Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 27 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 At dawn, all the chief priests and elders of the people met and plotted to kill Jesus. Awo obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n’abakulembeze b’Abayudaaya ne beeyongera okukuŋŋaana ne bateeseza wamu balabe ekkubo lye banaayitamu okutta Yesu.
2 So they bound him, led him away, and handed him over to Pilate the governor. Ne bamusiba, ne bamuweereza ewa Piraato eyali gavana Omuruumi.
3 Then Judas, his betrayer, seeing Jesus condemned, felt remorse and returned the thirty pieces of silver to the chief priests and elders, Awo Yuda, eyali amuliddemu olukwe, bwe yalaba nga Yesu bamusalidde omusango gwa kufa, n’azzaayo ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza eri bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya,
4 saying, "I sinned, betraying innocent blood." They said, "Not our concern. You'll see to it." ng’agamba nti, “Nnyonoonye, kubanga ndiddemu olukwe omusaayi ogutalina musango.” Naye ne bamuddamu nti, “kyo kitukwatako kitya? Ezo nsoga zo.”
5 He threw the pieces of silver into the temple, went out, and hanged himself. Kyeyava addira ensimbi eza ffeeza n’aziyiwa mu Yeekaalu n’afuluma n’agenda yeetuga!
6 The chief priests took the silver and said, "We can't put this in the treasury—it was payment for blood." Bakabona abakulu ne balondalondawo ensimbi eza ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okuzissa mu ggwanika lya yeekaalu kubanga muwendo gwa musaayi.”
7 So they consulted, then bought the potter's field with it, to bury foreigners. Bwe baamala okukikubaganyaako ebirowoozo, ne basalawo okuzigulamu ennimiro ababumbi mwe baggyanga ebbumba. Ne bateesa ennimiro eyo okugifuula ekifo eky’okuziikangamu abagwira.
8 That is why that field has been called the Field of Blood to this day. Kyebaava batuuma ennimiro eyo, “Ennimiro y’Omusaayi” n’okutuusa leero.
9 Then what the prophet Jeremiah spoke was fulfilled: "They took the thirty pieces of silver, the price set on him, whom some of Israel's sons priced, Kino ne kituukiriza nnabbi Yeremiya bye yayogera nti, “Baddira ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, nga gwe muwendo abaana ba Isirayiri gwe baamulamula,
10 and they gave them for the potter's field, as our Father directed me." ne bagulamu ennimiro eyali ey’ababumbi, nga Mukama bwe yalagira.”
11 Jesus stood before the governor; the governor asked, "Are you the King of the Jews?" Jesus said, "You say so." Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana n’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde.”
12 But when he was accused by the chief priests and elders, he gave no answer. Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bwe baaleeta ensonga zaabwe ze baasinziirako okumuwawaabira, Yesu teyabaanukula.
13 Then Pilate said to him, "Don't you hear how many charges they're bringing against you?" Piraato kwe ku mubuuza nti, “Ebyo byonna bye bakwogerako tobiwulira?”
14 He gave him no answer, not even to a single charge, so the governor was greatly amazed. Naye Yesu n’ataddamu kigambo na kimu, era gavana ne kimwewuunyisa nnyo.
15 At each feast the governor would release one prisoner the crowd wanted. Gavana yalina empisa ey’okusumulula omusibe omu mu kiseera eky’Embaga y’Okuyitako, ng’omusibe oyo abantu be baamweronderanga.
16 At that time they were holding a notorious prisoner called Barabbas. Mu kkomera mwalimu kkondo lukulwe ng’erinnya lye ye Balaba.
17 When they had gathered, Pilate asked, "Which do you want me to release—Barabbas, or Jesus called Christ?" Awo Piraato n’abuuza ekibiina ekyali kikuŋŋaanye nti, “Mwagala mbasumululire ani, Balaba oba Yesu, ayitibwa Kristo?”
18 For he knew that it was out of envy that they had handed him over. Kubanga yamanya ng’abakulembeze b’Abayudaaya bamuwaddeyo lwa buggya.
19 While he sat on the judgment seat, his wife sent to him: Have nothing to do with that righteous man, for I suffered much today in a dream because of him. Piraato yali akyali wakati mu musango ogwo, mukazi we n’amutumira n’obubaka buno nti, “Toba na nsonga na musajja oyo omutuukirivu kubanga natawaanyizibbwa n’ekirooto eky’omuntu oyo.”
20 But the chief priests and elders persuaded the crowds to ask for Barabbas and to have Jesus put to death. Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne basendasenda ebibiina basabeyo Balaba y’aba ateebwa, naye Yesu attibwe.
21 The governor said, "Which of the two should I release to you?" They said, "Barabbas." Gavana bwe yaddamu okubabuuza nti, “Ku bano bombi mbateereko aluwa?” Ekibiina kyonna ne kiddamu nti, “Balaba!”
