Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 28 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father said to Moses, Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "Command the Israelites, say to them: Be sure to present my offering, my food for my food offerings, a pleasing aroma to me, at its set time. “Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Mutegekenga ekiweebwayo kyange mu biseera bye nnyini, ye mmere ey’ebiweebwayo byange ebyokye, nga bivaamu akawoowo akalungi akansanyusa.’
3 Say to them: This is the food offering you are to present to me: two flawless year-old lambs daily, a regular burnt offering. Bagambe nti, ‘Ekiweebwayo ekyokye ky’ojjanga okuwaayo eri Mukama, kinaabanga bwe kiti: endiga ennume bbiri ezitaliiko kamogo nga buli emu ya mwaka gumu ogw’obukulu: zaakuweebwangayo nga njokye buli lunaku.
4 Offer one lamb in the morning, the second lamb at twilight, Endiga emu munaagiwangayo mu makya, n’endiga eyookubiri munaagiwangayo akawungeezi;
5 with about two quarts of fine flour for a grain offering, mixed with about one quart of pressed oil. nga muteekeddeko ne kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni.
6 A regular burnt offering, ordained at Mount Sinai for a pleasing aroma, a food offering to me. Ekyo ky’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera nga bwe kyalagirwa ku lusozi Sinaayi, nga ke kawoowo akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokye eri Mukama.
7 Its drink offering is a quart for each lamb; pour it out to me in the holy place as strong drink. Ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga kya lita ng’emu ku buli ndiga. Ekiweebwayo ekyokunywa eri Mukama Katonda munaakifukiranga mu watukuvu.
8 Offer the second lamb at twilight, with a grain offering and drink offering like the morning's, a food offering, a pleasing aroma to me. Endiga eyookubiri mugiteekateekanga kawungeezi, mu ngeri y’emu n’eyo ey’omu makya. Ekyo kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda.’
9 "On the Sabbath, offer two flawless year-old lambs, about four quarts of fine flour mixed with oil as grain offering, plus its drink offering. “Ku lunaku lwa Ssabbiiti munaaleetanga ekiweebwayo eky’endiga ennume ez’omwaka ogumu ogw’obukulu, ezitaliiko kamogo, wamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, n’ekiweebwayo eky’obuwunga obulungi ekiweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni.
10 The burnt offering for each Sabbath, besides the regular burnt offering and its drink offering. Kino kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli Ssabbiiti, nga kyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.
11 "On the first of each of your months, offer me a burnt offering: two young bulls, one ram, seven male lambs a year old, without defect, “Ku buli lunaku olw’olubereberye olwa buli mwezi onooleetanga eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ennume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu; byonna nga tebiriiko kamogo.
12 about six quarts of fine flour mixed with oil as a grain offering for each bull, about four quarts of fine flour mixed with oil as a grain offering for the one ram, Ku buli nte nnume ento munaaleeterangako kilo ttaano ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke epima kilo ssatu n’obutundutundu bubiri n’ekitundu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni;
13 and two quarts of fine flour mixed with oil as a grain offering for each lamb - a burnt offering, a pleasing aroma, a food offering to me. ku buli mwana gw’endiga ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obupima kilo emu n’ekitundu obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. Ebyo byonna bye by’ekiweebwayo ekyokebwa, ekivaamu akawoowo akalungi ak’ekiweebwayo ekiri ku muliro, ekiweereddwayo eri Mukama Katonda.
14 Their drink offerings: two quarts of wine for the bull, just over a quart for the ram, and a quart for the lamb. This is the burnt offering for the new moon, month by month, all year. Ku buli nte ennume ento kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu munaana eza wayini; ku ndiga ennume ento ekya wayini apima lita emu n’obutundu bubiri, ne ku buli mwana gw’endiga ennume ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu bubiri eza wayini. Ekyo kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi nga gwakaboneka mu mwaka.
15 Offer me one male goat as a sin offering, besides the regular burnt offering and its drink offering. Ng’oggyeko ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, munaaleetanga embuzi ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi eri Mukama Katonda.
16 "In the first month, on the fourteenth day of the month, is the Passover to me. “Olunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogw’olubereberye kwe kunaabanga Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda.
17 On this month's fifteenth day is a feast; bread without yeast is eaten seven days. Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo kwe kunaabeeranga embaga; munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu.
18 On the first day there is to be a holy assembly; you must do no ordinary work. Ku lunaku olw’olubereberye munaabeeranga n’okukuŋŋaana okutukuvu; era temulukolerangako mirimu gyonna egy’okukakaalukana.
19 Present me a food offering, a burnt offering: two young bulls, one ram, seven yearling male lambs; see that they are without defect. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente eza sseddume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo.
20 Their grain offering: fine flour mixed with oil—about six quarts for the bull, four quarts for the ram, Ku buli nte ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ng’eweza kilo ssatu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ennume ento munaaleeterangako kilo bbiri;
21 and with each of the seven lambs, about two quarts; ne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, kilo emu.
22 and one male goat as a sin offering to make atonement for you. Munaaleeterangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza.
23 Offer these in addition to the morning burnt offering, which is the regular burnt offering. Ebyo byonna munaabiteekateekanga nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo ekya buli makya.
24 Do this daily for seven days—food, a pleasing aroma to me—besides the regular burnt offering and its drink offering. Munaategekanga mu ngeri eyo, buli lunaku, emmere ey’ekiweebwayo ekyokebwa, okumala ennaku musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda; ekyo kinaateekebwateekebwanga okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.
25 On the seventh day you are to hold a holy assembly; you must do no ordinary work. Ku lunaku olw’omusanvu munaakubangawo olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana.
26 "On the day of firstfruits, when you bring me a new grain offering at your Feast of Weeks, hold a holy assembly; do no ordinary work. “Ku lunaku olw’ebibala ebibereberye, kwe munaaleeteranga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga, eri Mukama Katonda, ku Mbaga ya Wiiki, munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu; era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana.
27 Present a burnt offering, a pleasing aroma to me: two young bulls, one ram, seven year-old male lambs. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
28 With them comes a grain offering of fine flour mixed with oil: about six quarts for each bull, about four quarts for the one ram, Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima kilo ttaano; ne ku ndiga ennume ento, obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu;
29 and about two quarts for each of the seven lambs; ne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu.
30 with one male goat to make atonement for you. Munaagattangako n’embuzi ennume emu ento olw’okwetangiririza.
31 Offer these besides the regular burnt offering and its grain offering; see that they're flawless, with their drink offerings." Ebyo byonna munaabiwangayo awamu n’ekiweebwayo kyabyo ekyokunywa; okwo kwe munaagattanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke. Mwegenderezenga okulaba ng’ensolo ezo zonna teziriiko kamogo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]