Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 35 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses on the plains of Moab by the Jordan across from Jericho: Awo abaana ba Isirayiri bwe baali nga basiisidde mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani, okwolekera Yeriko, Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "Command the Israelites to give the Levites, from the inheritance they hold, cities to live in, and pastureland around them, for the Levites. “Lagira abaana ba Isirayiri nti bawanga Abaleevi ebibuga eby’okubeeramu, nga babiggya mu butaka bwabwe bwe baligabana obw’enkalakkalira. Era babaweerangako n’amalundiro okwetooloola ebibuga ebyo.
3 The cities are theirs to live in; the pasturelands are for their cattle, livestock, and all their living creatures. Kale, olwo balibeera n’ebibuga ebyokusulangamu, n’amalundiro ag’ente zaabwe n’endiga zaabwe, awamu n’ensolo zaabwe endala ezirundibwa.
4 "The pasturelands of the cities you give the Levites reach about 1,500 feet out from the city wall on every side. “Amalundiro aganaaweebwanga Abaleevi ab’omu bibuga ebyo ganaapimwanga obugazi okuva ku bbugwe w’ekibuga mita ebikumi bina mu ataano.
5 Measure outside the city: about 3,000 feet on the east side, 3,000 on the south side, 3,000 on the west side, 3,000 on the north side, with the city in the middle. This is the pastureland for their cities. Amalundiro ago ganaapimanga obuwanvu bwa mita lwenda ku ludda olw’ebuvanjuba, ne mita lwenda ku ludda olw’ebugwanjuba, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikakkono, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikaddyo, ng’ekibuga kiri wakati. Ago ge ganaabanga amalundiro gaabo ab’omu kibuga.
6 "Of the cities you give the Levites, six are to be cities of refuge, for a killer to flee to; besides these, give forty-two cities. “Ku bibuga bye muligabira Abaleevi kugenda kubeerako ebibuga mukaaga eby’okuddukirangamu, omuntu asse omuntu nga tagenderedde. Okwo mulyoke mwongereko ebibuga amakumi ana mu bibiri.
7 "All the cities that you give the Levites are to be forty-eight cities, together with their pasturelands. Okutwalira awamu muliteekwa okugabira Abaleevi ebibuga amakumi ana mu munaana, mubagattireko n’amalundiro.
8 From Israel's territory, give the Levites cities—more from large tribes, fewer from small; each gives in proportion to the inheritance it received." Omuwendo gw’ebibuga bye muligabira Abaleevi gulyesigamizibwa ku bunene n’obutono obwa buli busika obw’abaana ba Isirayiri. Ab’obusika obunene muliwaayo ebibuga bingi, n’ab’obusika obutono muliwaayo ebibuga bitono.”
9 Our Father spoke to Moses: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
10 "Speak to the Israelites and tell them: When you cross the Jordan into the land of Canaan, “Yogera eri abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi y’e Kanani,
11 choose cities for yourselves, cities of refuge, where anyone who kills a person unintentionally may flee there. mweronderangamu ebibuga ebinaabanga ebibuga byammwe eby’okuddukirangamu; ng’omwo omuntu asse omuntu nga tagenderedde mw’anaddukiranga.
12 These cities are a refuge for you from the blood avenger, so the killer won't die until standing before the assembly for judgment. Bye binaabanga ebifo eby’obuddukiro okwewala omuwoolezi w’eggwanga, omuntu ateeberezebwa okuba omutemu alemenga okuttibwa nga tasoose kuwozesebwa mu maaso g’ekibiina.
13 The cities you give are to be six cities of refuge for you. Ebibuga ebyo omukaaga bye mugenda okuwaayo bye binaabanga ebibuga byammwe eby’obuddukiro.
14 Give three cities beyond the Jordan and three cities in the land of Canaan; they are to be cities of refuge. Mugenda kuwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani, n’ebibuga bisatu mu Kanani, okubeeranga ebibuga eby’obuddukiro.
15 These six cities are a refuge for Israelites, the foreigner, and the temporary resident among them, so anyone who kills a person by accident may flee there. Abaana ba Isirayiri n’abagenyi bammwe, n’abagwira abanaabeeranga mu mmwe, mwenna munaddukiranga mu bibuga ebyo omukaaga. Kwe kugamba nti omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde anaddukiranga omwo.’
16 "But if someone strikes another with an iron object and the victim dies, the attacker is a murderer—the murderer must be put to death. “ ‘Omuntu bw’anaakubanga omuntu n’ekyuma n’amutta, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala.
17 If he struck him with a stone in his hand that could kill, and he died, he is a murderer; the murderer must be put to death. Era omuntu bw’anaabanga akutte ejjinja mu ngalo ze, n’akuba munne n’ejjinja eryo, omutemu anattirwanga ddala.