22 Pilate asked them, "What then do I do with Jesus called Christ?" They all said, "Have him crucified!" Piraato n’ababuuza nti, “Kale Yesu, ayitibwa Kristo, mukole ntya?” buli omu n’addamu nti, “Akomererwe!”
23 He said, "Why? What wrong has he done?" But they cried out louder, "Crucify him!" Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki, kiki ky’asobezza?” Naye bo ne beeyongera kuleekaanira waggulu nti, “Akomererwe!”
24 Seeing he could do nothing, but a riot was starting instead, Pilate took water, washed his hands before the crowd, and said, "I am innocent of this man's blood; you see to it." Awo Piraato bwe yalaba ng’ensoga talina gy’aziraza, ate ng’ebibiina byagala kusasamala, n’atumya amazzi, n’anaaba engalo ze mu maaso g’ekibiina nga bw’agamba nti, “Nze siriiko musango gwonna olw’omusaayi gw’omuntu ono omulungi. Obuvunaanyizibwa bwonna buli ku mmwe!”
25 And all the people answered, "His blood be on us and on our children!" Abantu bonna ne baanukula nti, “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe!”
26 Then he released Barabbas to them, had Jesus whipped, and handed him over to be crucified. Awo Piraato n’asumulula Balaba n’abamuwa. Naye bwe yamala okukuba Yesu embooko n’amuwaayo bamukomerere.
27 Then the governor's soldiers took Jesus into the governor's headquarters and gathered the whole regiment around him. Naye abaserikale baasooka kumutwala mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo ne bakuŋŋaanira eyo, ne bayita bannaabwe bonna.
28 They stripped him and put a scarlet robe on him. Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu,
29 They twisted a crown of thorns, set it on his head, put a reed in his right hand, knelt before him, and mocked him: "Hail, King of the Jews!" ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!”
30 And they spit on him, took the reed, and struck him on the head again and again. Ne bamuwandira amalusu, ne bamusikako olumuli ne balumukubya ku mutwe.
31 After mocking him, they stripped off the robe, dressed him in his own clothes, and led him away to crucify him. Eby’okumuduulira bwe byaggwa, ne bamwambulamu ekyambalo ekimyufu, ne bamwambaza ekyambalo kye ekya bulijjo, ne balyoka bamufulumya okumutwala okumukomerera.
32 Going out, they found a Cyrenian named Simon and forced him to carry Jesus's cross. Bwe baali nga bagenda gye banaamukomerera, ne basisinkana omusajja omukuleene, erinnya lye nga ye Simooni, ne bamulagira lwa maanyi yeetikke omusaalaba gwa Yesu.
33 And when they came to a place called Golgotha (which means Place of a Skull), Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu nti, “Akasozi k’Ekiwanga,”
34 they gave him wine mixed with bitter gall to drink; he tasted it and refused to drink. ne bawa Yesu wayini atabuddwamu omususa, naye bwe yakombako n’amugaana.
35 And when they had crucified him, they divided his garments among themselves by casting lots. Bwe baamala okumukomerera, abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
36 Then they sat down and kept watch over him there. Bwe batyo ne batuula awo nga bamukuuma.
37 Over his head they posted the charge against him: "This is Jesus, the King of the Jews." Ne bawanika ekipande waggulu w’omutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti, “Ono ye Yesu, Kabaka w’Abayudaaya.”
38 Then two robbers were crucified with him, one on his right and one on his left. Waaliwo n’abanyazi babiri abaakomererwa naye omu ku ddyo, n’omulala ku kkono.
39 Those who passed by hurled insults at him, shaking their heads, Awo abantu abaali bayitawo, ne bamuvuma nga bamunyeenyeza emitwe
40 saying, "You who would destroy the temple and rebuild it in three days—save yourself! If you're the Son of God, come down from the cross!" nga bwe bagamba nti, “Wagamba okumenya Yeekaalu, ate ogizimbe mu nnaku ssatu! Weerokole okke wansi okuva ku musaalaba, obanga ggwe Mwana wa Katonda.”
41 In the same way the chief priests, with the scribes and elders, also mocked him, saying, Bakabona abakulu n’abawandiisi, n’abakulembeze abalala ne bamuduulira, nga bagamba nti,
42 "he saved others; himself he can't save. He's King of Israel—let him come down from the cross now, and we'll believe in him. “Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bw’ali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza!
43 He trusts in God—let God save him now, if he wants him, for he said, 'I am God's Son.'" Yeesiga Katonda, kale amuggye ku musaalaba obanga Katonda amwagala. Yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ”
44 And the robbers who were crucified with him also heaped insults on him in the same way. N’abanyazi ababiri abaakomererwa awamu naye nabo ne bamuvuma.
45 Now from noon until three in the afternoon darkness came over all the land. Okuviira ddala ku ssaawa mukaaga mu ttuntu okutuusiza ddala essaawa mwenda ez’olweggulo ensi yonna yabikkibwa ekizikiza.
