Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Brothers and sisters, my heart's desire and prayer to our Father for Israel is for their salvation. Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa.
2 I testify about them: they have zeal for our Father, but not according to knowledge. Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera.
3 Ignorant of our Father's righteousness, seeking to establish their own, they did not submit to our Father's righteousness. Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda.
4 For Christ is the law's goal, so all who believe receive righteousness. Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu.
5 For Moses writes about the righteousness that is based on the law: "The one who does these things will live by them." Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.”
6 But faith-based righteousness says: "Don't say in your heart, 'Who will go up to heaven?'" (that is, to bring Christ down). Naye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu)
7 "or 'Who will descend into the abyss?'" (that is, to bring Christ up from the dead). newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)”
8 But what does it say? "The word is near you, in your mouth and in your heart"—meaning the word of faith we proclaim: Abo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira.
9 If you confess with your mouth Jesus is Lord and believe in your heart that our Father raised him from the dead, you will be saved. Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka.
10 For with the heart you believe and are made right with our Father, with the mouth you confess and are saved. Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka.
11 For the Scripture says, "Everyone who believes in him will not be put to shame." Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.”
12 No difference between Jew and Greek: the same Lord is Lord of all, generous to all who call on him. Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola.
13 For "everyone who calls on the name of our Lord Jesus will be saved." Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.
14 So how can they call on one they haven't believed in? How can they believe in one they haven't heard of? How can they hear without someone preaching? Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira?
15 How can they proclaim him unless they're sent? As written: "How beautiful are the feet of those bringing good news!" Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.”
16 But not all obeyed the good news, for Isaiah says, "Our Father, who believed our message?" Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, “Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?”
17 So faith comes from hearing, and hearing through the word about Christ. Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.
18 But I ask: did they not hear? Yes, they did: "Their sound went out to all the earth, their words to the ends of the world." Naye mulowooza Abayisirayiri tebaawulira? Weewaawo baawulira. Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna, n’ebigambo byabwe byatuuka ku nkomerero z’ensi.”
19 But I ask, did Israel not know? First Moses says: "I will make you jealous by those not a nation, angry by a nation without understanding." Abayisirayiri baabitegeera oba tebaabitegeera? Bw’ati Musa bw’addamu ekibuuzo ekyo: “Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abatali ggwanga, ne mbasunguwaza olw’eggwanga eritalina kutegeera.”
20 Isaiah is bold enough to say, "I was found by those not seeking me; I appeared to those not asking for me." Ne Isaaya yali muvumu bwe yagamba nti, “Nazuulibwa abo abatannoonya, ne ndabika eri abo abatambuulirizaako.”
21 But about Israel he says, "All day long I stretched out my hands to a disobedient, defiant people." Naye eri Isirayiri agamba nti, “Olunaku lwonna nalumala nga ngolodde emikono gyange eri eggwanga ekkakanyavu era abantu abeewaggula.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]