Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jesus stepped into a boat, crossed over, and came to his own town. Awo Yesu n’asaabala mu lyato n’awunguka n’atuuka mu kibuga ky’ewaabwe, Kaperunawumu.
2 Some brought him a paralyzed man lying on a mat. Seeing their faith, Jesus told the paralyzed man, "Take heart, son; your sins are forgiven." Amangwago ne bamuleetera omuntu eyali akoozimbye nga bamusitulidde ku katanda. Bwe yalaba okukkiriza kwabwe n’agamba omulwadde nti, “Mwana wange, guma omwoyo, nkusonyiye ebibi byo!”
3 At this, some of the teachers of the law said to themselves, "This man is blaspheming." Naye waaliwo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne boogeraganya bokka na bokka nti, “Omuntu ono avvoola! Alowooza nti Ye Katonda!”
4 Knowing their thoughts, Jesus said, "Why do you harbor evil in your hearts? Yesu n’amanya bye balowooza. N’abagamba nti, “Lwaki mubeera n’ebirowoozo ebibi mu mitima gyammwe?
5 Which is easier: to say, 'Your sins are forgiven,' or to say, 'Get up and walk'? Ekyo buli muntu ayinza okukyogera, kubanga kwogera bwogezi.
6 But so you know the Son of Man has authority on earth to forgive sins"—then he told the paralyzed man, "Get up, take your mat, and go home." Naye mutegeere nga Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n’agamba akoozimbye nti, “Yimirira weetikke akatanda ko, weddireyo ewammwe!”
7 And the man got up and went home. N’ayimirira ng’awonye, ne yeddirayo eka.
8 Seeing this, the crowds were awed and praised our Father, who gave people such authority. Naye abantu abaali mu bibiina bwe baalaba ekyamagero kino ne beewuunya nnyo! Ne bagulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkaniddaawo!
9 Moving on from there, Jesus saw a man named Matthew sitting at the tax booth. "Follow me," he said. Matthew got up and followed him. Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo n’alaba omuntu, erinnya lye Matayo, ng’atudde mu kifo we basolooleza omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Bw’atyo naye n’asitukiramu n’agoberera Yesu.
10 As Jesus ate in Matthew's house, many tax collectors and sinners joined him and his disciples at the table. Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku mmere mu nnyumba ya Matayo, abawooza bangi n’abantu abaali bamanyiddwa mu kitundu ekyo nti babi ne bajja ne batuula naye n’abayigirizwa be ku mmere ne balya.
11 Seeing this, the Pharisees asked his disciples, "Why does your teacher eat with tax collectors and sinners?" Naye Abafalisaayo bwe baakiraba, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki Mukama wammwe alya n’abawooza n’abantu abalina ebibi?”
12 On hearing this, Jesus said, "It is not the healthy who need a doctor, but the sick. Yesu bwe yawulira n’abaddamu nti, “Abalamu tebeetaaga musawo wabula abalwadde.
13 But go and learn what this means: 'I want mercy, not sacrifice.' For I didn't come to call the righteous, but sinners." Mugende muyige amakulu g’Ekyawandiikibwa kino nti, ‘Ssaddaaka zammwe n’ebirabo byammwe si bye neetaaga, wabula neetaaga mubeerenga ba kisa.’ Najjirira kuyita boonoonyi, so sajjirira abo abeerowooza nti batuukirivu.”
14 Then John's disciples came, asking him, "Why do we and the Pharisees fast often, but your disciples don't?" Lwali lumu abayigirizwa ba Yokaana ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebasiiba nga ffe n’Abafalisaayo bwe tukola?”
15 Jesus replied, "Can the groom's friends mourn while he's with them? But days are coming when the groom is taken from them—then they'll fast. Yesu n’ababuuza nti, “Mikwano gy’omugole bayinza okunakuwala ng’omugole akyali nabo? Naye ekiseera kirituuka omugole lwalibaggibwako. Olwo nno balisiiba.
16 No one sews an unshrunk patch on an old garment; the patch pulls away from it, leaving a worse tear. “Tewali muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye lukadde, kubanga, ekiwero bwe kyetugga kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kigaziwa.