46 About three in the afternoon, Jesus cried loudly, "Eli, Eli, lema sabachthani?"—meaning, "My God, my God, why have you forsaken me?" Ku ssaawa nga mwenda Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Eri, Eri lama sabakusaani,” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
47 When some of those standing there heard this, they said, "This man is calling Elijah." Naye abamu ku baali bayimiridde awo bwe baakiwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”
48 One of them ran at once, soaked a sponge in sour wine, put it on a reed, and gave him a drink. Amangwago omu n’adduka n’addira ekyangwe n’akinnyika mu mwenge omukaatuufu n’akiteeka ku muti, n’akimuwa anuuneko.
49 But the others said, "Leave him alone. Let us see whether Elijah will come to save him." Naye abalala ne bagamba nti, “Mumuleke. Ka tulabe obanga Eriya anajja n’amulokola.”
50 And Jesus cried out again with a loud voice and gave up his spirit. Awo Yesu ne yeeyongera okwogerera waggulu n’eddoboozi eddene, n’awaayo omwoyo gwe.
51 Suddenly the curtain of the temple was torn in two, from top to bottom. The earth shook, the rocks split. Era laba! Eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n’ekankana, n’enjazi ne zaatika.
52 The tombs were opened, and many bodies of the holy ones who had fallen asleep were raised. Entaana ne zibikkuka era abantu ba Katonda bangi abaali bafudde ne bazuukira,
53 After Jesus's resurrection, they left the tombs, entered the holy city, and appeared to many. era Yesu bwe yamala okuzuukira ne bava mu ntaana gye baali baziikiddwa ne bayingira mu kibuga ekitukuvu ne balabibwa abantu bangi.
54 The centurion and those with him guarding Jesus saw the earthquake and what happened, and were terrified, saying, "Truly this man was the Son of God!" Omuserikale omukulu w’ekibinja ky’abaserikale ekikumi, n’abaserikale abaali bakuuma Yesu, bwe baalaba okukankana kw’ensi ng’okwa musisi, n’ebirala ebyabaawo, ne batya nnyo. Ne bagamba nti, “Ddala ddala ono abadde Mwana wa Katonda.”
55 Many women watched from a distance; they had followed Jesus from Galilee to serve him. Waaliwo n’abakazi bangi abaayitanga ne Yesu abaava naye e Ggaliraaya nga bamuweereza, baali beesuddeko akabanga, nga balaba ebigenda mu maaso.
56 Among them: Mary Magdalene, Mary mother of James and Joseph, and the mother of Zebedee's sons. Mu bo mmwe mwali Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina wa Yakobo ne Yusufu, ne nnyina w’abaana ba Zebbedaayo.
57 At evening a rich man from Arimathea named Joseph came, himself a disciple of Jesus. Obudde bwe bwawungeera, ne wajja omusajja omugagga ng’ava Alimasaya, erinnya lye Yusufu eyali omu ku bagoberezi ba Yesu.
58 He went to Pilate and asked for Jesus' body. Then Pilate ordered it given to him. N’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. Piraato n’alagira bagumuwe.
59 Joseph took the body, wrapped it in a clean linen cloth. Yusufu n’atwala omulambo n’aguzinga mu lugoye olulungi olwa linena,
60 He put it in his new tomb, cut into the rock, rolled a large stone across the tomb's entrance, and left. n’agugalamiza mu ntaana ye empya gye yatema mu lwazi, n’addira ejjinja eddene n’aliyiringisiza mu mulyango gw’entaana n’aggalawo, ne yeetambulira.
61 Mary Magdalene and the other Mary were there, sitting opposite the tomb. Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu munne, bombi baali batudde awo kumpi n’entaana.
62 The next day—after Preparation Day—the chief priests and Pharisees gathered before Pilate, Enkeera, ng’olunaku olusooka mu nnaku z’Embaga y’Okuyitako luweddeko, bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne bagenda eri Piraato,
63 and said, "Sir, we remember that deceiver, while still alive, said, 'After three days I will rise.' ne bamugamba nti, “Oweekitiibwa, omulimba oli tujjukira ng’akyali mulamu yagamba nti, ‘Nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.’
64 So order the tomb secured until the third day, or his disciples may come, steal him, and tell the people, 'He has been raised from the dead.' That last deception would be worse than the first." Noolwekyo tukusaba olagire entaana ye ekuumibwe, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kumubbamu, ne balyoka bategeeza abantu nti azuukidde! Singa ekyo kiba bwe kityo, ekyo kye kijja okuba ekibi ennyo okusinga n’ekyasooka.”
65 Pilate said to them, "You have a guard. Go, make it as secure as you can." Piraato n’abaddamu nti, “Mukozese abaserikale bammwe be mulina mugende mugikuume.”
66 So they went and made the tomb secure by sealing the stone and posting the guard. Bwe batyo ne bateeka akabonero ak’envumbo ku jjinja eryaggala omulyango gw’entaana, ne bateekawo n’abakuumi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]