Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So brothers and sisters, by our Father's mercies I urge you: offer your bodies as a living sacrifice, holy and pleasing to him—your true, reasonable worship. Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo.
2 Don't be shaped by this age, but be transformed by renewing your mind, so you can discern our Father's will—good, pleasing, and perfect. So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.
3 By the grace given me, I tell each of you: don't think of yourself more highly than you should, but think with sound judgment, each according to the measure of faith our Father assigned. Kubanga njogera olw’ekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo ky’asaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza.
4 Just as one body has many parts, and the parts do not all have the same function, Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo.
5 so we, though many, are one body in Christ, and each of us belongs to the others. Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo.
6 Our gifts differ according to the grace given us: if prophecy, use it in proportion to our faith; Tulina ebirabo, ng’ekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri ey’enjawulo, oba bunnabbi, ng’ekigera ky’okukkiriza bwe kiri,
7 if service, in our serving; the one who teaches, in his teaching; oba buweereza, mu buweereza, oba omu okuyigiriza, mu kuyigiriza;
8 the encourager, in encouragement; the giver, with generosity; the leader, with diligence; the merciful, with cheerfulness. oba omulala okugumya banne mu kubazzaamu amaanyi, oba omulala mu kugaba, oba omulala, okufuga n’obunyiikivu, n’omulala okulaga ekisa nga musanyufu.
9 Let love be genuine. Hate what is evil; hold fast to what is good. Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi,
10 Love one another with brotherly affection. Outdo one another in showing honor. nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,
11 Do not be lacking in zeal, but be fervent in spirit, serving the Lord. mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama,
12 Rejoice in hope, be patient in affliction, be devoted to prayer. nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba.
13 Share with our Father's people in their needs; pursue hospitality. Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.
14 Bless those who persecute you; bless, and do not curse. Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga.
15 Rejoice with those who rejoice; weep with those who weep. Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba.
16 Live in harmony with one another. Don't be arrogant, but associate with the lowly. Don't be wise in your own eyes. Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
17 Repay no one evil for evil; think ahead to do what is honorable before everyone. Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna.
18 If possible, so far as it depends on you, live at peace with everyone. Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna;
19 Beloved, don't avenge yourselves; leave room for our Father's wrath. As it's written: Vengeance is mine, I will repay, says our Father. abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama.
20 Instead: "If your enemy is hungry, feed him; if thirsty, give him a drink; doing this, you'll heap burning coals on his head." “Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.”
21 Do not be overcome by evil, but overcome evil with good. Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]