Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 32 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The sons of Reuben and sons of Gad had vast herds of livestock. Seeing the land of Jazer and land of Gilead, they noticed it suited livestock well. Batabani ba Lewubeeni ne batabani ba Gaadi baalina amagana g’ente n’ebisibo by’endiga; ebisolo byabwe nga bingi nnyo. Baatunuulira ensi ya Yazeri n’ensi ya Gireyaadi, ne balaba ng’ekitundu ekyo kituufu okulundiramu ebisolo byabwe.
2 The sons of Gad and sons of Reuben came and said to Moses, to Eleazar the priest, and to the community's leaders: Ne bajja awali Musa ne Eriyazaali kabona, n’eri abakulembeze b’ekibiina ne babagamba nti,
3 "Ataroth, Dibon, Jazer, Nimrah, Heshbon, Elealeh, Sebam, Nebo, and Beon, “Ebitundu bino: Atalisi, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimula, ne Kesuboni, ne Ereyale, ne Sebamu, ne Nebo ne Beoni,
4 the land our Father struck down before Israel's community—is land for livestock, and your servants have livestock." bye bitundu by’ensi Mukama Katonda gye yawangulira mu maaso g’abaana ba Isirayiri, nsi nnungi okulundiramu; ate ng’abaweereza bammwe tulina ebisolo byaffe bingi.”
5 They said, "If we have found favor in your eyes, give this land to your servants as a possession. Don't make us cross the Jordan." Ne bagamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwammwe, mukkirize ebitundu by’ensi bino bituweebwe, ffe abaweereza bammwe, bibeere obutaka bwaffe. Temutusomosa Yoludaani.”
6 Moses said to the sons of Gad and Reuben, "Should your brothers go to war while you sit here? Musa n’agamba batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni nti, “Mwagala baganda bammwe bagende batabaale, nga mmwe mwetuulidde wano?
7 Why discourage Israel from crossing into the land our Father has given them? Lwaki abaana ba Isirayiri mwagala okubamalamu amaanyi mu mitima gyabwe mubalemese okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’abawadde?
8 This is what your fathers did when I sent them from Kadesh-barnea to see the land. Ne bakadde bammwe bwe baakola bwe nabatuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi.
9 They went up to the Valley of Eshcol, saw the land, then discouraged the Israelites' hearts from entering the land our Father had given them. Kubanga bwe baayambuka mu Kiwonvu ekya Esukoli, ensi ne bagiraba, ne bayeengebula emitima gy’abaana ba Isirayiri baleme okugenda okuyingira mu nsi Mukama Katonda gye yali abawadde.
10 And our Father's anger burned that day, and he swore an oath, saying, Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku lunaku olwo, n’alayira nti,
11 surely the men who came up from Egypt, twenty years old and up, will not see the land I swore to give to Abraham, to Isaac, and to Jacob—because they did not fully follow me. ‘Olw’okubanga tebaŋŋondedde n’omutima gwabwe gwonna, tewalibaawo n’omu ku basajja ab’emyaka okuva ku myaka makumi abiri okweyongerayo egy’obukulu, abaasimbuka okuva mu Misiri, aliraba ku nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo;
12 None but Caleb son of Jephunneh the Kenizzite and Joshua son of Nun, for they fully followed our Father. tewalibaawo n’omu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, kubanga abo baagondera Mukama Katonda n’omutima gwabwe gwonna.’
13 The anger of our Father burned against Israel; he made them wander the wilderness forty years until the whole generation that had done evil before our Father had died. Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira Isirayiri, n’abatambuliza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa omulembe gw’abo abaasobya mu maaso ga Mukama lwe gwaggweerera.
14 Now you have risen up in place of your fathers, a brood of sinners, adding still more to our Father's fierce anger against Israel! “Kale nno mmwe muli bazzukulu baabwe, batabani b’abakozi b’ebibi, nga mwongera okunakuwaza Mukama Katonda anyiigire Isirayiri!
