Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 31 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father said to Moses, Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "Avenge the Israelites against the Midianites; afterward you will be gathered to your people." “Woolera eggwanga ly’abaana ba Isirayiri ku Bamidiyaani, oluvannyuma olyoke ogende abantu bo bonna gye balaga.”
3 So Moses told the people, "Arm men from among you for war, to go against Midian and carry out our Father's justice on Midian. Awo Musa n’agamba abantu nti, “Muyungule okuva mu mmwe abasajja abalwanyi mubawe ebyokulwanyisa, beetegekere olutalo, batabaale Midiyaani bawoolere eggwanga lya Mukama Katonda ku Midiyaani.
4 You are to send 1,000 from each of the tribes of Israel to the war." Mu buli kika kya Isirayiri mujja kuggyamu abasajja lukumi abanaagenda okutabaala.”
5 So from Israel's thousands, 1,000 per tribe were supplied—12,000 armed for war. Awo ne baleeta okuva ku nkumi za Isirayiri abasajja lukumi okuva mu buli kika be balwanyi omutwalo gumu mu enkumi bbiri abeetegekera olutabaalo.
6 Moses sent them to war, 1,000 from each tribe, with Phinehas son of Eleazar the priest, carrying the holy articles of the sanctuary and the signal trumpets in his hand. Musa n’abasindika mu lutalo, abalwanyi lukumi nga bava mu buli kika; ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, n’ebintu by’omu watukuvu n’amakondeere ag’okulwana ng’ali nago.
7 They waged war against Midian, as our Father had commanded Moses, and they killed every male. Ne batabaala Midiyaani nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa, ne batta buli musajja.
8 They killed the kings of Midian among the slain—Evi, Rekem, Zur, Hur, and Reba, Midian's five kings—and killed Balaam son of Beor with the sword. Mu battibwa mwe mwagendera ne bakabaka ba Midiyaani bano abataano: Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuula, ne Leeba. Balamu mutabani wa Byoli naye baamuttiramu n’ekitala.
9 The people of Israel captured Midian's women and children, and plundered all their livestock, flocks, and goods. Abaana ba Isirayiri ne bawamba abakazi ba Midiyaani n’abaana baabwe, ne banyaga ente n’ebisibo byabwe n’ebintu ebirala bingi.
10 They burned with fire all the cities where they lived and all their camps, Baayokya ebibuga by’Abamidiyaani mwe baabeeranga, awamu n’ensiisira zaabwe zonna.
11 and they took all the spoil and all the plunder, both people and animals. Baatwala omunyago gwonna, nga mulimu n’abantu n’ensolo;
12 They brought the captives, plunder, and spoil to Moses, Eleazar the priest, and Israel's whole assembly, at the camp on Moab's plains by the Jordan, across from Jericho. ne babireeta awali Musa ne Eriyazaali kabona n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri mu lusiisira lwabwe olwali mu nsenyi za Mowaabu eziri ku mugga Yoludaani okutunuulira emitala wa Yeriko.
13 Moses, Eleazar the priest, and all the assembly's leaders went to meet them outside the camp. Musa ne Eriyazaali kabona n’abakulembeze mu kibiina bonna ne bagenda okusisinkana abatabaazi ebweru w’olusiisira.
14 But Moses was angry with the army's officers, commanders of thousands and commanders of hundreds, who returned from the battle. Musa n’anyiigira abakulembeze b’eggye, abaduumizi b’ebikumi n’abaduumizi b’enkumi abaakomawo nga bava mu lutabaalo.
15 Moses said to them, "Have you let all the women live? Musa n’ababuuza nti, “Abakazi bonna temubasse?
16 Look, these women, on Balaam's advice, led Israel to betray our Father in the Peor incident, bringing the plague on the congregation of our Father. Mumanyi nga be baaleetera abaana ba Isirayiri okujeemera Mukama Katonda e Peoli bwe baakolera ku magezi Balamu ge yabawanga, kawumpuli amale alumbe ekibiina kya Mukama.
