Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 36 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The family heads of Gilead's clan—descendants of Machir son of Manasseh, from Joseph's clans—approached and spoke before Moses and the leaders, heads of Israel's family clans. Awo abakulembeze b’ennyumba z’empya ez’omu lunyiriri lwa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, nga bava mu kika kya Yusufu, ne bajja ne boogera ne Musa n’abakulembeze n’abazadde b’abaana ba Isirayiri.
2 They said, "Our Father commanded my lord to give the land as an inheritance by lot to Israel's people, and my lord was commanded by our Father to give our brother Zelophehad's inheritance to his daughters. Ne bagamba nti, “Mukama Katonda yalagira mukama waffe, abaana ba Isirayiri obagabanyizeemu ettaka ery’obusika bwabwe ng’okuba akalulu, era n’akulagira ebyobusika ebya muganda waffe Zerofekadi abigabire abaana be abawala.
3 If they marry men from other Israelite tribes, their inheritance will be removed from our fathers' inheritance and added to their new tribe's, shrinking our allotted inheritance. Kale, nno, bwe balifumbirwa abalenzi abazaalibwa mu bika ebirala eby’abaana ba Isirayiri, ebyobusika byabwe bigenda kuggyibwa ku by’obusika obwa bajjajjaffe bigattibwe ku by’obusika obw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa. Kale olwo ebyobusika bye twagabana birituggyibwako.
4 When Israel's jubilee comes, their inheritance joins the inheritance of the tribe they marry into, taken from our fathers' tribe's inheritance." Awo Omwaka gwa Jjubiri ogw’abaana ba Isirayiri bwe gunaatuukanga, ebyobusika byabwe bigenda kugattibwanga ku bw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa, n’eby’obutaka bwabwe nga bitoolebwa ku butaka obwa bajjajjaffe obw’ensikirano.”
5 So Moses commanded the Israelites at our Father's word, saying, "The tribe of Joseph speaks rightly. Awo Musa n’addamu abantu ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Abava mu batabani ab’omu kika kya Yusufu kye bagamba kituufu.
6 This is what our Father commands about Zelophehad's daughters: they may marry whoever they think best, only within their father's tribal clan. Kino kye kiragiro kya Mukama Katonda ku nsonga z’abawala ba Zerofekadi: Mubaleke bafumbirwenga omusajja gwe baneesiimiranga, naye omusajja oyo gwe banaafumbirwanga anaavanga mu kika kya kitaabwe.
7 No Israelite inheritance may pass from tribe to tribe; each Israelite must keep their ancestral tribe's inheritance. Mu by’obusika bw’abaana ba Isirayiri, tewaabengawo butaka obw’obusika obunaggibwanga mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala, kubanga buli omu mu baana ba Isirayiri anaakuumanga butiribiri obutaka obw’omu kika kye bw’anaabanga asikidde okuva ku bajjajjaabe.
8 Every daughter who inherits in an Israelite tribe must marry within her father's tribal clan, so every Israelite keeps his ancestral inheritance. Era buli mwana owoobuwala anaasikiranga obutaka mu kika kyonna eky’abaana ba Isirayiri, anaateekwanga okufumbirwa omusajja ow’omu kika kya kitaawe w’omuwala oyo; bwe kityo buli mwana wa Isirayiri anaabeeranga n’obutaka obw’obusika bwa bakitaawe.
9 No inheritance may pass from one tribe to another; each tribe of Israel must hold to its own inheritance." Noolwekyo tewaabengawo butaka obw’obusika obuggyibwa mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala; kubanga buli kika eky’abaana ba Isirayiri kinaakuumanga butiribiri obutaka bw’obusika obw’ekika ekyo.”
10 Just as our Father commanded Moses, so the daughters of Zelophehad did. Bwe batyo bawala ba Zerofekadi ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
11 Mahlah, Tirzah, Hoglah, Milcah, and Noah, the daughters of Zelophehad, married their cousins on their father's side. Bawala ba Zerofekadi bano: Maala, ne Tiruza, ne Kogula, ne Mirika, ne Noowa, baafumbirwa batabani ba baganda ba bakitaabwe.
12 They married into the clans of Manasseh son of Joseph's descendants, and their inheritance stayed in their father's tribal clan. Baafumbirwa mu mpya za batabani ba Manase mutabani wa Yusufu, ebyobusika byabwe ne bisigala mu kika kya kitaabwe.
13 These are the commands and rulings our Father commanded through Moses to Israel's people on the plains of Moab, by the Jordan at Jericho. Ago ge mateeka n’ebiragiro Mukama Katonda bye yalagira Musa n’abituusa eri abaana ba Isirayiri nga bali mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]