Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 14 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now accept the one who is weak in faith, but not to argue about their opinions. Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango.
2 One person has faith to eat anything, while the one who is weak eats only vegetables. Wabaawo omuntu omu akkiririza mu kulya ebintu byonna, nga so ye omunafu akoma ku nva kwokka.
3 The eater must not look down on the non-eater, and the non-eater must not judge the eater, for our Father has accepted him. Omuntu asalawo okubaako ky’alya tanyoomanga atakirya, n’oyo atalya kintu alemenga kusalira musango oyo akirya kubanga Katonda yamusembeza.
4 Who are you to judge another's servant? Before his own master he stands or falls; he will stand—the Lord can make him stand. Ggwe ani asalira omusango omuweereza w’omuntu omulala? Mukama we y’amanya oba atuukiriza emirimu gye oba tagituukiriza. Naye aligituukiriza kubanga Mukama we alimusobozesa.
5 One judges a day above another; another, every day alike. Each must be fully convinced in his own mind. Omuntu omu agulumiza olunaku olumu okusinga olulala, naye omulala n’alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Noolwekyo buli muntu anywererenga ku ky’alowooza bwe kiba nga kye kituufu.
6 Whoever observes the day observes it for the Lord. Whoever eats, eats for the Lord, since he thanks our Father; whoever abstains, abstains for the Lord, and thanks our Father. Akuza olunaku aba alukuza eri Mukama. Oyo alya aba alya ku bwa Mukama, kubanga aba agulumiza Katonda. N’oyo atalya aba talya ku bwa Mukama, era aba agulumiza Katonda.
7 For none of us lives for himself, and none of us dies for himself. Kubanga tewali n’omu ku ffe abeera omulamu ku bubwe yekka, era tewali n’omu afa ku lulwe.
8 If we live, we live for the Lord; if we die, we die for the Lord. Living or dying, we belong to the Lord. Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama.
9 Christ died and lived again for this: to be Lord of both the dead and the living. Kubanga ekyo Kristo kye yafiira ate n’abeera omulamu, alyoke abeere Mukama w’abo abaafa era n’abalamu.
10 But you—why do you judge your brother? Or you—why do you despise your brother? We'll all stand before our Father's judgment seat. Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso g’entebe ya Katonda, ey’okulamula.
11 For it's written: "As I live, says our Father, every knee bows to me, every tongue confesses to me." Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”
12 So then, each of us will give an account of himself to our Father. Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.
13 So stop judging each other. Instead decide never to put a stumbling block or trap before your brother. Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi.
14 I know, persuaded in the Lord Jesus, that nothing is unclean in itself; but to one who thinks it unclean, it is unclean. Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo.
15 If food hurts your brother, you're no longer walking in love. Don't destroy someone Christ died for with your food. Kubanga obanga muganda wo anakuwala olw’ekyo ky’olya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna ky’omanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira.
16 So do not let what you regard as good be spoken of as evil. Ekirungi ekiri mu mmwe kireme okuvumibwa.
17 The kingdom of our Father isn't eating and drinking, but righteousness and peace and joy in the Holy Spirit. Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu.
18 Whoever serves Christ in this way is pleasing to our Father and approved by people. Kubanga aweereza Kristo mu ebyo asanyusa nnyo Katonda era asiimibwa abantu.
19 So then, let us pursue whatever brings peace and builds each other up. Noolwekyo tunyiikirirenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagana ffekka ne ffekka.
20 Don't destroy our Father's work over food. All things are clean, but eating that makes someone stumble is wrong. Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw’emmere. Ebintu byonna birongoofu, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera omulala okwesittala.
21 Good is not eating meat, drinking wine, or anything that makes your brother stumble. Kirungi obutalya nnyama newaakubadde okunywa wayini newaakubadde ekintu kyonna ekyesittaza muganda wo.
22 Keep your faith to yourself before our Father. Blessed is the one who doesn't judge himself by what he approves. Ky’okkiririzaamu mu kulya kikuume nga kya kyama ne Katonda. Alina omukisa ateesalira musango kumusinga mu ekyo ky’alowooza nga kituufu.
23 Whoever doubts is condemned if he eats, since not from faith; whatever isn't from faith is sin. Naye oyo abuusabuusa bw’alya, omusango gumaze okumusinga, kubanga talya lwa kukkiriza, era na buli ekitava mu kukkiriza kiba kibi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]