Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 25 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "Then the kingdom of our Father will be like ten virgins who took their lamps and went out to meet the bridegroom. “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa n’abawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole.
2 Five of them were foolish, and five were wise. Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba b’amagezi.
3 The foolish ones took their lamps but did not take any oil with them. Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe.
4 But the wise ones took oil in flasks along with their lamps. Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe ag’okweyambisa wamu n’ettaala zaabwe.
5 When the bridegroom was delayed, they all became drowsy and fell asleep. Naye anaawasa omugole bwe yalwawo okutuuka otulo ne tubakwata bonna, ne beebaka.
6 But at midnight a cry rang out: 'Look, the bridegroom! Come out to meet him!' “Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’
7 Then all the young women woke up and trimmed their lamps. “Abawala embeerera bonna ne bazuukuka ne baseesa ettaala zaabwe.
8 The foolish said to the wise, 'Give us some of your oil, because our lamps are going out.' Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.’
9 But the wise answered, 'No, there may not be enough for us and you. Go instead to those who sell, and buy for yourselves.' “Naye bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Amafuta ge tulinawo gatumala bumazi. Mugende mu maduuka mwegulireyo.’
10 While they went to buy it, the bridegroom came. The ready ones went in with him to the wedding feast, and the door closed. “Naye baali baakagenda anaawasa omugole n’atuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo.
11 Later the other young women came too, saying, 'Lord, lord, open the door for us!' Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’
12 But he answered, 'Truly I tell you, I do not know you.' Naye n’abaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’
13 Therefore keep watch, because you do not know the day or the hour. “Kale mutunule mweteeketeeke, kubanga temumanyi kiseera wadde olunaku.”
14 "For it will be like a man going abroad, calling his servants and entrusting them with his property. “Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa n’olugero lw’omusajja eyali agenda olugendo, n’ayita abaddu be n’abalekera ebintu bye.
15 He gave one five bags of silver, another two, another one—each by his own ability—then set out on his journey. Eyasooka yamuwa ttalanta ttaano, owookubiri bbiri n’owookusatu emu, ng’ageraageranya ng’okusobola kwa buli omu bwe kwali. Bw’atyo ne yeetambulira.
16 The one given five bags of silver went at once, put them to work, and gained five more. Omusajja eyafuna ttalanta ettaano n’azisuubuzisa n’afunamu ttalanta ttaano endala.
17 In the same way, the one with two bags of silver gained two more. N’oyo eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’aviisaamu endala biri.
18 But the one who received one bag of silver went off, dug in the ground, and hid his master's money. Naye eyaweebwa ttalanta emu, bwe yagifuna n’agenda n’aziika ttalanta ya mukama we mu ttaka.
19 "After a long time the master of those servants returned and settled accounts with them. “Awo nga wayiseewo ekiseera kiwanvu, mukama w’abaddu abo n’akomawo. N’ayita abaddu be bamutegeeze ebyafa ku ttalanta ze yabalekera.
20 The man who received five bags of silver came, adding five more: 'Master, you entrusted me with five bags of silver; see, I've gained five more.' Omusajja gwe yalekera ttalanta ettaano n’ajja n’amuleetera ttalanta endala ttaano ng’agamba nti, ‘Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano.’
21 "His master said, 'Well done, good and faithful servant! You were faithful over a little; I'll put you over much. Enter your master's joy!' “Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’
22 "The one with two bags of silver also came and said, 'Master, you gave me two bags of silver; look, I've earned two more.' “Eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’ajja, n’ategeeza mukama we nti, ‘Ssebo, wandekera ttalanta bbiri, era ne nziviisaamu ttalanta endala bbiri.’
23 "His master told him, 'Well done, good and faithful servant! You were faithful with a little; I'll put you over much. Enter your master's joy!' “Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira osanyukire wamu ne mukama wo.’
24 "Then the one who had received one bag of silver came and said, 'Master, I knew you were a hard man, reaping where you didn't sow, gathering where you didn't scatter seed.' “Omusajja eyalekerwa ttalanta emu n’ajja, n’agamba nti, ‘Ssebo, nakumanya nga bw’oli omuntu omuzibu, okungulira gy’otaasigira era okuŋŋaanyiza gy’otaasaasaanyiza.
25 Afraid, I went and hid your silver in the ground. Here is what is yours. Olw’okutya bwe wagenda ne nkweka ttalanta yo mu ttaka era yiino ttalanta yo.’
26 "His master replied, 'You wicked, lazy servant! You knew I harvest where I didn't sow and gather where I didn't scatter seed? “Naye mukama we n’amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi era omugayaavu! Obanga wamanya nti ndi muntu akungulira gye ssaasigira,
27 "You should have deposited my money with the bankers, so on my return I'd get it back with interest. wanditadde ensimbi zange mu bbanka gye bandimpaddemu amagoba nga nkomyewo.’
28 So take his bag of silver and give it to the one with ten bags of silver. “N’alagira nti, ‘Mumuggyeeko ettalanta eyo mugiwe oli alina ttalanta ekkumi.
29 For everyone who has will be given more, and he'll overflow; but the one who has nothing will lose even what he has. Kubanga alina aliweebwa abe na bingi naye atalina, n’ebyo by’alina ebitono birimuggyibwako.
30 Throw out that worthless servant into the outer darkness, where there will be weeping and grinding of teeth.' N’omuddu oyo ataliiko ky’agasa mumusuule ebweru mu kizikiza eri okukaaba n’okuluma obujiji.’
31 "When the Son of Man comes in his glory, with all his angels, he will sit on his glorious throne. “Omwana w’Omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye.
32 All the nations will be gathered before him, and he will separate them from each other as a shepherd separates sheep from goats. Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi.
33 He will put the sheep on his right and the goats on his left. Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo n’embuzi ku gwa kkono.
34 Then the King will say to those on his right, 'Come, you blessed by my Father; inherit the kingdom prepared for you since the foundation of the world. “Awo Kabaka n’alyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.
35 "For I was hungry and you fed me; thirsty, and you gave me a drink; a stranger, and you took me in, Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza,
36 I was naked and you dressed me, sick and you cared for me, in prison and you visited me.'" nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’
37 "Then the righteous will answer him, 'Lord, when did we see you hungry and feed you, or thirsty and give you drink? “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala ne tukuliisa? Oba ng’olina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa?
38 "When did we see you a stranger and shelter you, or naked and dress you? Oba ng’oli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ng’oli bwereere, ne tukwambaza?
39 When did we see you sick or in prison and come to you?'" Twakulaba ddi ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tukulambula?’
40 "And the King will reply, 'Truly I tell you, whatever you did for one of the least of these siblings of mine, you did for me.' “Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’
41 Then he'll tell those on his left, 'Away from me, you cursed ones, into the eternal fire prepared for the devil and his angels. “Bw’atyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be.
42 For I was hungry and you gave me nothing to eat, thirsty and you gave me nothing to drink, Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa,
43 I was a stranger, and you didn't take me in; naked, and you didn't dress me; sick and in prison, and you didn't visit me.'" nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’
44 "Then they too will answer, 'Lord, when did we see you hungry, thirsty, a stranger, naked, sick, or in prison, and not serve you?' “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala oba ng’oli muyonta, oba ng’oli mugenyi oba ng’oli bwereere oba mulwadde oba ng’oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’
45 "He will answer, 'Truly I tell you: whatever you didn't do for one of the least of these, you didn't do for me.' “Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’
46 Then they will go away to eternal punishment, but the righteous to eternal life." “Abo baligenda ku kibonerezo eky’emirembe n’emirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]