Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Seeing the crowds, Jesus went up the mountain; when he sat down, his disciples came to him. Awo Yesu bwe yalaba ng’ebibiina byeyongera obungi, n’alinnya ku lusozi, abayigirizwa be ne bajja gy’ali,
2 And he opened his mouth and began to teach them, saying: n’abayigiriza ng’agamba nti:
3 "Blessed are the poor in spirit, for theirs is the kingdom of our Father. “Balina omukisa abaavu mu mwoyo, kubanga abo Obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.
4 Blessed are those who mourn, for they will be comforted. Balina omukisa abali mu nnaku, kubanga abo balisanyusibwa.
5 Blessed are the meek, for they will inherit the earth. Balina omukisa abeetoowaze, kubanga abo balisikira ensi.
6 Blessed are those who hunger and thirst for righteousness, for they will be satisfied. Balina omukisa abalumwa enjala olw’obutuukirivu kubanga abo balikkusibwa.
7 Blessed are the merciful, for they will receive mercy. Balina omukisa ab’ekisa, kubanga abo balikwatirwa ekisa.
8 Blessed are the pure in heart, for they will see our Father. Balina omukisa abalina omutima omulongoofu, kubanga abo baliraba Katonda.
9 Blessed are the peacemakers, for they will be called children of our Father. Balina omukisa abatabaganya, kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.
10 Blessed are those who are persecuted for righteousness' sake, for theirs is the kingdom of our Father. Balina omukisa abayigganyizibwa olw’obutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.”
11 "Blessed are you when people insult, persecute, and lie about every kind of evil against you because of me. “Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze.
12 Rejoice and be glad, for your reward is great in heaven, for they persecuted the prophets before you the same way. Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi ab’edda bwe baayigganyizibwa bwe batyo.”
13 "You are the salt of the earth. But if salt loses its taste, how can it be salted again? It's no longer good for anything but being thrown out and trampled by people. “Mmwe muli munnyo gwa nsi. Naye kale bwe guggwaamu obuka, guliba munnyo nate? Olwo gukasukibwa ebweru ne gulinnyirirwa n’ebigere, nga tegukyalina mugaso gwonna.
14 "You are the light of the world. A city set on a hill cannot be hidden. “Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga tekikwekebwa ku lusozi.
15 No one lights a lamp and puts it under a basket, but sets it on a stand to light everyone in the house. Era omuntu takoleeza ttabaaza ate n’agisaanikirako ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo n’emulisiza bonna abali mu nju.
16 Likewise, let your light shine before people, so they see your good works and glorify your Father in heaven. Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.
17 "Don't think I came to abolish the Law or the Prophets—I didn't come to abolish them, but to fulfill them. “Temulowooza nti Najja okuggyawo amateeka ga Musa oba ebya bannabbi. Sajja okubiggyawo wabula okubituukiriza.
18 For truly I tell you: until heaven and earth pass, not one letter, not one stroke, will pass from the Law until everything is done. Ddala ddala mbagamba nti Eggulu n’ensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira.
19 So whoever breaks one of these least commands and teaches others the same will be called least in the kingdom of our Father; but whoever keeps and teaches them will be called great in the kingdom of our Father. Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, n’ayigiriza n’abalala okukola bwe batyo, y’alisembayo mu bwakabaka obw’omu ggulu.
20 For I tell you, unless you are more righteous than the scribes and Pharisees, you'll never enter the kingdom of our Father. Naye mbalabula nti Okuggyako ng’obutuukirivu bwammwe businga obw’Abafalisaayo n’obw’abawandiisi, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.”
21 "You've heard that it was said to those of old, 'Do not murder; whoever murders is subject to judgment.' “Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga, na buli anattanga, anaawozesebwa.’
22 But I tell you: whoever is angry with his brother risks judgment. Whoever insults his brother risks the council, and whoever says, 'You fool!' risks fiery hell. Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lw’abakulembeze b’Abayudaaya n’awozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena.
23 "So if you're offering your gift at the altar and recall there that your brother has something against you, “Bw’obanga oli mu maaso ga Katonda, ng’omuleetedde ekirabo eky’okuwaayo nga ssaddaaka, n’ojjukira nga waliwo gw’olinako ensonga,
24 leave your gift there before the altar, go make peace with your brother first, then come offer your gift. ekirabo kyo sooka okireke awo oddeyo omale okumwetondera mutegeeragane, olyoke okomewo oweeyo ekirabo kyo eri Katonda.
25 Make peace with your accuser quickly, while still on the way with him, or he may hand you over to the judge, the judge to the officer, and you may be thrown into prison. “Tegeeragananga mangu n’oyo akuwawaabira nga mukyali mu kkubo aleme kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi okukuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale okukuteeka mu kkomera.
