Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 30 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Moses told Israel's tribal heads: This is what our Father commanded. Musa n’agamba abakulembeze b’ebika by’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama Katonda ky’alagidde:
2 When a man vows a vow to our Father, or swears an oath binding himself with a pledge, he must not break his word; he must do all his mouth has spoken. Omusajja bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, ekigambo kye ekyo taakimenyengawo, naye anaakolanga nga bw’anaabanga asuubizza.
3 If a woman vows a vow to our Father and binds herself by a pledge while young, living in her father's house, “Omukazi omuvubuka anaabeeranga akyasula mu maka ga kitaawe, bw’aneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bw’anaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, kale, obweyamo bwe bwonna n’ebyo by’anaabanga asuubizza binaasigalanga nga bwe biri.
4 when her father hears her vow and pledge binding her, and says nothing to her, all her vows and every pledge binding her stand. Naye kitaawe bw’anaakiteegerangako, n’amuziyiza, kale, tewaabengawo n’ekimu ku ebyo by’anaabanga asuubizza ebinaasigalanga nga bwe biri.
5 But if her father forbids her the day he hears, none of her vows or bonds she bound herself with will stand; our Father will forgive her, because her father forbade her. Naye kitaawe bw’anaamugaananga ku lunaku lw’anaakiwulira, tewaabengawo ku bweyamo bwe newaakubadde bye yalayira bye yasuubiza ebinaatuukirizibwanga, Mukama Katonda anaabimusonyiwanga, kubanga kitaawe abimuziyizza.
6 If she marries while under her vows, or under a rash promise she has made, “Bw’anaafumbirwanga ng’amaze okweyama ng’awaddeyo n’ebisuubizo nga tamaze kwerowooza,
7 and her husband hears of it and stays silent to her on the day he hears, her vows stand, and the bonds she bound herself with stand. bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’ayogera; kale, obweyamo bw’omukazi oyo n’ebisuubizo bye, bye yalagira okubituukiriza, binaasigalanga nga bwe biri.
8 But if her husband forbids her the day he hears, he cancels the vow binding her and the rash promise she made; and our Father will forgive her. Naye singa bba bw’amala okubiwulirako n’amuziyiza, olwo obweyamo bw’omukazi oyo n’ebyo byonna bye yasuubiza nga teyeerowozezza, biba bifudde, era Mukama Katonda anaasonyiwanga omukazi oyo.
9 But a widow's or divorced woman's vow—everything she bound herself to—stands against her. “Obweyamo n’ebisuubizo bwe binaakolebwanga nnamwandu oba omukazi eyayawukanira ddala ne bba mu bufumbo, binaasigalanga nga bwe biri.
10 If she vowed in her husband's house, or bound herself by a pledge under oath, “Omukazi ali mu bufumbo ng’abeera wamu ne bba mu maka gaabwe, bw’aneeyamanga oba n’asuubiriza ku kirayiro ng’alibaako by’atuukiriza,
11 and her husband heard it, said nothing to her, and did not forbid her—so all her vows stand, and every pledge by which she bound herself stands. bba n’abiwulirako, naye n’atabaako ky’agamba mukazi we, n’atamuziyiza; kale, obweyamo bw’omukazi oyo bwonna bunaasigalangawo, ne buli kimu kyonna kye yasuubiza ne yeerayirira, binaasigalangawo.
12 But if her husband nullifies them the day he hears, nothing she said—her vows or the pledge binding her—will stand: he has nullified them, and our Father will forgive her. Naye bba bw’anaabanga abiwuliddeko, kyokka n’abidibya n’abisazaamu, olwo tewaabengawo bweyamo oba ebisuubizo ebyava mu kamwa k’omukazi, ebinaasigalangawo, era Mukama Katonda anaabimusonyiwanga.
13 Any vow and any binding oath to humble herself, her husband may confirm or nullify it. Bba anaayinzanga okukakasa oba okudibya obweyamo bwonna mukazi we bw’anaabanga akoze n’ebisuubizo byonna by’anaabanga yeerayiridde ebirimu n’okwerumya n’okwefiiriza.
14 But if her husband stays silent to her from day to day, he confirms all her vows or obligations binding her; he confirms them, because he stayed silent to her on the day he heard them. Naye bba bw’ataabengako ne kyabyogerako nga ky’ajje abiwulire, olwo omukazi anaabanga akakasizza obweyamo bwe bwonna n’ebisuubizo bye yeerayirira. Bba anaabikakasanga bw’ataabengako ky’ategeeza mukazi we bw’anaabanga yaakamala okubiwulirako.
15 But if he nullifies them after he has heard them, then he will bear her guilt. Naye bwe wanaayitangawo ennaku ng’amaze okubiwulirako, oluvannyuma n’alyoka abidibya, y’anaavunaanyizibwanga ku bitatuukiridde mu bweyamo bw’omukazi oyo.”
16 These are the rules our Father commanded Moses, between a man and his wife, between a father and his young daughter still in his house. Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yalagira Musa aganaakwatanga ku musajja ne mukazi we, era ne kitaawe w’omuwala ne muwala we anaabanga akyali omuvubuka ng’akyasula mu nju ya kitaawe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]