Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 I commend to you our sister Phoebe, who is a servant of the church at Cenchreae, Kaakano mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, era omuweereza w’ekkanisa ey’omu Kenkereya.
2 so that you may welcome her in the Lord as befits our Father's people, and help her with whatever she needs from you—she has supported many, myself included. Mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era muyimirire naye nga mumuyamba mu nsonga yonna gye yeetaaga, kubanga naye yennyini yayamba bangi era nange kennyini.
3 Greet Prisca and Aquila, my fellow workers in Christ Jesus, Mundabire Pulisikira ne Akula, bwe tukola omulimu mu Kristo Yesu,
4 who risked their own necks for my life—not only I thank them, but all the Gentile churches do too. abeewaayo wakiri okutemwako emitwe olw’obulamu bwange, era si beebaza bokka wabula n’Ekkanisa z’Abamawanga zonna.
5 Greet also the church gathering in their home. Greet my dear Epaenetus, firstfruit of Asia for Christ. Mutuuse okulamusa kwange eri abo bonna abakuŋŋaana ng’ekkanisa mu maka gaabwe. Mundabire mukwano gwange omwagalwa Epayineeto, kye kibala eky’olubereberye eky’omu Asiya eri Kristo.
6 Greet Mary, who has worked hard among you. Mundabire Maliyamu eyabakolera ennyo.
7 Greet Andronicus and Junia, my fellow Jews and fellow prisoners, notable among the apostles and in Christ before me. Mundabire Anduloniiko ne Yuniya ab’ekika kyange, abaasibibwa awamu nange mu kkomera, era bassibwamu nnyo ekitiibwa abatume era be bansooka okubeera mu Kristo.
8 Greet Ampliatus, my beloved in the Lord. Mundabire Ampuliyaato omwagalwa wange mu Mukama waffe.
9 Greet Urbanus, our fellow worker in Christ, and my beloved Stachys. Mundabire Ulubano, mukozi munnaffe mu Kristo, n’omwagalwa waffe Sutaku.
10 Greet Apelles, who is approved in Christ. Greet those who belong to the household of Aristobulus. Mundabire Apere, asiimibwa mu Kristo. Mundabire n’ab’omu nnyumba ya Alisutobulo.
11 Greet Herodion, my fellow Jew. Greet those in the household of Narcissus who are in the Lord. Mundabire Kerodiyoni muganda wange. Mundabire ab’omu nnyumba ya Nalukiso.
12 Greet Tryphaena and Tryphosa, workers in the Lord. Greet my beloved Persis, who has worked hard in the Lord. Mundabire Terufayina ne Terufoosa, abaakola ennyo omulimu gwa Mukama waffe. Mundabire Perusi omwagalwa eyakola ennyo omulimu mu Mukama waffe.
13 Greet Rufus, chosen in the Lord, and his mother and mine. Mundabire Luufo Mukama gwe yalonda, era ne nnyina ali nga mmange.
14 Greet Asyncritus, Phlegon, Hermes, Patrobas, Hermas, and the brothers and sisters who are with them. Mundabire Asunkulito ne Felegoni, ne Kerume, ne Patuloba, ne Keruma era n’abooluganda abali nabo.
15 Greet Philologus, Julia, Nereus and his sister, and Olympas, and all our Father's people with them. Mundabire Firologo ne Yuliya, ne Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa n’abatukuvu bonna abali awamu nabo.
16 Greet one another with a holy kiss. All the churches of Christ greet you. Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu. Ekkanisa zonna eza Kristo, zibalamusizza.
17 Brothers and sisters, I urge you: watch for those causing division and obstacles, against the teaching you learned, and turn away from them. Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, n’eby’esittaza ebikontana n’okuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega.
18 For such people do not serve our Lord Christ but their own appetites, deceiving the unsuspecting's hearts with smooth talk and flattery. Kubanga abantu ng’abo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi eby’okuwaanawaana nga balimbalimba emitima gy’abanafu.
19 Your obedience has reached everyone, so I rejoice over you; but I want you wise about what is good, innocent about what is evil. Kubanga amawulire ag’okuwulira kwammwe gaabuna mu bantu bonna, kyenvudde mbasanyukira. Naye njagala mubenga bagezi mu kukola obulungi, era abalongoofu abeewala ekibi.
20 Our Father of peace will soon crush Satan under your feet; our Lord Jesus Christ's grace be with you. Kaakano Katonda ow’emirembe ajja kubetentera Setaani wansi w’ebigere byammwe, mangu. Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga nammwe.
21 Timothy, my fellow worker, greets you; so do Lucius, Jason, and Sosipater, my fellow Jews. Timoseewo mukozi munnange, ne Lukiyo ne Yasooni wamu ne Sosipateri, baganda bange, babatumidde.
22 I, Tertius, who wrote down this letter, greet you in the Lord. Nange Terutiyo awandiika ebbaluwa eno, mbatumidde mu Mukama waffe.
23 Gaius, host to me and the whole church, greets you. Erastus, the city treasurer, and our brother Quartus also greet you. Gaayo ansuza, n’ekkanisa yonna babalamusizza. Mundabire Erasuto omuwanika w’ekibuga, ne Kwaluto muganda we.
24 Not in this edition Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.
25 Now to him who can strengthen you—by my gospel and the proclamation of Jesus Christ, by the revealing of the mystery hidden for long ages past, Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ng’enjiri yange n’okubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ng’ekyama ky’okubikkulirwa eby’ebiro eby’emirembe n’emirembe ebyasirikirwa, bwe kiri,
26 but now revealed and made known through prophetic writings, by command of our eternal Father, to bring all nations to the obedience of faith, kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ng’ekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olw’okugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa,
27 to our only wise Father, through Jesus Christ, be the glory forever! Amen. Katonda omu yekka ow’amagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe n’emirembe. Amiina.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]