26 Truly I tell you, you will never get out until you have paid the last penny. Nkutegeeza nti Olibeera omwo okutuusa lw’olimalayo byonna by’obanjibwa.”
27 "You have heard that it was said, 'You shall not commit adultery.' “Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Toyendanga!’
28 But I tell you: everyone who looks at a woman lustfully has already committed adultery with her in his heart. Naye mbagamba nti Buli muntu atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.
29 If your right eye makes you stumble, tear it out and throw it away—better to lose one part of your body than have your whole body thrown into hell. Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ng’ebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena.
30 If your right hand makes you sin, cut it off and throw it away. Better to lose one part of you than have your whole body go into hell. Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ng’ekitundu ky’omubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena n’ebitundu by’omubiri gwo byonna.
31 "It was also said, 'Whoever divorces his wife must give her a certificate of divorce.' Kyagambibwa nti, ‘Buli anaagobanga mukazi we, anaawanga omukazi oyo ebbaluwa ey’okumugoba.’
32 I tell you: whoever divorces his wife, except for sexual sin, makes her a victim of adultery; and whoever marries a divorced woman commits adultery. Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olw’obwenzi anaabanga amwenzesezza, n’oyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze.”
33 "Again, you've heard it was said to the ancients: 'Don't break your oath—fulfill it to our Father.' “Mwawulira bwe kyagambibwa ab’edda nti, ‘Buli kye weeyamanga eri Mukama okituukirizanga.’
34 But I tell you, do not swear an oath at all: neither by heaven, for it is our Father's throne, Naye mbagamba nti: Temulayiranga n’akatono! Temulayiranga ggulu, kubanga ye ntebe y’obwakabaka bwa Katonda.
35 nor by the earth, for it's the footstool for his feet, nor by Jerusalem, for it's the city of the great King. Temulayiranga nsi, kubanga y’entebe y’ebigere bye. Temulayiranga Yerusaalemi, kubanga ky’ekibuga kya Kabaka omukulu.
36 And do not swear by your head, for you cannot make a single hair white or black. Era tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza na kufuula luviiri lwo olumu okuba olweru oba oluddugavu.
37 Let your 'Yes' be 'Yes,' and your 'No,' 'No'; anything beyond this comes from the evil one. Naye muddangamu buzzi nti, ‘Weewaawo.’ Oba nti, ‘Si weewaawo’. Kubanga bw’ogezaako okukakasa ebigambo byo n’okulayira kiraga nti waliwo ekitali kituufu.”
38 "You have heard that it was said, 'Eye for eye and tooth for tooth.' “Mwawulira nga kyagambibwa nti, ‘Omuntu bw’anaggyangamu eriiso lya munne n’erirye linaggibwangamu. Oba omuntu bw’anaaggyangamu erinnyo lya munne, n’erirye banaalikuulangamu.’
39 But I tell you: don't resist an evil person. If someone slaps your right cheek, turn the other cheek to him too. Naye mbagamba nti, Temuwakananga na mubi, naye omuntu bw’akukubanga oluyi ku ttama erya ddyo omukyusizanga n’ettama eryokubiri.
40 If anyone wants to sue you and take your tunic, let him have your cloak too. Omuntu bw’ayagalanga okuwoza naawe atwale essaati yo, omulekeranga n’ekkooti yo.
41 And if anyone forces you to go one mile, go with him two. N’oyo akuwalirizanga okumwetikkirako omugugu gwe kilomita emu, omutwalirangako n’eyokubiri.
42 Give to whoever asks you, and don't turn away whoever wants to borrow from you. Akusaba omuwanga, n’oyo ayagala okukwewolako tomukubanga mabega.”
43 "You have heard that it was said, 'You will love your neighbor and hate your enemy.' “Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo, naye okyawenga mulabe wo.’
44 But I tell you, love your enemies and pray for those who persecute you, Naye nze mbagamba nti, Mwagalenga abalabe bammwe! Musabirenga ababayigganya!
45 so you may become children of your Father in heaven, because he makes his sun rise on evil and good and sends rain on just and unjust. Bwe mulikola bwe mutyo muliba baana ba Kitammwe ali mu ggulu. Kubanga omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi, era n’enkuba agitonnyeza ab’amazima n’abatali ba mazima.
46 If you love those who love you, what reward is that? Don't even tax collectors do the same? Bwe mwagala ababaagala bokka, mufunamu ki? N’abawooza bwe bakola bwe batyo.
47 If you greet only your brothers, what more do you do than others? Don't even the Gentiles do that? Era bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaaba mulina njawulo ki n’abalala? Kubanga ne bannamawanga bwe bakola bwe batyo.
48 Be perfect, therefore, as your heavenly Father is perfect." Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bw’ali Omutuukirivu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]