Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Romans 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 I speak truth in Christ, not lying—my conscience testifies with me in the Holy Spirit, Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga gunkakasa mu Mwoyo Mutukuvu,
2 that I have great sorrow and unceasing anguish in my heart. nga ndimunakuwavu nnyo era nga nnumwa mu mutima.
3 I could wish myself cursed, cut off from Christ, for my brothers and sisters, my own people by blood. Nnali njagala nze mwene nkolimirwe Katonda era njawukanyizibwe ku Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab’omu mubiri,
4 They are Israelites: theirs the full rights as sons, the glory, the covenants, the lawgiving, the worship, the promises. be Bayisirayiri, abantu ba Katonda abalonde. Katonda yabalaga ekitiibwa kye, n’akola nabo endagaano, n’abawa n’amateeka ge. Yeekaalu yagibawa, n’abawa n’ebyasuubizibwa.
5 The ancestors are theirs; from them, by human descent, comes the Christ, who is God over all, blessed forever. Amen. Balina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina.
6 This doesn't mean our Father's word has failed, for not all descended from Israel are Israel. Naye si kuba nti Katonda yalemwa okutuukiriza kye yasuubiza. Si bonna ab’omu Isirayiri nti bantu ba Katonda ddala.
7 Not all Abraham's offspring are his children; rather, "Your offspring will be named through Isaac." Ate so si nti ly’ezzadde lya Ibulayimu bonna balyoke babeere abaana, naye ekisuubizo kyali ku Isaaka bwe kyagambibwa nti, “Mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.”
8 That is, the children of the flesh are not children of our Father, but children of the promise count as offspring. Kino kitegeeza nti abaana ab’omubiri si be baana ba Katonda, wabula abo ab’okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu.
9 For the promise says: "At this time next year I will come, and Sarah will have a son." Kubanga ekigambo ky’okusuubiza kye kino nti, “Mu kiseera nga kino Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
10 Not only that, but Rebekah too conceived by one man, our father Isaac, Ate si ekyo kyokka, naye ne Isaaka jjajjaffe yalina Lebbeeka eyali olubuto.
11 though not yet born, having done nothing good or bad—so our Father's purpose by election might stand, Naye ng’abalongo tebannazaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola kyonna ekirungi oba ekibi, okusiima kwa Katonda nga bwe kuli,
12 not from works, but from him who calls, she was told: "the older will serve the younger." si lwa bikolwa wabula ku bw’oyo eyabayita, kyategeezebwa Lebbeeka nti, “Omukulu y’aliba omuweereza w’omuto.”
13 As it is written, "Jacob I loved, but Esau I hated." Era nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo namwagala, naye Esawu namukyawa.”
14 What should we say then? Is there injustice with our Father? By no means! Kale tunaagamba ki? Ddala ddala Katonda talina bwenkanya? Kikafuuwe.
15 For he tells Moses, "I will have mercy on whom I have mercy, and I will have compassion on whom I have compassion." Agamba Musa nti, “Ndisaasira oyo gwe ndisaasira, era ndikwatirwa ekisa oyo gwe ndikwatirwa ekisa.”
16 So then it depends not on human will or exertion, but on our Father, who has mercy. Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu by’ayagala newaakubadde by’akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda.
17 For the Scripture says to Pharaoh: "I raised you up for this very reason, to show my power in you, and to have my name proclaimed in all the earth." Ebyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.”
18 So then he has mercy on whomever he wills, and he hardens whomever he wills. Noolwekyo Katonda asaasira oyo gw’ayagala okusaasira, ate n’akakanyaza omutima gw’oyo gw’ayagala okukakanyaza.
19 So you'll ask me, "Why does he still find fault? Who resists his will?" Omu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga y’atuleetera okukola nga bw’asiima?
20 But who are you, mere human, to argue with our Father? Does the molded say to its molder, "Why did you make me like this?" Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?”
21 Does the potter not have authority over the clay, making from one lump a vessel for honor, another for dishonor? Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?
22 What if our Father, wanting to show his wrath and make known his power, patiently endured vessels of wrath prepared for destruction, Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza.
23 to reveal his glory's riches for vessels of mercy he prepared beforehand for glory, Ekyo yakikola alyoke amanyise obugagga bw’ekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye.
24 even us whom he has called, not from the Jews only but also from the Gentiles? Naffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye n’Abaamawanga.
25 As he says in Hosea, "I will call those not my children, my children, and her not beloved, beloved." Ne mu Koseya agamba nti, “Abataali bantu bange ndibayita abantu bange, Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”
26 "And in the very place where it was said to them, 'You are not my people,' there they will be called 'children of the living Father.'" Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti, “Temuli bantu bange, mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”
27 Isaiah cries out about Israel: "Though Israel's children number like sand of the sea, only a remnant will be saved, Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
28 for our Father will carry out his sentence upon the earth, fully and without delay." Kubanga Mukama alisalawo era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”
29 And as Isaiah predicted: "Had the Father of heaven's armies not left us offspring, we'd have become like Sodom, made like Gomorrah." Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti, “Singa Mukama ow’Eggye teyatulekerawo zzadde, twandifuuse nga Sodomu, era twandifaananye nga Ggomola.”
30 What then should we say? Gentiles not pursuing righteousness attained righteousness, righteousness by faith; Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza,
31 but that Israel, who pursued a law of righteousness, did not reach that law. naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo?
32 Why? Because they pursued it not through faith but as though through works. They stumbled on the stumbling stone, Lwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako,
33 as it is written, "See, I am placing in Zion a stumbling stone, a rock that offends; whoever trusts him won't be put to shame." nga bwe kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n’olwazi olulibasuula. Oyo amukkiriza taliswazibwa.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]