Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 29 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "In the seventh month, on the first day, hold a holy assembly. Do no ordinary work; it is a day for you to sound the trumpets. “Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mulimu gwonna ogwa bulijjo ogw’okukakaalukana. Olwo lwe lunaabanga olunaku lwammwe kwe munaafuuyiranga amakondeere.
2 Offer a burnt offering, a pleasing aroma to our Father: one young bull, one ram, seven male lambs a year old, all without defect. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Munaateekateekanga ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
3 Their grain offering: fine flour mixed with oil—about six quarts for the bull, about four quarts for the ram, Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima lita mukaaga n’ekitundu; ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu,
4 and about two quarts for each of the seven lambs; ne ku buli emu ku baana b’endiga omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu.
5 and one male goat as a sin offering, to make atonement for you. Mugattangako n’embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, okwetangiririza.
6 Besides the new-moon burnt offering and its grain offering, the daily burnt offering and its grain offering, and their drink offerings, by their rule—a soothing aroma, a fire offering to our Father. Okwo kwe munaagattanga ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli mwezi, n’ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa, nga bwe kyalagirwa. Binaabanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biweereddwayo eri Mukama Katonda ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.
7 "On the tenth day of this seventh month, hold a sacred gathering and practice self-denial; do no work at all. “Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu. Muneerekerezanga ne mutalukolerako mulimu gwonna.
8 Present a burnt offering to our Father as a pleasing aroma: one young bull, one ram, and seven male lambs a year old, all without blemish. Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eya sseddume emu, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume ab’omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo ng’ebyo kye kiweebwayo ekyokebwa omuva akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
9 Their grain offering: fine flour mixed with oil—about six quarts for the bull, about four quarts for the one ram, Ku nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni nga bupima kilo ttaano, ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu,
10 and about two quarts for each of the seven lambs; ne ku buli emu ku baana b’endiga abalume omusanvu obupima kilo emu n’ekitundu.
11 also one male goat as a sin offering, besides the atonement sin offering, the regular burnt offering, its grain offering, and their drink offerings. Mugattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga kyongerwa ku kiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza, n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nga kuliko n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako.
12 "On the fifteenth day of the seventh month, hold a holy assembly. Do no ordinary work; celebrate a feast to our Father for seven days. “Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu era temulukolerangako mirimu egya bulijjo. Munaakolanga embaga eri Mukama Katonda okumala ennaku musanvu.
13 Present a burnt offering, a fire offering, a pleasing aroma to our Father: thirteen young bulls, two rams, fourteen male lambs a year old, all without defect. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokebbwa ku muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kya nte eza sseddume ento kkumi na ssatu, endiga ennume ento bbiri, abaana b’endiga abalume abaweza omwaka gumu ogw’obukulu kkumi na bana; nga byonna tebiriiko kamogo.
14 Their grain offering: fine flour mixed with oil—about six quarts for each of the thirteen bulls, about four quarts for each of the two rams, Era munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni, nga bupima kilo ttaano ku buli emu ku nte ekkumi n’essatu, nga bupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu ku buli emu ku ndiga ento ebbiri ennume;
15 and about two quarts for each of the fourteen lambs; ne ku baana b’endiga abalume ekkumi na bana, nga bupima kilo emu n’ekitundu ku buli emu.
16 and one male goat as a sin offering, besides the daily burnt offering, its grain offering, and its drink offering. Era munaawangayo n’embuzi emu ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, ng’okwo mugasseeko n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya bulijjo n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.
17 "On the second day: twelve young bulls, two rams, fourteen year-old male lambs, all without defect, “Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, n’endiga ennume ento bbiri n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogw’obukulu, nga byonna tebiriiko kamogo.
18 with their grain and drink offerings for the bulls, the rams, and the lambs, by number, as required; Ku nte eza sseddume, n’endiga ento ennume, n’abaana b’endiga abalume, munaateekateekanga ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako eby’ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
19 also one male goat as a sin offering, besides the regular burnt offering, its grain offering, and their drink offerings. Munaagattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’emmere yaako ey’empeke, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa.
20 "On the third day: eleven bulls, two rams, fourteen year-old male lambs, all without defect, “Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi n’emu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo.
21 with their grain and drink offerings for the bulls, rams, and lambs, by number, as required. Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo eby’emmere yaako ey’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ebigenderako, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
22 One male goat as a sin offering, besides the regular burnt offering with its grain and drink offerings. Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.
23 "Fourth day: ten bulls, two rams, fourteen year-old male lambs, all without defect, “Ku lunaku olwokuna munaategekanga ente eza sseddume kkumi, n’endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
24 with grain and drink offerings for the bulls, rams, and lambs, by their number, as required; Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga, munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
25 plus one male goat as a sin offering, besides the daily burnt offering with its grain and drink offerings. Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.
26 "On the fifth day: nine bulls, two rams, fourteen year-old male lambs, all without defect, “Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo.
27 with grain and drink offerings for the bulls, rams, and lambs, by number, as required. Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
28 Also one male goat as a sin offering, besides the continual burnt offering, its grain offering, and its drink offering. Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.
29 "Sixth day: eight bulls, two rams, fourteen year-old male lambs, all without defect, “Ku lunaku olw’omukaaga munaateekateekanga ente eza sseddume munaana, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
30 with their grain offering and drink offerings for the bulls, rams, and lambs, by number, as required; Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
31 and one male goat as a sin offering, besides the regular burnt offering, its grain offering, and its drink offerings. Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke, n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.
32 "On the seventh day: seven bulls, two rams, fourteen year-old male lambs, all without defect, “Ku lunaku olw’omusanvu munaateekateekanga ente za sseddume musanvu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
33 with their grain and drink offerings for the bulls, rams, and lambs, by number, as prescribed; Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
34 and one male goat as a sin offering, besides the daily burnt offering, its grain offering and its drink offering. Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.
35 "On the eighth day, hold a closing assembly; do no laborious work. “Ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egy’okukakaalukana.
36 Present a burnt offering, a fire offering, a pleasing aroma to our Father: one bull, one ram, seven male lambs a year old, all without defect, Munaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye eky’ente eya sseddume emu, n’endiga ennume ento emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
37 with their grain and drink offerings for the bull, ram, and lambs, by number, as prescribed. Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri.
38 One male goat for a sin offering, besides the continual burnt offering, its grain offering and its drink offering. Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.
39 "Offer these to our Father at your appointed feasts, besides your vow and voluntary offerings—whether burnt, grain, drink, or peace offerings." “Ebiweebwayo ebyo munaabiwangayo eri Mukama Katonda ku mbaga entongole ezaategekebwa era ezaalagirwa; nga mubyongera ku biweebwayo bye mweyama, n’ebya kyeyagalire, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa n’ebiweebwayo olw’emirembe.”
40 Moses told the Israelites everything, just as our Father had commanded Moses. Awo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri buli kimu kyonna nga Mukama Katonda bwe yamulagira Musa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]