Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "Take care not to practice your righteousness before others to be seen by them, or you have no reward from your Father in heaven. “Mwegendereze, ebikolwa byammwe eby’obutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lw’abantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.”
2 So when you give to the needy, don't announce it with a trumpet, like the hypocrites do in synagogues and streets, to be praised by people. I assure you: they've already received their full reward. “Bw’obanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo y’empeera yaabwe.
3 But when you give to the needy, don't let your left hand know what your right hand does, Naye ggwe bw’obanga ogabira omuntu yenna ekintu omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya ogwa ddyo kye gukola.
4 so that your gift stays secret. Your Father, who sees in secret, will repay you. Kale Kitaawo amanyi ebyama byonna alikuwa empeera.”
5 "When you pray, don't be like hypocrites who love praying standing in synagogues and on street corners to be seen by others. Truly, I tell you: they've already received their full reward. “Era bwe mubanga musaba mwekuume obutaba nga bannanfuusi abaagala okweraga nga bwe bali bannaddiini, ne basabira mu makuŋŋaaniro ne ku nguudo mu lujjudde, abantu babalabe. Abo, eyo y’empeera yokka gye balifuna.
6 But when you pray, go into your room, shut the door, and pray to your Father in secret. Your Father who sees in secret will reward you. Naye ggwe bw’obanga osaba, oyingiranga mu nnyumba yo, ne weggalira mu kisenge kyo n’osabira eyo mu kyama. Kitaawo ategeera ebyama byo byonna alikuwa by’omusabye.
7 When you pray, don't babble like those who don't know the Father, because they think many words will get them heard. Era bwe musabanga temuddiŋŋananga mu bigambo oba okwogera ebigambo enkumu ng’abatamanyi Katonda bwe bakola nga balowooza nti Bwe banaddiŋŋana mu bigambo emirundi n’emirundi okusaba kwabwe lwe kunaddibwamu.
8 Do not be like them, for your Father knows what you need before you ask him. Kale temubafaanananga, kubanga Kitammwe amanyidde ddala byonna bye mwetaaga ne bwe muba nga temunnamusaba.”
9 This, then, is how you should pray: 'Our Father in heaven, may your name be honored as holy, Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti, Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya Lyo litukuzibwe.
10 your kingdom come, your will be done, on earth as it is in heaven. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.
11 Give us today our daily bread. Otuwenga emmere yaffe eya buli lunaku.
12 And forgive us our debts, as we also have forgiven our debtors. Tusonyiwe ebyonoono byaffe nga naffe bwe tusonyiwa abatwonoona.
13 And lead us not into temptation, but deliver us from the evil one.' Totuganya kukemebwa naye tulokole eri omubi.
14 "For if you forgive others their sins, your heavenly Father will also forgive you. “Kubanga bwe munaasonyiwanga ababasobezza, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga.
15 But if you do not forgive others their sins, neither will your Father forgive your sins. Naye bwe mutaasonyiwenga bannammwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu taabasonyiwenga.”
16 "When you fast, don't look gloomy like the hypocrites—they disfigure their faces to show others they're fasting. Truly, I tell you, they have their full reward. “Bwe musiibanga, temukiraganga nga bannanfuusi bwe bakola. Kubanga batunuza ennaku balyoke balabike mu bantu nti basiiba, mbategeeza ng’abo, eyo y’empeera yokka gye bagenda okufuna.
17 But when you fast, put oil on your head and wash your face, Naye ggwe bw’osiibanga olongoosanga enviiri zo n’onaaba ne mu maaso,
18 so you don't appear to others as fasting, but only to your Father, who is hidden. Then your Father, who sees what's hidden, will reward you. abantu baleme kutegeera nti osiiba, okuggyako Kitaawo ali mu ggulu era alaba mu kyama alikuwa empeera.”
19 "Do not store up treasures for yourselves on earth, where moth and rust destroy, and thieves break in and steal. “Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe bayinza okubibbira.
20 But store up treasures in heaven for yourselves, where neither moth nor rust destroys, and thieves can't break in and steal. Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba.
21 For where your treasure is, there your heart will be also. Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga.”
22 "The eye is the body's lamp. If your eye is clear, your whole body will be full of light. “Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo, noolwekyo eriiso bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekitangaala ng’eky’omusana.
23 But if your eye is bad, your whole body will be dark. If then the light in you is darkness, how great that darkness is! Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabeeranga n’ekizikiza, noolwekyo ekizikiza ekyo kiba kikwafu nnyo!”
24 "No one can serve two masters: he'll hate one and love the other, or hold to one and despise the other. You can't serve our Father and money. “Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona. ”
25 "So I tell you: don't worry about your life—what you'll eat or drink—or body—what you'll wear. Isn't life more than food, body more than clothes? “Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo.
26 Look at the birds in the sky: they don't plant, harvest, or store in barns, yet your heavenly Father feeds them. Aren't you worth more than they? Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo?
27 Can any of you by worrying add a single hour to your life? Ani ku mmwe, bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu?”
28 And why worry about clothing? Consider the lilies of the field, how they grow: they don't work or spin. “Naye lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mulabire ku malanga ag’oku ttale! Tegaliiko kye geekolera,
29 Yet I tell you: not even Solomon, in all his glory, was dressed like one of these. naye ne Kabaka Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala.
30 If our Father clothes the field's grass like this—here today, thrown into the fire tomorrow—won't he much more clothe you, you of little faith? Naye obanga Katonda ayambaza obulungi bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko ogw’ekiseera obuseera, ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, talisingawo nnyo okubambaza? Nga mulina okukkiriza okutono!
31 "So don't worry, asking, 'What will we eat?' or 'What will we drink?' or 'What will we wear?' Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’
32 For those who don't know the Father chase all these things, but your heavenly Father knows you need them. Ebyo byonna bannamawanga bye bayaayaanira. Naye Kitammwe ali mu ggulu amanyi ng’ebyo byonna mubyetaaga.
33 But seek first our Father's kingdom and his righteousness, and all these will be added to you. Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako.
34 So don't worry about tomorrow—it will worry about itself. Each day has enough trouble of its own." Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olw’enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]