Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 33 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 These are the stages of the Israelites' journey out of Egypt, by their divisions under Moses and Aaron's hand. Bino bye bitundu by’olugendo lw’abaana ba Isirayiri olwabaggya mu nsi y’e Misiri mu bibinja byabwe, nga bakulemberwa Musa ne Alooni.
2 Moses wrote their starting points by stage, at our Father's command; these are their stages by starting points. Musa yawandiika buli kitundu ky’olugendo we kyatandikiranga, nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Bino bye bitundu ebyo:
3 They set out from Rameses on the fifteenth day of the first month, the day after Passover—the Israelites marched out boldly, in full view of all the Egyptians, Abaana ba Isirayiri baasitula okuva e Lamesesi ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’olubereberye, nga lwe lunaku oluddirira Embaga ey’Okuyitako. Baasitula n’obuvumu awatali kutya, nga beeyagala, ng’Abamisiri bonna babalaba bulungi;
4 while the Egyptians buried all their firstborn, whom our Father had struck down among them, and on their gods our Father executed judgments. ng’Abamisiri bwe baziika abaana baabwe ababereberye Mukama be yali abasseemu; kubanga Mukama Katonda yali asalidde bakatonda b’Abamisiri omusango okubasinga.
5 The children of Israel set out from Rameses and camped at Succoth. Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Lamesesi ne basiisira e Sukkosi.
6 They set out from Succoth and camped at Etham, which is on the edge of the wilderness. Ne bava e Sukkosi ne basiisira e Yesamu, eddungu we litandikira.
7 They left Etham, turned back to Pi-hahiroth, east of Baal-zephon, and camped before Migdol. Bwe baava mu Yesamu ne baddako emabega ne batuuka e Pikakirosi ekiri ku buvanjuba bwa Baali Zefoni, ne basiisira okuliraana Migudooli.
8 They set out from before Hahiroth, crossed the sea into the wilderness, traveled three days through the wilderness of Etham, and camped at Marah. Ne basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala.
9 They left Marah and reached Elim, where twelve water springs and seventy palm trees stood; there they camped. Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo.
10 They set out from Elim and camped by Yam Suph. Bwe baava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emyufu.
11 They set out from Yam Suph and camped in the wilderness of Sin. Ne bava ku Nnyanja Emyufu ne basiisira mu Ddungu Sini.
12 They set out from the wilderness of Sin and camped at Dophkah. Bwe bava mu Ddungu Sini ne basiisira e Dofuka.
13 They set out from Dophkah and camped at Alush. Ne bava e Dofuka ne basiisira e Yalusi.
14 They left Alush and camped at Rephidim, where the people had no water to drink. Bwe bava e Yalusi ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywako.
15 They set out from Rephidim and camped in the wilderness of Sinai. Ne bava e Lefidimu ne basiisira mu Ddungu lya Sinaayi.
16 They set out from the wilderness of Sinai and camped at Kibroth-hattaavah. Ne bava mu Ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu Katava.
