Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Everyone must submit to ruling authorities, since no authority exists except from our Father, and those that exist are placed there by our Father. Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda, era n’abafuzi abaliwo Katonda ye yabalonda.
2 So whoever opposes authority opposes what our Father has established, and opposers bring judgment on themselves. Noolwekyo abawakanya abafuzi, bawakanya buyinza bwa Katonda. Era baba bawakanya kiragiro kye, bwe batyo ne beereetako bokka omusango.
3 Rulers aren't a threat to good actions, only bad ones. Want to not fear authority? Do good, and you'll earn its approval. Kubanga abafuzi baba tebalwanyisa bikolwa birungi naye ebibi. Oyagala obutakangibwa wa buyinza, kola bulungi osiimibwe,
4 He is our Father's servant, for your good. But if you do wrong, be afraid—he doesn't carry the sword for nothing. He is our Father's servant, an avenger who brings wrath on the wrongdoer. kubanga muweereza wa Katonda ku lw’obulungi bwo. Naye bw’onookolanga ekibi, osaanidde otye kubanga ekitala ky’alina si kya bwereere, kubanga muweereza wa Katonda awoolera eggwanga eri oyo akola ekibi.
5 Therefore you must submit, not only to avoid punishment but also for the sake of conscience. Noolwekyo kibagwanira okuba abawulize, si lwa busungu bwokka, naye n’olw’okumanya nga kye kituufu.
6 That's also why you pay taxes, for the authorities are our Father's ministers, devoted to this very thing. Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe.
7 Pay all what's owed: tax to whom tax, tolls to whom tolls, respect to whom respect, honor to whom honor. Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’ow’empooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.
8 Owe no one anything except to love one another, for loving another fulfills the law. Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ng’atuukiriza amateeka.
9 For the commandments—"Don't commit adultery, don't murder, don't steal, don't covet"—and any other commandment, are summed up in one word: "Love your neighbor as yourself." Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n’etteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”
10 Love does no wrong to a neighbor; therefore love is the fulfillment of the law. Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.
11 Do this, knowing the time: the hour has already come for you to wake from sleep—salvation is nearer now than when we first believed. Mumanye nga kino kye kiseera, era essaawa etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza.
12 Night is nearly gone, day is near. So let's shed the deeds of darkness and put on the armor of light. Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, noolwekyo tweyambulemu ebikolwa eby’ekizikiza, twambale ebyokulwanyisa eby’omusana.
13 Let us live decently, as in daylight: not in orgies and drunkenness, not in sexual sin and indecency, not in conflict and envy. Tutambulenga ng’ab’omu musana, so si mu binyumu ne mu kutamiira, ne mu bwenzi n’obukaba, ne mu kuyombagana n’obuggya,
14 Instead, dress yourselves in the Lord Jesus Christ; make no plan to satisfy the sinful nature's desires. naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ng’okwegomba kwagwo bwe kuli.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]