17 People don't pour new wine into old wineskins; otherwise the skins burst, the wine spills, and they're ruined. Instead, new wine goes into new wineskins, so both are kept." Era tewali ateeka wayini musu mu nsawo ez’amaliba enkadde. Ensawo enkadde zaabika wayini n’ayiika n’ensawo ne zoonooneka. Wayini omusu bamuteeka mu nsawo z’amaliba maggya, byombi ne bitayonooneka.”
18 While he spoke, a synagogue leader came, knelt before him, and said, "My daughter just died. But come, lay your hand on her, and she will live." Bwe yali ng’akyayogera nabo omufuzi n’ajja, n’amusinza n’amugamba nti, “Omwana wange omuwala anfuddeko, naye singa ojja n’omukwatako anaalamuka.”
19 Jesus got up and went with him, and so did his disciples. Yesu bwe yasituka n’abayigirizwa be okugenda mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro,
20 Just then a woman bleeding twelve years came up behind and touched his cloak's edge. omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi, okumala emyaka kkumi n’ebiri, n’ajja emabega we n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kye.
21 She kept saying to herself, "If I only touch his cloak, I will be healed." Kubanga y’agamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.”
22 Jesus turned, saw her. "Courage, daughter," he said, "your faith has healed you." The woman was healed at that moment. Yesu n’akyuka n’alaba omukazi n’amugamba nti, “Muwala, guma omwoyo! Owonye olw’okukkiriza kwo.” Omukazi n’awonera mu kiseera ekyo.
23 When Jesus entered the synagogue leader's house and saw the flute players and the noisy crowd, Awo Yesu bwe yatuuka mu maka g’omufuzi n’asanga abafuuyi b’amakondeere n’ekibiina nga kijagaladde,
24 he said, "Go away. The girl is not dead but asleep." But they laughed at him. n’agamba nti, “Mufulume kubanga omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi.” Bonna ne bamusekerera nga bwe beesooza.
25 When the crowd was sent out, he went in, took her hand, and the girl got up. Naye abantu bwe bamala okufuluma, Yesu n’ayingira, n’akwata omukono gw’omuwala, n’agolokosa omuwala.
26 News of this spread through all that region. Ebigambo ebyo ne bibuna mu kitundu ekyo kyonna.
27 As Jesus left there, two blind men followed, shouting, "Have mercy on us, Son of David!" Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe b’amaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!”
28 Entering the house, the blind men came to him. He asked, "Do you believe I am able to do this?" "Yes, Lord," they said. Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja w’ali. Yesu n’ababuuza nti, “Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo, Mukama waffe.”
29 Then he touched their eyes and said, "Let it be done to you according to your faith". Awo n’akoma ku maaso gaabwe n’abagamba nti, “Kale, olw’okukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa.”
30 Their eyes opened. Jesus warned them sternly, "See that no one knows about this." Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n’abakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna ng’abagamba nti, “Mulabe nga tewaba n’omu ategeera bibaddewo.”
31 But they went out and spread the news about him all over that region. Naye bwe baava awo, ne bagenda nga basaasaanya ebigambo ebyo, nga babuulira buli muntu gwe baasisinkananga mu kitundu ekyo.
32 As they went out, a mute, demon-possessed man was brought to Jesus. Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni.
33 Once the demon was driven out, the mute man spoke. The crowds were amazed and said, "Nothing like this has ever appeared in Israel." Yesu n’amugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala n’ayogera. Ekibiina ky’abantu ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.”
34 But the Pharisees said, "He drives out demons by the prince of demons." Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni lwa kubanga ye mukulu wa baddayimooni!”
35 Jesus traveled every town and village, teaching in their synagogues, announcing the good news of our Father's kingdom, and healing every disease and sickness. Yesu n’agenda ng’ayita mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo, ne mu byalo ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka. Era buli we yatuukanga n’awonya abalwadde n’abakoozimbye bonna.
36 Seeing the crowds, he felt compassion for them, because they were troubled and helpless, like sheep without a shepherd. Awo bwe yatunuulira ekibiina ky’abantu nga bajja gy’ali, nga bakooye nnyo, era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba, n’abasaasira nnyo.
37 Then he said to his disciples, "The harvest is plentiful but the workers are few. N’agamba abayigirizwa be nti, “Eby’okukungula bingi nnyo, naye abakozi abakungula batono.
38 So ask the Father of the harvest to send out workers into his harvest field." Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]