15 If you turn from following him, he will leave them in the wilderness once again, and you will destroy all this people." Kubanga singa mumukuba amabega ne mutakola by’ayagala ne mutamugoberera, abantu be ajja kwongera okubeesammulako, nate abaleke mu ddungu omulundi ogwokubiri, era bwe balizikirira mwe mulibaako obuvunaanyizibwa obwo.”
16 They came to him and said, "We'll build pens here for our livestock and cities for our children. Ne bamusemberera ne bamuddamu nti, “Twagala tuzimbe wano ebiraalo eby’ebisibo by’ebisolo byaffe, tuzimbe n’ebigo eby’abaana baffe abato.
17 But we will arm ourselves, ready to go ahead of the Israelites until we bring them to their place, while our children stay in fortified cities, safe from those living in the land. Naye ffe tubagalire ebyokulwanyisa, tukulembere abaana ba Isirayiri tubatuuse mu bifo byabwe. Olwo abaana baffe abato balisigala mu bibuga bye tuzimbyeko ebigo ebinywevu, kubanga mu nsi muno mulimu abantu baamu.
18 We will not return home until every Israelite has taken his inheritance. Tetugenda kudda mu maka gaffe okutuusa ng’abaana ba Isirayiri buli omu amaze okuweebwa obutaka bwe.
19 We won't inherit with them across the Jordan and beyond, since our inheritance has come to us on this side of the Jordan, to the east." Ffe tetugenda kugabana nabo ku butaka obwo obuli emitala wa Yoludaani n’okweyongerayo; kubanga obutaka bwaffe tuliba tubufunye ku ludda luno olwa Buvanjuba bwa Yoludaani.”
20 Moses said to them, "If you do this—if you arm yourselves before our Father for the war, Awo Musa n’abagamba nti, “Bwe munaakola bwe mutyo, ne mukwata ebyokulwanyisa mu maaso ga Mukama Katonda nga mwetegekedde olutalo,
21 and every armed man among you crosses the Jordan before our Father until he drives out his enemies from before him, ne musomoka Yoludaani n’ebyokulwanyisa byammwe mu maaso ga Mukama Katonda, okutuusa ng’agobye abalabe be mu maaso ge,
22 and the land is subdued before our Father, afterward you may return and be free of obligation to him and to Israel, and this land will be your possession before our Father. n’ensi ng’ewanguddwa mu maaso ga Mukama Katonda, olwo muliyinza okukomawo nga temuliiko kya kuvunaanyizibwa eri Mukama n’eri Isirayiri. Ekitundu ky’ensi kino ne kibeera omugabo gwammwe mu maaso ga Mukama.
23 But if you don't do this, look—you will have sinned against our Father, and know: your sin will overtake you. “Naye bwe mutalikola bwe mutyo, muliba musobezza nnyo awali Mukama Katonda, era mutegeerere ddala ng’ekibi kyammwe ekyo kiribayigga ne kibakwasa.
24 Build cities for your little ones, pens for your flocks, and do what your mouth has promised." Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga eby’ebigo ebinywevu, n’ebisolo byammwe mubizimbire ebiraalo, era mukole n’ebyo bye musuubizza.”
25 The sons of Gad and Reuben said to Moses, "Your servants will do as my lord commands. Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga ggwe mukama waffe bw’otulagidde.
26 Our children, wives, flocks, and all our herds will stay there in the cities of Gilead, Abaana baffe abato ne bakazi baffe, n’ebisibo byaffe eby’endiga n’ebiraalo byaffe eby’ente byonna bijja kusigala wano mu bibuga bya Gireyaadi.
27 but your servants, every man armed for war, will cross before our Father to battle, as my lord says." Naye abaweereza bo, buli musajja eyeewaddeyo okutabaala ajja kusomoka alwanire mu maaso ga Mukama Katonda, nga ggwe mukama waffe bw’ogambye.”
