Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "Do not judge, so that you may not be judged. “Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango.
2 For you'll be judged by the judgment you use, and measured by the measure you give. Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”
3 Why look at the speck in your brother's eye but miss the log in your own? “Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba?
4 Or how can you tell your brother, 'Let me remove the speck from your eye,' when a log is in yours? Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki?
5 Hypocrite, first remove the log from your own eye; then you'll see clearly to remove the speck from your brother's eye. Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bw’oggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”
6 "Don't give dogs what is holy, or throw your pearls before pigs—they'll trample them underfoot, then turn and tear you apart. “Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. N’embizzi temuzisuuliranga mayinja ag’omuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, n’oluvannyuma zikyuke zibalume.”
7 "Ask, and you'll receive it; seek, and you'll find; knock, and it'll open for you. “Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo.
8 For everyone who asks receives, whoever seeks finds, and whoever knocks, it will be opened. Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo.”
9 Or what person among you, if his son asks him for bread, will give him a stone? “Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja?
10 Or if he asks for a fish, will give him a snake? Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota?
11 So if you, being evil, know how to give your children good gifts, how much more will your Father in heaven give good things to those who ask him? Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?
12 "So in everything, treat people the way you want them to treat you; for this is the Law and the Prophets. Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”
13 "Enter through the narrow gate, for the gate is wide, the road broad, leading to destruction, and many enter through it. “Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene n’omulyango mugazi, n’abalonda ekkubo eryo bangi.
14 But the gate is narrow, the road narrow, that leads to life; few find it. Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”
15 "Beware false prophets: they come to you in sheep's clothing but are ravenous wolves inside. “Mwekuume abayigiriza ab’obulimba, abajja nga bambadde amaliba g’endiga, songa munda gy’emisege egigenda okubataagulataagula.
16 By their fruit you will recognize them. Are grapes gathered from thornbushes, or figs from thistles? Mulibalabira ku bikolwa byabwe, ng’omuti bwe mugutegeerera ku bibala byagwo. Omuntu tayinza kunoga mizabbibu ku busaana oba okunoga ettiini ku mweramannyo.
17 In the same way, every good tree bears good fruit, but the bad tree bears bad fruit. Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi.
18 A good tree cannot bear bad fruit, nor can a bad tree bear good fruit. Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n’omuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi.
19 Every tree that does not bear good fruit is cut down and thrown into the fire. Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro.
20 So then, by their fruit you will recognize them. Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”
21 "Not everyone who says to me, 'Lord, Lord,' will enter the kingdom of our Father, but the one who does the will of my Father in heaven. “Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala.
22 Many will say to me on that day, 'Lord, Lord, didn't we prophesy in your name, drive out demons in your name, do many miracles in your name?' Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’
23 Then I will tell them plainly: 'I never knew you; get away from me, you lawbreakers.' Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”
24 "So anyone who hears these words of mine and does them will be like a wise man whose house was built on the rock. “Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi.
25 Rain fell, floods came, winds blew and beat against that house, but it didn't fall, because it was founded on rock. Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi.
26 And everyone who hears these words of mine and doesn't do them is like a foolish man who built his house on sand. Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu.
27 The rain fell, floods came, winds blew and hit that house, and it fell—and its fall was great." Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”
28 When Jesus had finished saying these words, the crowds were astonished at his teaching, Awo Yesu n’amaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olw’okuyigiriza kwe.
29 because he was teaching them as one who had authority, and not as their scribes. Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka baabwe bwe baayigirizanga.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]