Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 34 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 And our Father spoke to Moses, saying, Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "command the Israelites: when you enter the land of Canaan, this is the land that will fall to you as inheritance—the land of Canaan, within its borders. “Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo:
3 Your south side runs from the Zin wilderness along Edom's edge; your south border starts at the Dead Sea's end, eastward. “ ‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba,
4 Your border will turn south of the Ascent of Akrabbim, cross to Zin, reach south of Kadesh-barnea, go on to Hazar-addar, and pass to Azmon. n’eyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, n’eraga ku Zini n’ekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali n’etuuka e Yazimoni,
5 From Azmon the border turns to Egypt's Brook, ending at the Sea. awo w’eriwetera n’egenda ku mugga Wadi ogw’e Misiri n’ekoma ku Nnyanja Ennene.
6 "Your western border will be the Mediterranean Sea and its coast. Ku ludda olw’ebugwanjuba, olubalama lw’Ennyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba.
7 "This will be your north border: from the Mediterranean Sea draw your line to Mount Hor. Ku ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola;
8 From Mount Hor mark a line to Lebo-hamath, ending at Zedad; eve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada,
9 then the border will extend to Ziphron and end at Hazar-enan. This will be your northern border. ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, n’ekoma mu Kazalenooni. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’oku bukiikakkono.
10 "You will mark out your eastern border from Hazar-enan to Shepham. Ensalo yammwe ey’ebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazalenooni okutuuka e Sefamu.
11 The border will go down from Shepham to Riblah, east of Ain, then go down and reach the slope east of the Sea of Chinnereth. Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya.
12 The border goes down to the Jordan, ending at the Dead Sea. This will be your land, with its borders all around." Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo. “ ‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’ ”
13 Moses commanded the Israelites: This is the land you will inherit by lot, which our Father commanded to give to the nine tribes and the half-tribe. Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu,
14 The tribe of Reuben's sons, by their fathers' houses, and the tribe of Gad's sons, by their fathers' houses, have already taken their inheritance; so has the half-tribe of Manasseh. kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe.
15 The two and a half tribes received their inheritance across the Jordan from Jericho, eastward toward the sunrise. Ebika ebyo ebibiri n’ekitundu byamala okugabana obutaka bwabyo ku ludda olw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani ogwa Yeriko okutunuulira enjuba gy’eva.”
16 And our Father spoke to Moses, saying, Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
17 "names of the men who will divide the land for you as inheritance: Eleazar the priest and Joshua son of Nun. “Gano ge mannya g’abasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
18 And you will take one leader from each tribe to divide the land for inheritance. Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi.
19 These are the names of the men: from the tribe of Judah, Caleb the son of Jephunneh; “Gano ge mannya gaabwe: “Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda.
20 from the tribe of the sons of Simeon, Shemuel the son of Ammihud; Semweri mutabani wa Ammikudi ng’ava mu kika kya Simyoni.
21 from the tribe of Benjamin, Elidad the son of Chislon; Eridaadi mutabani wa Kisuloni ng’ava mu kika kya Benyamini.
22 from the tribe of the sons of Dan, a leader, Bukki the son of Jogli; Buki mutabani wa Yoguli ng’ava mu kika kya Ddaani.
23 from Joseph's sons: from Manasseh's tribe, leader Hanniel son of Ephod, Kanieri mutabani wa Efodi ng’ava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu.
24 and from the tribe of the sons of Ephraim, a leader, Kemuel the son of Shiphtan; Kemueri mutabani wa Sifutani ng’ava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu.
25 from the tribe of the sons of Zebulun, a leader, Elizaphan the son of Parnach; Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni.
26 from the tribe of the sons of Issachar, a leader, Paltiel the son of Azzan; Palutiyeri mutabani wa Azani nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali,
27 from the tribe of the sons of Asher, a leader, Ahihud the son of Shelomi; ne Akikuda mutabani wa Seromi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri,
28 and from the tribe of the sons of Naphtali, a leader, Pedahel the son of Ammihud." ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.”
29 These are the ones our Father commanded to divide the inheritance among the children of Israel in the land of Canaan. Abo be basajja Mukama be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bw’abaana ba Isirayiri.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]