Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So I ask: has our Father rejected his people? Never—I too am an Israelite, from Abraham's line, tribe of Benjamin. Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Kikafuuwe. Kubanga nange ndi Muyisirayiri, era muzzukulu wa Ibulayimu, ow’omu kika kya Benyamini.
2 Our Father didn't reject his people, whom he foreknew. Or don't you know what Scripture says of Elijah, how he pleads with our Father against Israel? Katonda tasuulanga bantu be, be yalonda okuva ku lubereberye. Oba temumanyi ekyawandiikibwa ekyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya olwa Isirayiri?
3 "Father, they killed your prophets, tore down your altars; I alone remain, and they seek my life." Yagamba nti, “Mukama, basse bannabbi bo ne bamenyaamenya n’ebyoto byo. Nze nzekka nze nsigaddewo, ate bannoonya okunzita.”
4 God's reply: "I've kept 7,000 men for myself who haven't bowed the knee to Baal." Naye Katonda yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Neesigalizzaawo abasajja kasanvu abatafukaamirira Baali.”
5 So too at the present time there is a remnant, chosen by grace. Era bwe kityo ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyasigalawo abaalondebwamu olw’ekisa.
6 But if by grace, no longer by works; otherwise grace would no longer be grace. Naye obanga lwa kisa, si lwa bikolwa nate, kubanga ekisa kyandibadde tekikyali kisa.
7 What then? Israel didn't get what it sought; the chosen did, but the rest were hardened. Kale tugambe ki? Abayisirayiri baalemwa okufuna kye baali banoonya, wabula be yalondamu be baakifuna, abalala ne bakakanyazibwa, emitima,
8 As it is written: "Our Father gave them a dulled spirit, eyes that can't see and ears that can't hear, to this day." nga bwe kyawandiikibwa nti, “Katonda yabawa omwoyo ogw’okubongoota, n’aleetera amaaso gaabwe obutalaba, n’amatu gaabwe obutawulira okutuusa leero.”
9 And David says, "Let their table become a snare, a trap, a stumbling block, and payback for them. Ne Dawudi yagamba nti, “Leka ekijjulo kyabwe kibafuukire omutego, era ekitimba, eky’okubatega era empeera ebasaanira.
10 Let their eyes be darkened so that they cannot see, and bend their backs forever." Amaaso gaabwe ka gabeeko ekifu, baleme okulaba. Era batambule nga bakootakoota emirembe n’emirembe.”
11 So I ask: did they stumble to fall completely? By no means! Rather, their failure brought salvation to the Gentiles, to make Israel jealous. Kale ka mbuuze, kyebaava beesittala balyoke bagwe? Kikafuuwe. Naye olw’okwonoona kwabwe, obulokozi kyebwava bujja eri Abaamawanga, Abayudaaya balyoke bakwatibwe obuggya.
12 If their sin enriches the world, and their failure enriches the Gentiles, how much more their full inclusion! Kale obanga okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga eri ensi, n’okulemwa kwabwe nga kutegeeza bugagga eri Abaamawanga, okuganyulwa kwabwe tekulisingawo!
13 I say this to you Gentiles: since I am apostle to the Gentiles, I honor my ministry, Kaakano njogera gye muli Abaamawanga, nga bwe ndi omutume eri Abaamawanga, ngulumiza obuweereza bwange,
14 in the hope that I may somehow make my own people jealous and save some of them. singa kisoboka nkwase baganda bange obuggya abamu ku bo basobole okulokolebwa.
15 If their rejection reconciled the world, what will their acceptance bring but life from the dead? Kubanga obanga okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kulitegeeza ki, bwe kutaliwa bafu bulamu?
16 If the firstfruit is holy, so is the batch; if the root is holy, so are the branches. Kale kaakano obanga ekitole ky’eŋŋano ekandiddwa ne kiweebwayo ng’ekibala ekibereberye kitukuvu, n’eŋŋaano yonna ntukuvu; era obanga ekikolo kitukuvu, n’amatabi matukuvu.
