Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In those days John the Baptist came, preaching in the wilderness of Judea, Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti,
2 "Repent, for the kingdom of our Father has come near." “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.”
3 This is the one Isaiah the prophet spoke of, saying: "A voice calling out in the wilderness: Prepare the way of the Lord, make his paths straight." Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti, “Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti, ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, muluŋŋamye amakubo ge!’ ”
4 John wore clothes of camel hair, with a leather belt around his waist; his food was locusts and wild honey. Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki.
5 Then Jerusalem and all Judea and all the region around the Jordan went out to him, Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira.
6 and they were baptized by him in the Jordan River, confessing their sins. N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7 Seeing many Pharisees and Sadducees coming to be baptized, he said to them, "You brood of vipers! Who warned you to flee the coming wrath? Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?
8 Bear fruit, then, worthy of repentance. Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza.
9 Don't presume to say to yourselves, 'Abraham is our father,' for I tell you: our Father can raise up children for Abraham from these stones. Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu!
10 The axe already lies at the root of the trees, so every tree not bearing good fruit is cut down and thrown into the fire. Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.
11 "I baptize you with water for repentance, but the one coming after me is stronger than I am—I'm not worthy to carry his sandals. He will baptize you with the Holy Spirit and fire. “Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro.
12 His winnowing fork is in his hand; he'll clear his threshing floor, gather his wheat into the barn, but burn the chaff with fire that never goes out." Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”
13 Then Jesus came from Galilee to the Jordan to John, to be baptized by him. Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya n’ajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana.
14 But John tried to stop him: "I need baptism from you, yet you come to me?" Naye Yokaana n’ayagala okugaana, n’agamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gw’ojja gye ndi?”
15 Jesus replied to him, "Allow it now, for this is how we must fulfill all righteousness." So John allowed him. Yesu n’amuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n’amukkiriza.
16 After Jesus was baptized, he came up out of the water at once, and suddenly the heavens opened to him; he saw the Spirit of our Father coming down like a dove and settling on him. Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba.
17 Then a voice from heaven said, "This is my Son, the one I love; I delight in him." Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]