28 So Moses commanded Eleazar the priest, Joshua son of Nun, and the clan leaders of Israel's tribes about them. Awo Musa n’abawaako ebiragiro eri Eriyazaali kabona, n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n’eri abakulembeze b’empya ez’omu bika by’abaana ba Isirayiri.
29 Moses said to them, "If Gad's and Reuben's sons cross the Jordan with you, every man armed for battle before our Father, and the land is subdued before you, then give them Gilead as their possession. Musa n’agamba nti, “Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni, buli musajja eyeetegese okutabaala mu maaso ga Mukama Katonda, bwe balisomoka nammwe Yoludaani, n’ensi eri mu maaso gammwe n’ewangulwa, kale mubawanga ensi ya Gireyaadi okubeera omugabo gw’obutaka bwabwe.
30 But if they won't cross over armed with you, they must take possession among you in the land of Canaan." Naye bwe basomokanga nammwe nga tebalina byakulwanyisa, kale baligabanira wamu nammwe eby’obutaka bwabwe mu nsi ya Kanani.”
31 Gad's and Reuben's sons answered, "We will do as our Father told your servants. Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni ne baddamu nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga Mukama bw’atugambye.
32 We ourselves will cross armed before our Father into the land of Canaan, and our inherited possession will remain ours beyond the Jordan." Tujja kusomokera mu maaso ga Mukama Katonda tuyingire mu nsi ya Kanani nga twesibye ebyokulwanyisa, naye omugabo gwaffe ogw’obutaka bwaffe gujja kusigala ku ludda luno olwa Yoludaani.”
33 Moses gave to them—the sons of Gad, the sons of Reuben, and the half-tribe of Manasseh son of Joseph—the kingdom of Sihon king of the Amorites and the kingdom of Og king of Bashan: the land, its cities, the territories, and the cities of the country around. Awo Musa n’abagabira, abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w’Abamoli, n’obwakabaka bwa Ogi kabaka w’e Basani, n’abawa ensi n’ebibuga byamu, n’amatwale gaayo n’ebibuga byamu ebigyetoolodde.
34 And the sons of Gad built Dibon, Ataroth, Aroer, Batabani ba Gaadi ne bazimba ebibuga bino: Diboni, ne Atalosi, ne Aloweri,
35 Atroth-shophan, Jazer, Jogbehah, ne Aterosi Sofani, ne Yazeri, ne Yogubeka;
36 Beth-nimrah, and Beth-haran—fortified cities and pens for sheep. ne Besu Nimira, ne Besu Kalaani, nga bye bibuga ebiriko ebigo ebinywevu, ne bakola n’ebisibo by’ebisolo byabwe.
37 And the sons of Reuben built Heshbon, Elealeh, Kiriathaim, Batabani ba Lewubeeni ne bazimba ebibuga bino: Kesuboni, ne Ereyale, ne Kiriyasayimu,
38 Nebo, Baal-meon (renamed), and Sibmah—they gave the cities they rebuilt new names. ne Nebo, ne Baalu Myoni (amannya gaabyo gaakyusibwa), ne Sibima. Ebibuga bye baddaabiriza baabituuma amannya malala.
39 Sons of Machir son of Manasseh went to Gilead, captured it, and drove out the Amorites living there. Abaana ba Makiri, mutabani wa Manase, ne bagenda e Gireyaadi, ensi eyo ne bagiwamba, ne bagobamu Abamoli abaagibeerangamu.
40 So Moses gave Gilead to Machir son of Manasseh, and he settled in it. Bw’atyo Musa n’awa Gireyaadi, Makiri mutabani wa Manase, n’atuula omwo.
41 And Jair son of Manasseh went and captured their villages, and called them Havvoth-jair. Yayiri mutabani wa Manase n’agenda ne yeetwalira obubuga obutonotono, n’abutuuma Kavosu Yayiri.
42 And Nobah went and captured Kenath and its villages, and called it Nobah, after his own name. Ne Noba naye n’awamba Kenasi n’obwalo obukyetoolodde, n’akituuma Noba erinnya lye.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]