Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 26 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Jesus had finished all these sayings, he said to his disciples, Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti,
2 "You know Passover comes after two days, and the Son of Man is handed over to be crucified." “Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.”
3 Then the chief priests and elders of the people gathered in the courtyard of the high priest Caiaphas, Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu,
4 and they plotted together to seize Jesus secretly and kill him. nga bakola olukwe mwe banaayita okukwata Yesu bamutte.
5 But they said, "Not during the festival, or there will be an uproar among the people." Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera eky’Embaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu.
6 Now when Jesus was in Bethany, in the house of Simon the leper, Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya,
7 a woman came to him with an alabaster jar of very expensive perfume and poured it on his head as he sat at the table. ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku mutwe gwa Yesu.
8 Seeing this, the disciples were angry, saying, "Why this waste? Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta ag’omuwendo gatyo!
9 For this could have been sold for a large sum and given to the poor." Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi n’azigabira abaavu.”
10 Jesus knew this and said to them, "Why trouble this woman? She has done a beautiful thing to me. Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’abagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi.
11 For you always have the poor with you, but you will not always have me. Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.
12 For when she poured this perfume on my body, she did it to prepare me for burial. Anfuseeko amafuta gano okuteekateeka omubiri gwange okuguziika.
13 Truly I tell you: wherever this gospel is preached worldwide, what she did will also be told, in memory of her." Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olw’ekikolwa kino. Ekikolwa ky’omukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gy’eneebuulirwanga.”
14 Then one of the Twelve, the one called Judas Iscariot, went to the chief priests, Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri n’agenda eri bakabona abakulu.
15 and said, "What are you willing to give me, and I will hand him over to you?" And they counted out thirty pieces of silver for him. N’ababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu.
16 And from then on he looked for an opportunity to betray him. Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda n’anoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.
17 On the first day of Unleavened Bread, the disciples asked Jesus, "Where do you want us to prepare for you to eat the Passover?" Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez’Embaga ey’Emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Embaga y’Okuyitako tukugiteekereteekere wa?”
18 He said, "Go into the city to a certain man and tell him, 'The Teacher says: My time is near. I'll keep Passover at your house with my disciples.'" Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kituuse, era Embaga ey’Okuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu n’abayigirizwa bange.’ ”
19 And the disciples did as Jesus directed them, and they prepared the Passover. Abayigirizwa ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira ne bateekateeka Okuyitako.
20 When evening came, he sat at the table with the Twelve. Akawungeezi ako Yesu bwe yali ng’atudde
21 And as they were eating, he said, "Truly I tell you, one of you will betray me." ku mmere n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, nga balya n’abagamba nti, “Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”
22 Deeply grieved, they each asked him, "Surely not I, Lord?" Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu n’abuuza nti, “Ye nze?”
23 He replied, "The one who has dipped his hand in the bowl with me will betray me. Yesu n’addamu nti, “Akozezza nange mu kibya, y’oyo.
24 The Son of Man goes, just as is written of him. But how terrible for the man who betrays him—better for him had he never been born." Mutegeere nti Omwana w’Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, naye zimusanze omuntu oyo agenda okulya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalirwa ddala.”
25 Judas, his betrayer, said, "Surely not I, Rabbi?" He said to him, "You have said so." Yuda anaamulyamu olukwe n’amubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”
26 As they ate, Jesus took bread, blessed and broke it, gave it to the disciples, and said, "Take, eat; this is my body." Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.”
27 Taking a cup and giving thanks, he gave it to them, saying, "Drink from it, all of you, Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti, “Munywe ku kino mwenna,
28 for this is my blood of the covenant, poured out for many for forgiveness of sins. kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi.
29 I tell you: I won't drink this fruit of the vine again, from now until the day I drink it new with you in my Father's kingdom." Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”
30 And when they had sung a hymn, they went out to the Mount of Olives. Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
31 Then Jesus told them, "Tonight you will all fall away because of me. For it is written: 'I will strike the shepherd, and the flock's sheep will be scattered.' Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira. “Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba n’endiga z’omu kisibo kye ne zisaasaana.’
32 But after I am raised up, I will go ahead of you to Galilee." Naye bwe ndimala okuzuukizibwa ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”
33 Peter said to him, "Though they all fall away because of you, I will never fall away." Peetero n’amuddamu nti, “Abalala bonna bwe banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.”
34 Jesus said to him, "I tell you the truth: before the rooster crows tonight, you will deny me three times." Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Mu kiro kino kyennyini enkoko eneeba tennakookolima, onooneegaana emirundi esatu.”
35 Peter said, "Even if I must die with you, I won't deny you." All the disciples said the same. Peetero n’amugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.
36 Then Jesus came with them to a place called Gethsemane and told the disciples, "Sit here while I go pray over there." Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.”
37 And taking with him Peter and the two sons of Zebedee, he became deeply grieved and distressed. N’atwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, n’atandika, okuwulira ennaku nnyingi n’okweraliikirira ennyo.