17 They set out from Kibroth-hattaavah and camped at Hazeroth. Bwe bava e Kiberosu Katava ne basiisira e Kazerosi.
18 They set out from Hazeroth and camped at Rithmah. Bwe bava e Kazerosi ne basiisira e Lisuma.
19 They set out from Rithmah and camped at Rimmon-perez. Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni Perezi.
20 They set out from Rimmon-perez and camped at Libnah. Bwe bava e Limoni Perezi ne basiisira e Libuna.
21 They set out from Libnah and camped at Rissah. Ne bava e Libuna ne basiisira e Lisa.
22 They set out from Rissah and camped at Kehelathah. Ne bava e Lisa ne basiisira e Kekerasa.
23 They set out from Kehelathah and camped at Mount Shepher. Bwe bava e Kekerasa ne basiisira ku Lusozi Seferi.
24 They set out from Mount Shepher and camped at Haradah. Bwe bava ku Lusozi Seferi ne basiisira e Kalada.
25 They set out from Haradah and camped at Makheloth. Ne bava e Kalada ne basiisira e Makerosi.
26 They set out from Makheloth and camped at Tahath. Ne bava e Makerosi ne basiisira e Takasi.
27 They set out from Tahath and camped at Terah. Bwe bava e Takasi ne basiisira e Tera.
28 They set out from Terah and camped at Mithkah. Bwe bava e Tera ne basiisira e Misuka.
29 They set out from Mithkah and camped at Hashmonah. Ne bava e Misuka ne basiisira e Kasumona.
30 They set out from Hashmonah and camped at Moseroth. Ne bava e Kasumona ne basiisira e Moserosi.
31 They set out from Moseroth and camped at Bene-jaakan. Bwe bava e Moserosi ne basiisira e Beneyakani.
32 They set out from Bene-jaakan and camped at Hor-haggidgad. Ne bava e Beneyakani ne basiisira e Kolu Kagidugada.
33 They set out from Hor-haggidgad and camped at Jotbathah. Ne bava e Kolu Kagidugada ne basiisira e Yotubasa.
34 They set out from Jotbathah and camped at Abronah. Ne bava e Yotubasa ne basiisira e Yabulona.
35 They set out from Abronah and camped at Ezion-geber. Ne bava e Yabulona ne basisira mu Ezyoni Geba.
36 They set out from Ezion-geber and camped in the wilderness of Zin, that is, Kadesh. Ne bava mu Ezyoni Geba ne basiisira e Kadesi mu Ddungu lya Zini.
37 They left Kadesh and camped at Mount Hor, on the edge of Edom's land. Bwe baava e Kadesi ne basiisira ku Lusozi Koola, okuliraana n’ensi ya Edomu.
38 Aaron the priest climbed Mount Hor at our Father's command and died there in the fortieth year after the children of Israel left the land of Egypt, in the fifth month, on its first day. Awo Alooni kabona n’alinnya ku Lusozi Koola, nga Mukama Katonda bwe yamulagira, n’afiira eyo, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, ng’abaana ba Isirayiri baakamaze emyaka amakumi ana kasookedde bava mu nsi y’e Misiri.
39 Aaron was 123 years old when he died on Mount Hor. Alooni yali yakamaze emyaka egy’obukulu kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku Lusozi Koola.
40 The Canaanite king of Arad, living in the Negev of Canaan, heard the Israelites were coming. Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo obwa Kanani, n’awulira ng’abaana ba Isirayiri bajja.
41 They set out from Mount Hor and camped at Zalmonah. Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva ku Lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.
42 They set out from Zalmonah and camped at Punon. Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punoni.
43 They set out from Punon and camped at Oboth. Ne bava e Punoni ne basiisira e Yebosi.
44 They set out from Oboth and camped at Iye-abarim, on the border of Moab. Ne bava e Yebosi ne basiisira mu Lye Abalimu, okuliraana ne Mowaabu.
45 They set out from Iyim and camped at Dibon-gad. Ne bava mu Iyimu ne basiisira e Diboni Gadi.
46 They set out from Dibon-gad and camped at Almon-diblathaim. Ne bava e Diboni Gadi ne basiisira e Yalumonu Dibulasaimu.
47 They set out from Almon-diblathaim and camped in the mountains of Abarim, near Nebo. Ne bava e Yalumonu Dibulasaimu ne basiisira mu nsozi za Abalimu, okuliraana Nebo.
48 They left the mountains of Abarim and camped on the plains of Moab, by the Jordan at Jericho. Bwe baava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu okuliraana n’omugga Yoludaani olwolekera Yeriko.
49 They camped along the Jordan, from Beth-jeshimoth to Abel-shittim, on the plains of Moab. Ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu nga bagendera ku mugga Yoludaani okuva e Besu Yesimosi okutuuka e Yaberi Sitimu.
50 Our Father spoke to Moses in the plains of Moab by the Jordan at Jericho, saying: Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko n’amugamba nti,
51 "Speak to the Israelites and tell them: When you cross the Jordan into the land of Canaan. “Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani;
52 Drive out everyone living in the land before you; destroy all their carved images and metal figures, and tear down all their high places. mugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje n’ebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza.
53 Possess the land and live in it, for I have given you the land to possess. Ensi eyo muligyetwalira, ne mugituulamu, kubanga ensi eyo ngibawadde okubeera eyammwe ey’obwanannyini.
54 Divide the land by lot among your clans—more land to larger clans, less to smaller ones. Wherever the lot falls for someone, that becomes theirs. You will inherit by your ancestral tribes. Ensi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri.
55 "But if you don't drive out the land's residents before you, those you leave will be barbs in your eyes and thorns in your sides, troubling you in the land where you live. “Naye abatuuze ab’omu nsi omwo bwe mutalibagobamu bonna, kale, abo abalisigalamu bagenda kubafuukira enkato mu mmunye zammwe era babeere maggwa mu mbiriizi zammwe. Balibateganya mu nsi omwo mwe munaabeeranga.
56 And then I will do to you what I had planned to do to them." Olwo bye ntegeka okukola bali, ndibikola mmwe.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]