17 Now kill every male child, and kill every woman who has slept with a man. Kale nno mutte buli mulenzi mu baana abato, era mutte na buli mukazi eyali yeegasseeko n’omusajja.
18 But keep alive for yourselves every young girl who has not slept with a man. Naye abawala abato abatamanyanga musajja, mubeeterekere.
19 Stay outside the camp seven days. Anyone who killed someone or touched a corpse must purify themselves on the third day and the seventh—you and your captives. “Musiisire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli omu mu mmwe eyatta omuntu yenna, n’oyo eyakwatako ku gwe basse, mwetukuze awamu n’abanyage bammwe ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu.
20 Purify every garment, every leather article, everything made of goats' hair, and every wood article." Mutukuze buli kyambalo ne buli kintu ekyakolebwa mu maliba, oba mu bwoya bw’embuzi oba mu muti.”
21 Eleazar the priest told the soldiers who had gone to war, "This is the statute of the law our Father commanded Moses: Awo Eriyazaali kabona n’agamba abasajja abaatabaala nti, “Lino lye tteeka Mukama Katonda ly’alagidde Musa:
22 only the gold, the silver, the bronze, the iron, the tin, and the lead. Zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo, n’ekyuma, n’ebbaati, n’essasi
23 Everything that can withstand fire, pass through the fire—it becomes clean. But it must also be purified with water of purification. Whatever can't withstand fire, pass through the water. n’ekirala kyonna ekigumira omuliro mukiyise mu muliro kiryoke kibeere ekirongoofu. Naye era kisaana okulongoosebwa n’amazzi agalongoosa. Ebyo byonna ebitaasobole kuyita mu muliro biyisibwe mu mazzi ago.
24 Wash your clothes on the seventh day, and you'll be clean; then you may enter the camp." Ku lunaku olw’omusanvu mwozanga engoye zammwe, mulyoke mubeere abalongoofu. Ebyo nga biwedde mulyoke muyingire mu lusiisira.”
25 Our Father said to Moses, Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
26 "You, Eleazar the priest, and the family heads of the community, count the plunder taken, people and animals. “Ggwe ne Eriyazaali kabona, n’abakulembeze b’empya ez’omu kibiina mubale obungi bw’omunyago ogwaleetebwa omuli abantu n’ebisolo.
27 Divide the plunder into two: between the fighters who went to battle and the whole congregation. Omunyago gugabanyeemu mu bitundu bibiri: eky’abatabaazi abaalwana olutalo n’ekyabaasigala mu kibiina.
28 From the soldiers who went out to battle, take a tax for me: one in 500—people, cattle, donkeys, and flocks. Munaggya ku basajja abaatabaala ekitundu kimu ku buli bikumi bitaano, nga gwe musolo gwa Mukama Katonda, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi.
29 Take it from their half and give it to Eleazar the priest as a contribution to me. Omusolo ogwo mujja kuguggya ku kitundu ekya wakati ekinaagabanibwa abatabaazi mukiwe Eriyazaali kabona nga kye kitundu kya Mukama Katonda.
30 From the Israelites' half, take one in fifty—from the people, cattle, donkeys, flocks, and all the animals—and give them to the Levites who keep charge of my tabernacle." Ku munyago gw’abaana ba Isirayiri abasigaddewo munaggyako ekitundu kimu ku bitundu ataano, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi oba ensolo endala zonna. Ebyo mujja kubiwa Abaleevi, abalabirira Weema ya Mukama.”
31 Moses and Eleazar the priest did as our Father had commanded Moses. Bwe batyo Musa ne Eriyazaali bwe baakola, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
32 The plunder remaining from the spoil that the army had taken was 675,000 sheep, Omunyago ogwasigalawo abatabaazi gwe beetwalira gwali bwe guti: Endiga, emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano (675,000).
33 72,000 cattle, Ente, emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000).
34 61,000 donkeys, Endogoyi, emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000),
35 and 32,000 persons in all—the women who had not slept with a man. n’abakazi abatamanyangako basajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000).