38 Then he told them, "My soul is crushed with sorrow, even to death. Stay here and watch with me." N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”
39 Going a little farther, he fell on his face and prayed, "My Father, if possible, let this cup pass from me. Yet not as I will, but as you will." N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
40 He came to the disciples and found them asleep. He said to Peter, "So, couldn't you stay awake with me one hour? N’addayo eri abayigirizwa be n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange n’essaawa emu?
41 Stay alert and pray, so you don't fall into temptation; the spirit is willing, but the flesh is weak." Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”
42 A second time he went away and prayed, "My Father, if this cannot pass unless I drink it, your will be done." N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”
43 And he came again and found them sleeping, for their eyes were heavy. N’akomawo nate gye bali n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo.
44 So leaving them again, he went away and prayed a third time, saying the same words again. N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.
45 Then he came to the disciples and said to them, "Still sleeping and resting? Look, the hour has come, and the Son of Man is betrayed into the hands of sinners. Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ng’ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi.
46 Get up, let's go! Look, the one who betrays me is here!" Muzuukuke! Musituke tugende! Laba, omuntu agenda okundyamu olukwe wuuli ajja!”
47 While he was still speaking, Judas, one of the Twelve, suddenly came with a large crowd carrying swords and clubs, sent by the chief priests and elders of the people. Laba Yesu yali akyayogera Yuda omu ku kkumi n’ababiri, n’atuuka ng’alina ekibiina ky’abantu abaali babagalidde ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya.
48 Now the betrayer had given them a signal: "The one I kiss is him—seize him." Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti omuntu gw’anaalamusa nga y’oyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata.
49 And immediately he came up to Jesus and said, "Greetings, Rabbi!" And he kissed him. Amangwago n’ajja eri Yesu n’amulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” n’amugwa mu kifuba.
50 Jesus told him, "Friend, do what you came to do." Then they came, grabbed Jesus, and held him. Yesu kwe kumugamba nti. “Munnange, kola ky’ojjiridde.” Awo abalala ne bakwata Yesu.
51 And look, one of those with Jesus reached out his hand, drew his sword, struck the high priest's servant, and cut off his ear. Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’asalako okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.
52 Then Jesus said to him, "Put your sword back in its place. All who take the sword will die by the sword. Naye Yesu n’amulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala.
53 Do you think I can't call on my Father, who'd at once send me more than twelve legions of angels? Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira?
54 But how then would the Scriptures be fulfilled, that it must happen this way?" Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?”
55 At that hour Jesus said to the crowds, "Did you come out with swords and clubs to seize me, as against a bandit? I sat teaching in the temple daily, and you didn't arrest me. Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata.
56 But all this happened to fulfill the prophets' Scriptures." Then all the disciples abandoned him and fled. Naye kino kibaddewo okutuukiriza ebigambo bya bannabbi ebiri mu Byawandiikibwa.” Olwo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.
57 Then those who arrested Jesus brought him to Caiaphas the high priest, where the scribes and the elders had gathered. Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde.
58 Peter followed at a distance, to the high priest's courtyard, went in, and sat with the guards to watch how it would end. Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo.
59 The chief priests and the whole Council sought false testimony against Jesus, to put him to death, Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa.
60 but they found none, though many false witnesses came forward. At last two came forward, Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri
61 and said, "This man said, 'I can destroy God's temple and rebuild it in three days.'" abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’ ”
62 The high priest stood up and said to him, "Have you no answer? What are these men testifying against you?" Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?”
63 But Jesus was silent. The high priest said, "I put you under oath by the living God: tell us whether you are the Christ, the Son of God." Naye Yesu n’asirika busirisi. Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
64 Jesus told him, "You've said it. But I tell you: from now on you'll see the Son of Man seated at Power's right hand, coming on heaven's clouds." Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.”
65 Then the high priest tore his clothes: "He has blasphemed! Why do we still need witnesses? You've now heard the blasphemy. Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera!
66 What is your judgment?" They answered, "He deserves death." Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”
67 Then they spit in his face and struck him; and some slapped him, Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi,
68 saying, "Prophesy to us, Christ! Who hit you?" nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?”
69 Peter sat outside in the courtyard. A servant girl approached, saying, "You too were with Jesus the Galilean." Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.”
70 But he denied it before them all, saying, "I don't know what you're talking about." Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ng’agamba nti, “Ky’oyogerako sikimanyi.”
71 As he went out to the gate, another servant girl saw him and told those there, "This man was with Jesus of Nazareth." Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.”
72 And again he denied it with an oath, "I do not know the man." Peetero era n’akyegaana, nga kw’atadde n’okulayira nga bw’agamba nti, “Nze oyo n’okumumanya simumanyi.”
73 Shortly after, the bystanders came to Peter: "Surely you're one of them too, since your accent gives you away." Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.”
74 Then he began to curse himself and swear, "I don't know the man." At once a rooster crowed. Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima.
75 Peter remembered Jesus' words: "Before the rooster crows, you will deny me three times." He went out and wept bitterly. Awo Peetero n’ajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima onoonneegaana emirundi esatu.” N’afuluma ebweru ng’akaaba nnyo amaziga.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]