified with him to destroy sin's body, so we'd no longer be enslaved to sin. Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi.
7 For anyone who has died has been set free from sin. Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi.
8 Now if we died with Christ, we believe that we will also live with him. Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye
9 For we know Christ, raised from the dead, never dies again; death no longer rules him. Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga.
10 For the death he died, he died to sin once for all; but the life he lives, he lives to our Father. Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.
11 In the same way, count yourselves dead to sin but alive to our Father in Christ Jesus. Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
12 Therefore do not let sin reign in your mortal body so that you obey its desires. Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo.
13 Do not offer your body's parts to sin as weapons for wrongdoing; instead, offer yourselves to our Father as those brought from death to life, and your body's parts to him as weapons for righteousness. Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda.
14 For sin will not have mastery over you, because you are not under law but under grace. Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda.
15 What then? Should we sin because we are not under law but under grace? Absolutely not! Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe.
16 Don't you know that offering yourselves to someone as slaves to obey makes you slaves of whoever you obey—whether sin, leading to death, or obedience, leading to righteousness? Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu.
17 Thanks to our Father: you were slaves of sin, but you obeyed from the heart the teaching pattern you were entrusted to. Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera.
18 Having been set free from sin, you became slaves of righteousness. Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda.
19 I speak humanly, since your flesh is weak. As you offered your body's parts as slaves to impurity and lawlessness, resulting in more lawlessness, now offer them as slaves to righteousness, resulting in holiness. Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’ebirowoozo eby’obugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’obutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu.
20 For when you were slaves of sin, you were free from righteousness. Bwe mwali abaddu b’ekibi, temwafugibwanga butuukirivu.
21 What did you gain then from what you're now ashamed of? For those things end in death. Kale mwagasibwa ki mu kukola ebintu ebyo, ebibaleetera ensonyi? Enkomerero yaabyo kufa.
22 But now, freed from sin and enslaved to our Father, your fruit leads to holiness, and the end, eternal life. Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo.
23 For the wages of sin is death, but our Father's gift is eternal life in Christ Jesus our Lord. Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]