Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The beginning of the gospel of Jesus Christ, the Son of our Father. Entandikwa y’Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.
2 As written in Isaiah the prophet: "Look, I send my messenger ahead of you, who will prepare your way. Kyawandiikibwa mu kitabo kya nnabbi Isaaya nti, “Laba ntuma omubaka wange akukulembere, ateeketeeke ekkubo lyo;
3 A voice calling out in the wilderness: 'Prepare the way of the Lord, make his paths straight.'" eddoboozi ly’oyo ayogelera waggulu mu ddungu nti, ‘Muteeketeeke ekkubo lya Mukama, mutereeze amakubo ge.’ ”
4 John appeared, baptizing in the wilderness and proclaiming a baptism of repentance for the forgiveness of sins. Yokaana yajja ng’abatiriza mu ddungu, ng’abuulira okubatiza okw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi.
5 All Judea and everyone in Jerusalem went out to him, and he baptized them in the Jordan River as they confessed their sins. Ensi yonna ey’e Buyudaaya n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, ne bagendanga gy’ali, n’ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe.
6 John was dressed in camel's hair, with a leather belt around his waist, eating locusts and wild honey. Yokaana yayambalanga ekyambalo eky’obwoya bw’eŋŋamira, ne yeesibanga olukoba olw’eddiba mu kiwato kye, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki.
7 He announced: "After me comes one stronger than I; I'm not worthy to stoop and untie his sandal strap. Yabuuliranga ng’agamba nti, “Waliwo omuntu omukulu era ansinga amaanyi ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula bukoba bwa ngatto ze.
8 I have baptized you with water, but he will baptize you with the Holy Spirit." Nze mbabatiza na mazzi, naye ye alibabatiza na Mwoyo Mutukuvu.”
9 In those days Jesus came from Nazareth of Galilee and was baptized by John in the Jordan. Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n’ava e Nazaaleesi mu Ggaliraaya n’ajja, Yokaana n’amubatiza mu mugga Yoludaani.
10 Immediately, as he came up out of the water, he saw the heavens split open and the Holy Spirit come down on him like a dove. Awo Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, n’alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo ng’ali ng’ejjiba ng’amukkako.
11 And a voice came from heaven: "You are my beloved Son; in you I delight." Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa, ggwe, gwe nsanyukira ennyo.”
12 And immediately the Holy Spirit drove him out into the wilderness. Amangwago Mwoyo n’amutwala mu ddungu.
13 He was in the wilderness forty days, tempted by Satan, with the wild animals, and the angels served him. N’amalayo ennaku amakumi ana ng’ali n’ensolo ez’omu nsiko, ng’akemebwa Setaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.
14 Now after John was arrested, Jesus came into Galilee, proclaiming the gospel of our Father, Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n’ajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda,
15 and saying, "The time is fulfilled, and our Father's kingdom is near; repent and believe the good news." ng’agamba nti, “Ekiseera kituukiridde, n’obwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.”
16 Passing the Sea of Galilee, he saw Simon and his brother Andrew casting a net in the sea, for they were fishermen. Awo Yesu yali ng’ayita ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya, n’alaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi.
17 And Jesus said to them, "Follow me, and I will make you become fishers of people." Yesu n’abagamba nti, “Mujje mungoberere nange ndibafuula abavubi b’abantu!”
18 And immediately they left their nets and followed him. Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera.
19 Going a little farther, he saw James son of Zebedee and John his brother in their boat, mending the nets. Bwe yeeyongerayo katono, n’alaba Yakobo ne Yokaana batabani ba Zebbedaayo, nga bali mu lyato baddaabiriza obutimba bwabwe.
20 At once he called them; leaving their father Zebedee in the boat with the hired hands, they followed him. Amangwago n’abayita ne baleka kitaabwe Zebbedaayo mu lyato n’abapakasi, ne bagoberera Yesu.
21 They went to Capernaum. At once, on the Sabbath, he entered the synagogue and began teaching. Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago n’ayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, n’abayigiriza.
22 They were amazed at his teaching, for he taught them with authority, not like the scribes. Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakolanga.
23 And immediately there was in their synagogue a man with an unclean spirit, and he cried out. Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, n’awowoggana,
24 Why meddle with us, Jesus of Nazareth? Have you come to destroy us? I know who you are—God's Holy One! ng’agamba nti, “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.”