18 Or if he struck him with a deadly wooden tool in hand, and he died, he is a murderer; the murderer must be put to death. Oba omuntu bw’anaabanga akutte ekyokulwanyisa eky’omuti mu ngalo ze, ekiyinza okutta omuntu, n’akikubisa munne, munne n’afa, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala.
19 The avenger of blood is to kill the murderer himself; when he meets him, he is to kill him. Omuwoolezi w’eggwanga yennyini y’anattanga omutemu; bw’anaamusisinkananga anaamuttanga.
20 If he pushed him from hatred, or threw something at him in ambush, so he died, Omuntu bw’anaabangako ekiruyi ku munne n’amufumita ng’akigenderedde, olw’obukyayi, oba n’amwekwekerera n’amukasuukirira ekintu ne kimukuba ne kimutta,
21 or if he struck him with his hand out of hatred and he died, the striker must be put to death—he is a murderer. The avenger of blood is to kill the murderer when he finds him. oba olw’obulabe bw’amulinako n’amukuba ekikonde, munne n’afa, omuntu oyo amukubye ekikonde anaafanga; kubanga mutemu. Omuwoolezi w’eggwanga y’anattanga omutemu oyo ng’amusisinkanye.
22 "But if he shoved him suddenly without hostility, or threw anything at him without ambush, “ ‘Singa omuntu afumita munne mangwago, gw’atalinaako bulabe, oba n’akasuka ekintu nga tagenderedde ne kimukuba,
23 or, without seeing him, dropped on him a stone able to kill, and he died—not his enemy, not seeking his harm, oba n’ayiringisa ejjinja, eriyinza okutta omuntu, ne limugwako nga tamulabye, n’afa; olwokubanga teyali mulabe we, era nga yali tagenderedde kumulumya;
24 then the assembly is to judge between the slayer and the avenger of blood according to these rules. kale, olukiiko lw’ekibiina lunaasalangawo wakati we n’omuwoolezi w’eggwanga, nga lugoberera amateeka gano nga bwe gali.
25 The assembly must rescue the killer from the blood avenger's hand and return him to the city of refuge he fled to; he must stay there until the high priest anointed with holy oil dies. Omussi oyo olukiiko lw’ekibiina lunaamuwonyanga omuwoolezi w’eggwanga, ne lumuleka n’abeeranga mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa Kabona Omukulu eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni amatukuvu ng’amaze okufa.
26 "But if the killer ever leaves the border of his refuge city, where he fled, “ ‘Naye omussi oyo bwe kanaamutandanga n’afulumako mu kibuga kye eky’obuddukiro mwe yaddukira,
27 if the avenger of blood finds him outside his city of refuge's border and kills the killer, he incurs no bloodguilt. omuwoolezi w’eggwanga n’amala amusanga ebweru w’ekibuga ekyo, n’amutta, omuwoolezi w’eggwanga taabengako musango gwa butemu.
28 The killer must stay in his city of refuge until the high priest dies; only after the high priest's death may he return to his own land. Kubanga omussi oyo kinaamusaaniranga okubeera mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa nga Kabona Omukulu amaze okufa. Kabona Omukulu anaamalanga kufa, omussi oyo n’addayo ewuwe mu bintu bye eby’obutaka.
29 These are to be a permanent law for you throughout your generations, in every place where you live. “ ‘Gano ganaabeeranga mateeka gammwe ge munaakwatanga mu mirembe gyammwe gyonna ne buli we munaabeeranga.
30 "Anyone who kills a person is to be executed as a murderer, on witnesses' testimony; one witness alone cannot testify against a person to cause death. Omuntu bw’anattanga munne, ne wabaawo obujulizi, omutemu oyo naye anaafanga. Naye tewaabengawo attibwa ku bujulizi obw’omuntu omu yekka.
31 "Take no ransom for a murderer's life who deserves death—he must be executed. “ ‘Temukkirizanga mutango olw’okununula omussi asingiddwa omusango ogw’obutemu n’asalirwa okuttibwa; anaateekwanga okuttibwa.
32 Take no ransom for someone who fled to his city of refuge, letting him return to live in the land before the priest dies. “ ‘Temukkirizanga mutango ogw’okununula omussi abeera mu kibuga eky’obuddukiro, alyoke aveeyo addeyo ewuwe nga Kabona Omukulu tannaba kufa.
33 "Don't pollute the land you live in—blood pollutes the land, and the land can have no atonement for blood shed on it except by the blood of the one who shed it. “ ‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu. Okuyiwa omusaayi kyonoona ensi; okutangiririra ensi omuyiise omusaayi si kyangu, okuggyako ng’etangiririrwa n’omusaayi gw’oyo eyayiwa omusaayi mu nsi omwo.
34 Don't make the land unclean—you live there, and I live among you; for I, your Father, live among Israel's people." Temwonoonanga nsi mwe mubeera nange mwe mbeera, kubanga Nze, Mukama Katonda, mbeera wakati mu baana ba Isirayiri.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]