36 The half belonging to those who had gone out to war numbered 337,500 sheep, Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago eky’abo abaatabaala kyali bwe kiti: Endiga, obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500);
37 and the tribute to our Father from the sheep was 675. ku ezo kwaliko ez’omusolo gwa Mukama Katonda lukaaga mu nsavu mu ttaano (675).
38 The cattle were 36,000, of which the tribute to our Father was 72. Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda nsanvu mu bbiri (72).
39 The donkeys were 30,500, of which the tribute to our Father was 61. Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda zaali nkaaga mu emu (61).
40 The persons were 16,000, of which the tribute to our Father was 32. Abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000); ng’ab’omusolo gwa Mukama Katonda baali amakumi asatu mu babiri (32).
41 Moses gave the tribute, our Father's contribution, to Eleazar the priest, as our Father commanded him. Omusolo gwa Mukama, Musa n’aguwa Eriyazaali kabona, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
42 As for the Israelites' half, which Moses had set apart from that of the men who fought, Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago ogwaweebwa abaana ba Isirayiri nga Musa amaze okuggyako ogw’abatabaazi abaalwana mu lutalo,
43 the congregation's half was 337,500 sheep, ekitundu ekyo kyali bwe kiti: Endiga, emitwalo asatu mu esatu mu bitaano (337,500);
44 36,000 cattle, Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000);
45 30,500 donkeys, Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500);
46 and 16,000 persons. n’abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000).
47 From the Israelites' half, Moses took one of every fifty—people and animals—and gave them to the Levites in charge of our Father's tabernacle, as our Father had commanded Moses. Ekitundu eky’omugabo eky’abaana ba Isirayiri, Musa n’aggyako ekitundu kimu ku buli bitundu ataano byombi eby’abantu n’eby’ebisolo, n’abiwa Abaleevi abaalabiriranga Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
48 The officers over the army's units, the commanders of thousands and hundreds, came to Moses, Awo abakulembeze b’ebibinja mu ggye abaaduumiranga ebikumi n’abaaduumiranga enkumi, ne bajja eri Musa,
49 and said to him, "Your servants counted the fighting men under our command; not one of us is missing. ne bamugamba nti, “Abaweereza bo tubaze abatabaazi bonna be tutwala, nga tewaliiwo n’omu abulawo.
50 So we've brought our Father an offering—each man's find: gold articles, armlets, bracelets, signet rings, earrings, beads—to atone for ourselves before our Father." Noolwekyo tuleetedde Mukama Katonda ekiweebwayo nga kya bintu ebya zaabu buli omu ku ffe bye yanyaga; mwe muli ebikomo eby’oku mikono, emikuufu egy’oku magulu, empeta z’oku ngalo n’empeta ez’omu matu n’obutiiti obw’omu bulago, twetangiririre mu maaso ga Mukama Katonda.”
51 Moses and Eleazar the priest received from them the gold, all the crafted articles. Musa ne Eriyazaali kabona, ne bakkiriza ebyaleetebwa omwali zaabu n’ebyomuwendo ebirala byonna.
52 All the gold of the contribution that they presented to our Father, from the commanders of thousands and the commanders of hundreds, came to about 420 pounds. Zaabu yenna abaduumizi b’enkumi, n’abaduumizi b’ebikumi gwe baleeta eri Musa ne Eriyazaali kabona, okuwaayo eri Mukama Katonda, yali apima obuzito bwa kilo kikumi mu kyenda.
53 The men of war had each taken plunder for himself. Buli mutabaazi yali yeenyagiddeyo ebintu ebibye ku bubwe.
54 Moses and Eleazar the priest took the gold from the commanders of thousands and hundreds and brought it into the tent of meeting as a reminder for the Israelites before our Father. Awo Musa ne Eriyazaali kabona ne baddira zaabu eyaleetebwa abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi, ne bamuleeta mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, okubeeranga ekijjukizo eri abaana ba Isirayiri mu maaso ga Mukama Katonda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]