Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then the Holy Spirit led Jesus into the wilderness to be tempted by the devil. Awo Yesu n’atwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani.
2 And after fasting forty days and forty nights, he was hungry. N’amala ennaku amakumi ana ng’asiiba, nga talya, emisana n’ekiro, oluvannyuma enjala n’emuluma.
3 The tempter came and said, "If you're the Son of God, tell these stones to become bread." Setaani n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere.”
4 But he answered, "It is written, 'People do not live by bread alone, but by every word from our Father's mouth.'" Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”
5 Then the devil took him into the holy city, stood him on the temple's highest point, Awo Setaani n’amutwala mu kibuga ekitukuvu n’amussa ku kitikkiro kya Yeekaalu.
6 and told him, "If you're God's Son, throw yourself down, since Scripture says, 'He will command his angels about you, and they will carry you on their hands, so you won't strike your foot on a stone.'" N’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ ”
7 Jesus said to him, "Again it is written, 'You must not put your Father to the test.'" Yesu n’addamu Setaani nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
8 Again the devil took him to a very high mountain and showed him all the world's kingdoms and their glory. Ate Setaani n’amutwala ku lusozi oluwanvu n’amulengeza ensi zonna n’obwakabaka bwamu n’ekitiibwa kyabwo kyonna,
9 He said to him, "All these I will give you, if you bow down and worship me." n’amugamba nti, “Bino byonna nnaabikuwa bw’onoovuunama n’onsinza.”
10 Then Jesus told him, "Get away, Satan! For Scripture says, 'Worship your Father, and serve only him.'" Yesu n’addamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gw’oweerezanga.’ ”
11 Then the devil left him, and suddenly angels came and took care of him. Setaani n’amuviira n’agenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.
12 Now when he heard that John had been arrested, he withdrew into Galilee. Yesu bwe yawulira nga Yokaana bamusibye mu kkomera n’agenda e Ggaliraaya.
13 He left Nazareth and settled in Capernaum, by the sea, in the territory of Zebulun and Naphtali, Bwe yava e Nazaaleesi n’agenda abeera e Kaperunawumu ekiri ku lubalama lw’ennyanja mu byalo by’e Zebbulooni n’e Nafutaali.
14 so that what was spoken by the prophet Isaiah might be fulfilled: Kino ne kituukiriza ekyayogerwa nnabbi Isaaya ng’agamba nti,
15 "The land of Zebulun and the land of Naphtali, the way of the sea, beyond the Jordan, Galilee of the Gentiles, “Ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, okuliraana ennyanja, n’ebyalo ebiri emitala w’omugga Yoludaani, n’e Ggaliraaya ey’ekyengulu omuli bannaggwanga abangi,
16 the people dwelling in darkness have seen a great light, and for those dwelling in the region and shadow of death, on them a light has dawned." abantu abaatuulanga mu kizikiza, balabye Omusana mungi. Abaatuulanga mu nsi ey’ekisiikirize eky’okufa, omusana gubaakidde.”
17 From that time Jesus began to preach, saying, "Repent, for the kingdom of our Father is near." Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.”
18 Walking by the Sea of Galilee, he saw two brothers, Simon called Peter and his brother Andrew, casting a net into the sea—they were fishermen. Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi.
19 And he said to them, "Follow me, and I will make you fishers of people." Awo Yesu, n’abagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu.”
20 Immediately they left their nets and followed him. Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.
21 Going on from there, he saw two more brothers—James son of Zebedee and John his brother—in the boat with their father Zebedee, mending nets, and called them. Bwe yeeyongerayo katono, n’asanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo n’abayita bamugoberere.
22 Immediately they left the boat and their father and followed him. Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.
23 He went all through Galilee, teaching in their synagogues, announcing the good news of the kingdom, and healing every disease and sickness among the people. Yesu n’abuna wonna mu Ggaliraaya ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka obw’omu ggulu, era ng’awonya buli ndwadde yonna n’obuyongobevu bwonna mu bantu.
24 News of him spread through all Syria. They brought him all who were sick—gripped by various diseases and pains, oppressed by demons, epileptic, paralyzed—and he healed them. Amawulire ag’ebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, n’abalina ebibabonyaabonya, n’ab’ensimbu n’abo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye n’ab’endwadde endala ezitali zimu, bonna n’abawonya.
25 Large crowds followed him from Galilee, the Decapolis, Jerusalem, Judea, and beyond the Jordan. Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli, ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, n’emitala w’omugga Yoludaani.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]