25 But Jesus rebuked him, saying, "Be silent, and come out of him!" Awo Yesu n’aguboggolera ng’agamba nti, “Sirika era muveeko.”
26 And the unclean spirit, convulsing him and crying out with a loud voice, came out of him. Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako.
27 All were amazed, and they questioned each other: "What is this? A new teaching with authority - he commands even the unclean spirits, and they obey him!" Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So n’emyoyo emibi agiragira ne gimugondera.”
28 And at once his fame spread everywhere throughout all the surrounding region of Galilee. Amangwago amawulire agamukwatako ne gasaasaana wonna mu byalo ebyetoolodde Ggaliraaya.
29 Immediately he left the synagogue and went to Simon and Andrew's house, with James and John. Amangwago ne bava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda mu nnyumba ya Simooni ne Andereya nga bali ne Yakobo ne Yokaana.
30 Now Simon's mother-in-law lay sick with a fever, and immediately they told him about her. Ne basanga nga nnyina muka Simooni agalamidde mulwadde omusujja. Amangwago ne bakitegeeza Yesu.
31 He came, took her hand, raised her up. The fever left her, and she served them. Bwe yamusemberera, n’amukwata ku mukono n’amuyimusa, omusujja ne gumuwonako, n’abaweereza!
32 That evening, when the sun set, they brought him all who were sick and those oppressed by demons. Awo obudde bwe bwali buwungeera, ng’enjuba egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna, n’abaaliko dayimooni.
33 And the whole city was gathered together at the door. Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku luggi.
34 He healed many sick with various diseases and drove out many demons, not letting the demons speak, since they knew him. Era Yesu n’awonya abalwadde bangi abaalina endwadde ez’enjawulo era n’abaaliko baddayimooni bangi n’ababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.
35 Long before dawn, while still dark, he got up, went out to a deserted place, and prayed there. Enkeera ng’obudde tebunnalaba yesu n’azuukuka n’agenda yekka mu kifo ekyekusifu, okusaba.
36 And Simon and those who were with him searched for him, Awo Simooni ne be yali nabo ne bamunoonya,
37 and they found him and said to him, "Everyone is looking for you." bwe baamulaba ne bamugamba nti, “Buli muntu akunoonya.”
38 He said, "Let us go elsewhere, to the neighboring towns, so I can preach there too, for that is why I came." Naye Yesu n’abagamba nti, “Tugende awalala mu byalo ebituliraanye, n’abeeyo mbabuulire, kubanga ekyo kye najjirira.”
39 And he went throughout all Galilee, preaching in their synagogues and casting out demons. Awo n’abuulira mu makuŋŋaaniro ag’omu kitundu kyonna eky’e Ggaliraaya, era n’agoba ne baddayimooni.
40 A man with leprosy came, knelt, and begged him, "If you're willing, you can make me clean." Awo omugenge n’ajja eri Yesu ne yeegayirira ng’afukamidde mu maaso ge, n’amugamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa.”
41 Moved with deep compassion, he stretched out his hand, touched him, and said to him, "I am willing; be clean." Yesu n’amusaasira, n’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti, “Nsiimye, longooka!”
42 And immediately the leprosy left him, and he was made clean. Amangwago ebigenge ne bimuwonako, n’aba mulongoofu.
43 Sternly warning him, he sent him away at once, Awo Yesu n’amukuutira nnyo n’amusiibula,
44 and told him, "Make sure you tell no one—but go, show yourself to the priest, and offer what Moses commanded for your cleansing, as proof to the people." ng’agamba nti, “Kino tokibuulirako muntu n’omu, wabula genda weeyanjule eri kabona, oweeyo n’ekirabo Musa kye yalagira okuweebwangayo, okuba obujulirwa gye bali.”
45 But he went out, proclaiming it freely and spreading the news, so Jesus could no longer enter a town openly, but stayed in lonely places. Yet people came to him from everywhere. Naye omusajja n’atandika okwogera ku ebyo ebyamubaako, n’okubibunyisa. Yesu n’atasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, naye n’abeeranga mu bifo ebyekusifu. Abantu ne bajjanga gy’ali okuva mu njuyi zonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]