Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After Jesus was born in Bethlehem, Judea, in the days of King Herod, magi from the east arrived in Jerusalem, Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti,
2 saying, "Where is the one born king of the Jews? For we saw his star in the east and have come to worship him." “Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”
3 When Herod the king heard this, he was troubled, and all Jerusalem with him. Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi.
4 He gathered all the people's chief priests and scribes, asking where the Christ was to be born. N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa.
5 They told him, "In Bethlehem of Judea, for this is what was written through the prophet: Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,
6 'Yet you, Bethlehem, in Judah's land, are certainly not the least among Judah's rulers; for from you a ruler will emerge who will shepherd Israel, my people.'" “ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda, toli mutono mu balangira ba Yuda, kubanga omufuzi aliva mu ggwe, alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”
7 Then Herod secretly summoned the magi and learned from them the exact time the star had appeared. Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu.
8 He sent them to Bethlehem, saying, "Go, search carefully for the child. When you find him, come back and tell me, so that I too may go and worship him." N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!”
9 After hearing the king, they set out; the star they had seen in the east went ahead of them until it stopped over where the child was. Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba n’eddamu okubalabikira n’okubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana w’ali.
10 When they saw the star, they rejoiced with overwhelming joy. Bwe baalaba emmunyeenye ng’eyimiridde, essanyu lyabwe ne libeera lingi nnyo!
11 Entering the house, they saw the child with Mary his mother, fell down and worshiped him. They opened their treasure boxes and gave him gifts: gold, frankincense, and myrrh. Bwe baayingira mu nnyumba ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu.
12 Warned in a dream not to return to Herod, they went back to their own country by a different route. Awo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala.
13 After they left, an angel of our Father appeared to Joseph in a dream: "Get up, take the child and his mother, flee to Egypt, and stay until I tell you—Herod is about to search for the child to kill him." Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.”
14 And he got up and took the child and his mother by night and left for Egypt, Ekiro ekyo n’asituka n’atwala Omwana ne nnyina e Misiri.
15 and stayed there until Herod died, fulfilling what our Father said through the prophet: "Out of Egypt I called my son." Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti: “Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”
16 Then Herod, seeing the magi had outwitted him, grew furious and sent men to kill all boys two years old and under in Bethlehem and its whole region, matching the time he'd learned from the magi. Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye.
17 This fulfilled what was spoken through Jeremiah the prophet: Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ng’agamba nti,
18 "A voice was heard in Ramah, weeping and loud mourning, Rachel weeping for her children; she refused to be comforted, because they are no more." “Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, okukuba emiranga n’okukungubaga okunene, nga Laakeeri akaabira abaana be, nga tewakyali asobola kumuwooyawooya, kubanga bonna baweddewo.”
19 But when Herod died, an angel of our Father appeared in a dream to Joseph in Egypt, Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri,
20 saying, "Get up, take the child and his mother, go to Israel's land, for those seeking the child's life are dead." n’amugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”
21 So he got up, took the child and his mother, and went to Israel's land. Yusufu n’asitukiramu n’azzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri.
22 Hearing that Archelaus was ruling Judea in place of his father Herod, he was afraid to go there. Warned in a dream, he withdrew to the region of Galilee. Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya
23 He went and lived in a town called Nazareth, fulfilling the prophets' words: "He will be called a Nazarene." n’atuuka mu kibuga ky’e Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]