17 If some branches were broken off, and you, a wild olive shoot, were grafted in among them, sharing the olive tree's rich root, Naye obanga amatabi agamu gaawogolebwa, ate nga ggwe eyali omuzeyituuni ogw’omu nsiko wasimbibwa ku kikolo kyagwo, n’ogabana ku bugimu bw’ekikolo ky’omuzeyituuni,
18 don't boast over the branches. If you do, you don't support the root—the root supports you. teweenyumiririzanga ku matabi ago; naye bwe weenyumirizanga, jjukira nga si gwe owaniridde ekikolo, naye ekikolo kye kikuwaniridde.
19 Then you will say, "Branches were broken off so that I might be grafted in." Oyinza okwogera nti, “Amatabi gaawogolwako, ndyoke nsimbibweko.”
20 True. They were broken off for lack of faith; you stand by faith. Don't be proud—fear instead. Ky’oyogedde kiba kituufu. Weewaawo gaawogolwako lwa butakkiriza, kyokka ggwe onywedde lwa kukkiriza. Teweenyumirizanga, naye otyanga.
21 For if our Father did not spare the natural branches, neither will he spare you. Kuba obanga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, nammwe ayinza obutabasaasira.
22 So see our Father's kindness and severity: severity to the fallen, kindness to you—if you continue in it; otherwise you too will be cut off. Kale mufumiitirize ku kisa n’obukambwe bwa Katonda. Aba mukambwe eri abo abaagwa, naye n’aba wa kisa eri ggwe, bwe weeyongera okunywerera mu kisa kye, kubanga naawe bw’otonywere oliwogolwako.
23 And if they don't remain in lack of faith, they too will be grafted in—our Father can graft them in again. Era n’abo oluvannyuma bwe balikkiriza, balizzibwako ku nduli kubanga Katonda ayinza okubazaako kuli.
24 If you were cut from an olive wild by nature and grafted, against nature, into a cultivated one, how much more will natural branches be grafted back into their own olive tree? Kuba obanga ggwe mu buzaaliranwa bwo gwe eyawogolwa ku muzeyituuni, wazzibwa ku muzeyituuni ogutali gwa buzaaliranwa bo, abo ab’obuzaaliranwa tebalisinga nnyo okuzzibwa ku muzeyituuni gwabwe bo?
25 Brothers and sisters, I don't want you unaware of this mystery, so you aren't wise in your own eyes: Israel is partly hardened, until the full number of Gentiles comes in. Kubanga ssaagala mmwe abooluganda obutamanya kyama kino nga mwelowooza okuba ab’amagezi, ng’abamu ku Bayisirayiri bwe baakakanyaza emitima gyabwe, okutuusa mmwe Abaamawanga, lwe muliyingira.
26 So all Israel will be saved, as it is written: "The rescuer will come from Zion and remove evil from Jacob, N’oluvannyuma Isirayiri yenna alirokolebwa, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Omulokozi aliva mu Sayuuni, era aliggyawo obutatya Katonda mu bazzukulu ba Yakobo.
27 and this will be my covenant with them, when I take away their sins." Era eyo ye ndagaano yange nabo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”
28 In the gospel, they are enemies for your sake; in election, beloved because of the fathers. Mu njiri balabe ku lwammwe, naye mu kulondebwa baagalwa olwa bajjajjaabwe.
29 For the gifts and the calling of our Father are irrevocable. Kubanga Katonda bw’agabira abantu ebirabo oba bw’abayita, teyejjusa.
30 For just as you once disobeyed our Father, but now have received mercy through their disobedience, Kuba nga mmwe edda bwe mwajeemera Katonda, kyokka kaakano nga musaasiddwa olw’obujeemu bw’Abayudaaya,
31 so they too now disobeyed, so that by the mercy shown you, they too may now receive mercy. bwe batyo nabo kaakano bajeemu, eri ekyo ekyali okusaasira gye muli, balyoke basaasirwe.
32 For our Father has bound everyone over to disobedience, that he may have mercy on all. Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.
33 Oh, the depth of the riches and the wisdom and the knowledge of our Father! How unsearchable are his judgments and how untraceable his ways! Kale nga Katonda wa kitalo, ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi; ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.
34 "For who has known the mind of our Father, or who has been his counselor? “Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama? Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?”
35 Or who has given a gift to him that he might be repaid?" “Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu, alyoke amuddizeewo?”
36 For from him and through him and to him are all things. To him be the glory forever. Amen. Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali. Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]