Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Or don't you know, brothers—I'm speaking to people who know the law—that the law rules over a person only while he lives? Temumanyi abooluganda, kubanga njogera eri abamanyi amateeka, ng’amateeka gafuga oyo yekka akyali omulamu?
2 A married woman is bound by law to her husband while he lives; if he dies, she is free from the law of the husband. Ka mbawe ekyokulabirako: mu mateeka omukazi omufumbo, asigala nga wa bba, bba bw’aba ng’akyali mulamu. Naye bba bw’afa, omukazi oyo ng’asumuluddwa mu tteeka eribagatta.
3 While her husband lives, she's called an adulterous woman if she becomes another man's wife; but if he dies, she's free from that law—not an adulterous woman if she marries another. Noolwekyo omukazi oyo bwe yeegatta n’omusajja omulala, bba ng’akyali mulamu, omukazi oyo anaayitibwanga mwenzi. Naye bba bw’afanga, olwo omukazi omufumbo anaabanga asumuluddwa mu tteeka, era taabenga mwenzi bw’anaafumbirwanga omusajja omulala.
4 So, my brothers and sisters, you too were put to death to the law through Christ's body, to belong to another—the one raised from the dead—so we might bear fruit for our Father. Nammwe baganda bange mwafa eri amateeka, muli ba mubiri gwa Kristo. Mwegatta ku Kristo eyazuukizibwa okuva mu bafu, tulyoke tubale ebibala ebisanyusa Katonda.
5 For when we were in the flesh, sin's passions, stirred by the law, worked in our bodies to produce fruit for death. Kubanga bwe twali tukyafugibwa omubiri, okwegomba kw’ebibi kwakoleranga mu bitundu byaffe eby’omubiri olw’amateeka, era enkomerero kwali kufa.
6 But now we're released from the law, dead to what held us bound, so we serve in the new way of the Spirit, not the old way of the written code. Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde ey’amateeka.
7 What then should we say? Is the law sin? Never! Yet I wouldn't have known sin except through the law—nor would I have known craving, had the law not said, "Do not crave what isn't yours." Kale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. N’okwegomba kw’omubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.”
8 But sin, seizing an opening through the commandment, produced in me every covetous craving. For apart from law, sin is dead. Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu.
9 I once lived apart from law; but when the commandment came, sin revived, and I died. Edda nali mulamu awatali mateeka, naye etteeka bwe lyajja, ekibi ne kiramuka, n’okufa ne nfa.
10 I found that the very commandment that was meant to bring life actually brought death. Era ne nkizuula ng’etteeka eryali liteekwa okumpa obulamu, lye lyandetera okufa.
11 For sin, seizing the opportunity through the commandment, deceived me, and through the commandment killed me. Ekibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita.
12 So then, the law is holy, and the commandment is holy and righteous and good. Noolwekyo amateeka matukuvu, era n’ekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.
13 Did the good, then, bring death to me? Absolutely not! Rather, sin—to be exposed as sin—produced death in me through the good, so that through the commandment sin might become extremely sinful. Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.
14 For we know the law is spiritual, but I am fleshly, sold under sin. Tumanyi ng’amateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ng’omuddu nfugibwe ekibi.
15 I don't understand what I do; for I don't do what I want, but what I hate I do. Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola.
16 If I do what I don't want, I agree the law is good. Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi.
17 So now, it's no longer I who do it, but sin living in me. Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze.
18 For I know nothing good lives in me—that is, in my flesh. For I want to do good but can't carry it out. Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola.
19 For I don't do the good I want, but the evil I don't want—that I keep doing. Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola.
20 Now if I do what I don't want, it's no longer I doing it, but sin living in me doing it. Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.
21 So I find this law: when I want to do good, evil lies close at hand. Noolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi.
22 For in my inner being I delight in the law of our Father. Mu nze mu muntu ow’omunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda.
23 But I see another law in my body, warring against the law of my mind and taking me captive to the law of sin at work in my body. Naye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka ag’enjawulo nga gawakana n’etteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe w’amateeka ag’ekibi, ekikolera mu mubiri gwange.
24 What a wretched man I am! Who will rescue me from this body of death? Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa?
25 Thanks to our Father through Jesus Christ our Lord! So then, I myself serve the law of our Father with my mind, but with my flesh, the law of sin. Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe. Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu w’amateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ng’okwegomba kwange okw’omubiri, mpeereza etteeka ly’ekibi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]