Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So, since we are made right by faith, we have peace with our Father through our Lord Jesus Christ. Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo,
2 Through whom we've gained access by faith into this grace we stand in, and we rejoice in hope of our Father's glory. era olw’okukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda.
3 Not only that, but we also boast in our suffering, since suffering produces endurance, Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ng’okubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza.
4 and endurance produces character, and character produces hope. Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, n’embala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi.
5 Hope doesn't put us to shame, because our Father's love has been poured into our hearts through the Holy Spirit given to us. Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.
6 While we were still weak, at the right time Christ died for the wicked. Bwe twali tukyali banafu wakati mu bibi, Kristo yatufiirira ffe aboonoonyi.
7 Rarely would anyone die for a righteous person, though for a good person someone might even dare to die. Kizibu okufiirira omuntu omutuukirivu. Oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufa ku lw’omuntu omulungi.
8 But our Father shows his own love for us: while we were still sinners, Christ died for us. Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.
9 Much more then, now made right by his blood, we will be saved through him from the wrath. Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olw’omusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda.
10 If, as enemies, we were reconciled to our Father through the death of his Son, how much more, now reconciled, will his life save us? Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe?
11 Not only that—we also rejoice in our Father through our Lord Jesus Christ, through whom we have now received reconciliation. So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.
12 So, as sin entered the world through one man, and death through sin, death spread to everyone, since all sinned. Ekibi kyajja mu nsi olw’omuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri y’emu olw’okuba nga bonna baayonoona, bonna balifa.
13 Before the law, sin was already in the world; but sin isn't counted where there's no law. Ekibi kyaliwo mu nsi ng’amateeka tegannabaawo. Kyokka Katonda teyagamba nti be balina okuvunaanyizibwa olw’ebibi byabwe, kubanga Amateeka gaali tegannabeerawo.
14 Still, death ruled from Adam to Moses, even over those whose sin didn't match Adam's wrongdoing—Adam foreshadows the one to come. Kyokka okufa kwali kukyafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu n’abo abataayonoona mu ngeri Adamu gye yayonoonamu. Mu ngeri endala, Adamu ali mu kifaananyi kya Kristo eyajja oluvannyuma.
15 But the gift is not like the sin: if many died through one man's sin, much more has our Father's grace and the gift by the grace of the one man Jesus Christ overflowed to many. Naye Katonda wa kisa nnyo, kubanga ekirabo kye yali agenda okutuwa, kyali kya njawulo ku kibi kya Adamu. Okwonoona kw’omuntu omu, Adamu, kwaleetera bangi okufa, kyokka ekisa kya Katonda n’ekirabo ekiri mu kisa ky’omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira nnyo ne kibuna mu bantu bangi.
16 And the gift is not like the result of that one man's sin: judgment from one sin brought condemnation, but the gift from many sins brought justification. Waliwo enjawulo nnene wakati w’ekibi kya Adamu n’ekirabo kya Katonda. Ekibi ekimu kyatuweesa ekibonerezo. Kyokka ekirabo kya Katonda kyatukkirizisa gy’ali, newaakubadde nga twonoona emirundi mingi.
17 For if death reigned through that one man because of one trespass, how much more will those receiving grace's overflow and the gift of righteousness reign in life through the one man, Jesus Christ. Obanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?
18 So then, as one trespass condemned everyone, one righteous act brings everyone justification and life. Kale ng’abantu bonna bwe baasalirwa omusango olw’ekibi ekimu, bwe kityo n’olw’ekikolwa ekimu eky’obutuukirivu abantu bonna mwe baaweerwa obutuukirivu ne bafuna obulamu.
19 As one man's disobedience made the many sinners, so one man's obedience will make the many righteous. Obujeemu bw’omuntu omu bwafuula abangi okuba aboonoonyi. Bwe butyo n’obuwulize bw’omuntu omu Yesu, bulifuula bangi okuba abatuukirivu.
20 Now the law came in so that the trespass might increase, but where sin increased, grace abounded all the more, Amateeka gaatekebwawo, amaanyi g’ekibi galyoke galabisibwe. Kyokka ekibi bwe kyeyongera, ekisa kya Katonda kyo ne kyeyongera nnyo okusingawo.
21 so that as sin reigned in death, grace might reign through righteousness to eternal life, through Jesus Christ our Lord. Ng’ekibi bwe kyafugira mu kufa, n’ekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]