Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When he came down from the mountain, great crowds followed him. Awo Yesu bwe yava ku lusozi ekibiina kinene ne kimugoberera.
2 A man with leprosy approached, knelt before him, saying, "Lord, if you're willing, you can make me clean." Omusajja omugenge n’ajja gy’ali n’amuvuunamira ng’agamba nti, “Mukama wange, bw’obanga oyagala oyinza okunnongoosa.”
3 Jesus reached out his hand and touched him: "I am willing; be clean." His leprosy vanished at once. Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako n’amugamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago omusajja n’awona ebigenge.
4 Jesus told him, "Tell no one, but go show yourself to the priest and offer the gift Moses commanded, as testimony to them." Yesu n’amugamba nti, “Laba, tobaako muntu n’omu gw’obuulira, wabula genda weerage eri kabona otwaleyo n’ekirabo nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”
5 When he entered Capernaum, a centurion came to him, appealing to him, Awo Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omuserikale Omuruumi, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, n’ajja n’amwegayirira,
6 and saying, "Lord, my servant is lying at home paralyzed, suffering terribly." ng’agamba nti, “Mukama omulenzi wange mulwadde nnyo, amaze ebbanga ddene ng’akoozimbye ali ku kitanda era abonaabona nnyo.”
7 He said to him, "I will come and heal him." Yesu n’amuddamu nti, “Nnajja ne mmuwonya.”
8 The centurion replied, "Lord, I'm not worthy for you to come under my roof; just say the word, and my servant will be healed. Omukulu w’ekitongole n’agamba Yesu nti, “Mukama, sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange, yogera bwogezi ekigambo, omulenzi wange anaawona!
9 For I too am a man under authority, with soldiers under me. I tell one, 'Go,' and he goes; another, 'Come,' and he comes; my servant, 'Do this,' and he does it." Kubanga nange waliwo abakulu abantwala, ate nga nange nnina be nfuga. Bwe ndagira omu nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ era ajja, n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
10 Hearing this, Jesus was amazed and told his followers, "Truly, I tell you, I have found no one in Israel with such faith. Yesu bwe yawulira ekyo ne yeewunya nnyo, n’agamba abaali bamugoberera nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Sinnalabayo muntu alina kukkiriza nga kuno wadde mu lsirayiri!
11 I tell you, many will come from east and west and sit at the table with Abraham, Isaac, and Jacob in our Father's kingdom, Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obw’omu ggulu.
12 but the kingdom's sons will be thrown into the outer darkness, where there will be weeping and grinding of teeth." Naye abaana b’obwakabaka, baligoberwa ebweru mu kizikiza ekikutte, eriba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji.”
13 Jesus told the centurion, "Go, let it be done for you as you believed." His servant was healed that hour. Awo Yesu n’agamba omukulu w’ekitongole Omuruumi nti, “Ggenda. Nga bw’okkirizza kikukolerwe.” Omulenzi we n’awonerawo mu kiseera ekyo.
14 When Jesus entered Peter's house, he saw Peter's mother-in-law lying in bed with a fever. Awo Yesu bwe yayingira mu maka ga Peetero yasanga nnyina wa muka Peetero alwadde omusujja mungi, ng’agalamidde ku kitanda.
15 He touched her hand; the fever left her, and she rose and served him. Yesu n’amukwata ku mukono omusujja ne gumuwonako, n’agolokoka n’amuweereza.
16 That evening they brought him many oppressed by demons; he expelled the spirits with a word and healed everyone sick. Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. N’ayogera bwogezi kigambo baddayimooni n’abagoba, era n’awonya n’abalala bonna abaali balwadde.
17 This fulfilled the prophet Isaiah's words: "He took our weaknesses and carried our diseases." Bwe kityo ekigambo ekyayogerebwa mu nnabbi Isaaya ne kituukirira bwe yagamba nti: “Yatuwonya endwadde zaffe, era n’atwala obunafu bwaffe.”
18 When Jesus saw a crowd around him, he ordered them to cross to the other side. Awo Yesu bwe yalaba ng’ekibiina ekimwetoolodde kinene n’alagira bawunguke balage ku ludda olulala.
19 And a scribe came up and said to him, "Teacher, I will follow you wherever you go." Omu ku bawandiisi b’amateeka n’amusemberera n’amugamba nti, “Omuyigiriza, nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga!”
20 Jesus told him, "Foxes have dens and birds of the sky have nests, but the Son of Man has nowhere to lay his head." Yesu n’amuddamu nti, “Ebibe birina obunnya mwe bisula, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”
21 Another of the disciples said to him, "Lord, let me first go and bury my father." Omuyigirizwa we omu n’amugamba nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.”
22 But Jesus said to him, "Follow me, and leave the dead to bury their own dead." Naye Yesu n’amuddamu nti, “Ngoberera! Leka abo abafu baziike abafu baabwe.”
23 When he got into the boat, his disciples followed him. Yesu n’ayingira mu lyato n’abayigirizwa be.
24 Suddenly a great storm arose on the sea, so waves covered the boat—but he was asleep. Awo omuyaga mungi ogw’amaanyi ne gujja ku nnyanja, amayengo amagulumivu ne gaba kumpi okubuutikira eryato. Naye yali yeebase.
25 So they woke him: "Lord, save us! We're dying!" Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Mukama waffe, tulokole, tusaanawo!”
26 He said to them, "Why are you afraid, you of little faith?" Then he stood and rebuked the winds and sea, and a great calm followed. Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?” N’agolokoka n’aboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja n’eteeka.
27 The men were amazed: "What kind of man is this—even winds and sea obey him?" Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, “Muntu ki ono, omuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”
28 Crossing to the other side, to the region of the Gadarenes, two demon-possessed men came out of the tombs to meet him, so violent no one could pass that way. Awo bwe yatuuka emitala w’eri mu nsi y’Abagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gy’ali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo.
29 They shouted, "What do you want with us, Son of God? Have you come here to torment us before the time?" Ne bawowoggana nnyo nti, “Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ng’ekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?”
30 Now a herd of many pigs was feeding at some distance from them. Walako ne we baali waaliwo eggana ly’embizzi nga zirya,
31 And the demons begged him, "If you cast us out, send us into the herd of pigs." baddayimooni ne basaba Yesu nti, “Obanga ogenda kutogoba ku bantu bano, tusindike mu ggana ly’embizzi.”
32 He told them, "Go." They came out and entered the pigs, and the whole herd rushed down the cliff into the sea and died in the waters. Yesu n’agamba baddayimooni nti, “Kale, mugende.” Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo.
33 The herdsmen fled into the city and reported everything, including what had happened to the demon-possessed men. Naye abaali balunda embizzi ne badduka ne bagenda mu kibuga ne babuulira abantu byonna ebibaddewo, n’eby’abasajja abaaliko baddayimooni.
34 The whole city came out to meet Jesus; seeing him, they begged him to leave their region. Abantu b’omu kibuga bonna ne bafuluma okujja okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba ne bamwegayirira abaviire mu kitundu kyabwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]