Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 28 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After the Sabbath, at dawn on the first day of the week, Mary Magdalene and the other Mary came to see the tomb. Oluvannyuma lwa Ssabbiiti ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, ng’obudde bukya, Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu oli omulala ne balaga ku ntaana.
2 Suddenly a great earthquake struck, for an angel of our Father came down from heaven, rolled back the stone, and sat on it. Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ng’okwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu n’ayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gw’entaana, n’alituulako.
3 His appearance was like lightning, and his clothing white as snow. Amaaso ge gaali gamasamasa ng’okumyansa kw’eraddu, n’ekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku.
4 The guards trembled in fear of him and became like dead men. Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ng’abafudde.
5 But the angel said to the women, "Don't be afraid, for I know you're looking for Jesus, who was crucified. Awo malayika n’agamba abakazi nti, “Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa,
6 He isn't here—he's risen, as he said. Come, see the place where he was lying. wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa.
7 Go quickly, tell his disciples: He has risen from the dead. Look, he is going ahead of you to Galilee; you will see him there. Listen, I have told you." Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”
8 So they left the tomb quickly, with fear and great joy, and ran to tell his disciples. Abakazi abo ne badduka embiro nnyingi nga bava ku ntaana kyokka nga batidde nnyo, naye ate nga bajjudde essanyu. Ne bayanguwa mangu okugenda okubuulira abayigirizwa be.
9 Suddenly Jesus met them, saying, "Greetings!" They came to him, grasped his feet, and worshiped him. Bwe baali bagenda, amangwago Yesu n’ayimirira mu maaso gaabwe! N’abalamusa nti, “Mirembe?” Ne bagwa wansi ne bavuunama mu maaso ge, ne bamukwata ku bigere ne bamusinza.
10 Then Jesus told them, "Don't be afraid. Go, tell my brothers to leave for Galilee—they will see me there." Awo Yesu n’abagamba nti, “Temutya, mugende mugambe abooluganda bagende mangu e Ggaliraaya, gye balindabira.”
11 While on the way, some guards entered the city and reported to the chief priests all that had happened. Abakazi bwe baali bagenda mu kibuga, abamu ku bakuumi abaali bakuuma entaana ne bagenda eri bakabona abakulu ne babategeeza byonna ebibaddewo.
12 After meeting with the elders and forming a plan, they paid the soldiers a large sum, Awo abakulembeze b’Abayudaaya bonna ne bakuŋŋaana ne bateesa era ne batoola ffeeza na basalawo bagulirire abakuumi.
13 telling them, "Say: His disciples came at night and stole him while we slept. Ne babalagira bagambe nti, “Bwe twali twebase ekiro, abayigirizwa ne bajja ne babba omulambo gwa Yesu ne bagutwala.”
14 If this reaches the governor, we'll persuade him and keep you free of trouble." Abaali mu lukiiko olwo ne basuubiza abakuumi nti, “Singa ebigambo bino bituuka ku gavana, ffe tujja kumuwooyawooya, tubazibire.”
15 They took the money and did as they were told; this report spread among the Jews to this day. Bwe batyo abaserikale ne balya enguzi, ne bakkiriza okwogera nga bwe baabagamba. Ebigambo byabwe ne bibuna nnyo wonna mu Buyudaaya, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.
16 Then the eleven disciples went to Galilee, to the mountain where Jesus had directed them. Awo abayigirizwa ekkumi n’omu ne basitula ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabagamba okumusanga.
17 When they saw him, they worshiped him, but some doubted. Ne bamusisinkana ne bamusinza. Naye abamu ku bo tebaakakasiza ddala nti ye Yesu, ne babuusabuusa!
18 Jesus came and said to them, "All authority in heaven and on earth has been given to me. Awo Yesu n’asemberera abayigirizwa be n’abategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.
19 Therefore go and make disciples of all nations, baptizing them in the name of the Father and of the Son and of the Holy Spirit, Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu.
20 teaching them to obey all I've commanded you. Remember, I'm with you always, to the end of the age." Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]