Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 15 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 We who are strong must carry the weaknesses of the weak, and not please ourselves. Ffe abanywevu kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatali banywevu, so si okwesanyusa ffekka.
2 Let each of us please his neighbor for his good, to build him up. Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olw’okumuzimba mu kukkiriza.
3 For even Christ did not please himself; as it is written, "Insults of those insulting you fell on me." Kubanga ne Kristo teyeesanyusa yekka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebivume by’abo abaakuvuma byagwa ku nze.”
4 Everything written before was written to teach us, so that through endurance and through Scripture's encouragement we might have hope. Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube n’essuubi.
5 May our Father, who gives endurance and encouragement, give you harmony with each other, according to Christ Jesus, Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu,
6 so that together, with one voice, you glorify our Father, the Father of our Lord Jesus Christ. mu mwoyo gumu n’eddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.
7 Therefore welcome one another, as Christ also welcomed you, for the glory of our Father. Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda.
8 For I tell you Christ became a servant to the circumcised, to show our Father's truthfulness and confirm the promises to the ancestors, Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza w’abakomole olw’amazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe
9 and that the nations might glorify our Father for his mercy, as it is written, "Therefore I will praise you among the nations, and sing to your name." n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga, era ne ntendereza erinnya lyo.”
10 And again it says, "Rejoice, nations, with his people." Era n’ayongera n’agamba nti: “Mmwe Abaamawanga musanyukirenga wamu n’abantu be.”
11 And again, "Praise our Father, all you nations, and let all the peoples praise him." Era nate nti, “Abaamawanga mwenna, mutendereze Mukama, era abantu bonna bamutenderezenga.”
12 Again Isaiah says: "Jesse's root will come, rising to rule the nations; the nations will hope in him." Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti, “Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja era alisituka okufuga Abaamawanga, era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”
13 May our Father, the source of hope, fill you with all joy and peace through faith, so by the Holy Spirit's power you overflow with hope. Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.
14 I'm convinced about you, my brothers and sisters, that you yourselves are full of goodness, filled with all knowledge, and able to instruct one another. Era matidde baganda bange, nze kennyini, nga nammwe bennyini mujjudde obulungi, nga mujjudde okutegeera kwonna, era nga muyinza okubuuliriragana.
15 But I've written to you rather boldly on some points, reminding you, because of the grace our Father gave me, Naye mu bitundu ebimu eby’ebbaluwa eno nabawandiikira n’obuvumu nga mbajjukiza olw’ekisa ekyampebwa okuva eri Katonda,
16 to be Christ Jesus's minister to the nations, a priest of our Father's gospel, so the nations' offering would be acceptable, made holy by the Holy Spirit. kubanga nze ndi muweereza wa Kristo Yesu eri Abaamawanga, nga nkola obuweereza obutukuvu nga mbulira Enjiri ya Katonda, ekiweebwayo ky’Abaamawanga kiryoke kikkirizibwe, nga kitukuzibbwa Mwoyo Mutukuvu.
17 In Christ Jesus, then, I have reason to boast of my work for our Father. Noolwekyo neenyumiririza mu Kristo olw’omulimu gwa Katonda;
18 For I will not dare speak of anything except what Christ has done through me to bring the nations to obedience, by word and deed. kubanga siryaŋŋanga kwogera bintu Kristo by’atakolera mu nze Abaamawanga balyoke babeere abawulize mu kigambo ne mu bikolwa,
19 By the power of signs and wonders, by the power of the Spirit of our Father, I have fully proclaimed the gospel of Christ from Jerusalem all the way around to Illyricum. ne mu maanyi ag’obubonero n’eby’amagero, ne mu maanyi ag’Omwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi n’okwetooloola okutuuka mu Iruliko, mbulidde Enjiri ya Kristo mu bujjuvu.
20 So I make it my aim to preach the gospel where Christ hasn't been named, so I wouldn't build on someone else's foundation, Nduubirira okubuulira Enjiri mu bifo etayatulwanga linnya lya Kristo, nneme okuzimba ku musingi gw’omuntu omulala,
21 but as it is written: "those never told about him will see, and those who haven't heard will understand." nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abo abatategeezebwanga bimufaako baliraba, n’abo abatawulirangako balitegeera.”
22 This is why I have so often been hindered from coming to you. Kyennava nziyizibwanga ennyo okujja gye muli;
23 But now, with no more room to work in these regions, and having longed for many years to come to you, naye kaakano nga bwe sikyalina kifo mu bitundu by’eno, ate nga maze emyaka mingi nga njagala okujja gye muli, nsubira okujjayo,
24 I hope to see you in passing on my way to Spain, and have you send me on my way there, once I've enjoyed your company for a while. bwe ndiba nga ndaga mu Esupaniya. Kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, n’oluvannyuma munnyambe okuva eyo ndyoke ntuukirize ekitundu ekisooka.
25 But for now I am going to Jerusalem, bringing aid to our Father's people. Naye kaakano ndaga e Yerusaalemi okuweereza abatukuvu.
26 Macedonia and Achaia gladly made a contribution for the poor among our Father's people in Jerusalem. Ab’omu Makedoniya ne mu Akaya baasanyuka okuwaayo ku byabwe eri abatukuvu abaavu ab’omu Yerusaalemi.
27 They were glad to do it, and indeed they owe it. For since the nations shared in Israel's spiritual blessings, the nations owe Jerusalem's people material support in return. Baasanyuka era balina ebbanja gye bali, kubanga ng’Abaamawanga bwe baagabana ku bintu eby’omwoyo okuva gye bali, n’Abaamawanga nabo basaanye okubaweereza mu bintu eby’omubiri.
28 So after finishing this and safely delivering this collection to them, I'll leave for Spain through you. Noolwekyo bwe ndimaliriza ekyo ne mbakwasa ekibala ekyo, ndiyitira ewammwe nga ŋŋenda Esupaniya.
29 I know that coming to you, I'll come with Christ's full blessing. Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli, ndijja n’omukisa gwa Kristo mu bujjuvu.
30 Brothers and sisters, by our Lord Jesus Christ and the Spirit's love, I urge you to strive together with me in your prayers to our Father for me, Kaakano mbakuutira abooluganda, mu Mukama waffe Yesu Kristo ne mu kwagala kw’Omwoyo, okufubiranga awamu nange, nga munsabira eri Katonda,
31 that I may be rescued from Judea's unbelievers, and my service for Jerusalem may please our Father's people, mpone abo abajeemu mu Buyudaaya, n’obuweereza bwange busiimibwe abatukuvu mu Yerusaalemi,
32 so that, by our Father's will, I may come to you with joy and rest together with you. ndyoke nsobole okujja gye muli olw’okwagala kwa Katonda, okuwummulira awamu nammwe, nga ndi musanyufu.
33 May our Father, the source of peace, be with you all. Amen. Kale kaakano Katonda ow’emirembe, abeerenga nammwe mwenna. Amiina.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]