Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 24 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jesus was leaving the temple when his disciples came to show him its buildings. Awo Yesu bwe yali ng’ava mu luggya lwa Yeekaalu, abayigirizwa be ne bajja w’ali okumulaga enzimba ya Yeekaalu,
2 "Do you see all these?" he answered. "Truly I tell you: not one stone here will be left on another; all will be torn down." naye n’abagamba nti, “Bino byonna temubiraba? Ddala ddala mbagamba nti tewaliba jjinja na limu eririsigala nga litudde ku linnaalyo eritalibetentebwa.”
3 While Jesus was sitting on the Mount of Olives, his disciples came to him privately: "Tell us, when will these things happen, and what sign marks your coming and the end of the age?" Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?”
4 Jesus answered, "Watch out that no one deceives you. Yesu n’abaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba.
5 "For many will come in my name, claiming, 'I am the Christ,' and they will deceive many. Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi.
6 You'll hear of wars and rumors of wars—don't be alarmed. This must happen, but the end isn't yet. Munaatera okuwulira entalo n’eŋŋambo z’entalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.
7 Nation will rise against nation, and kingdom against kingdom, with famines and earthquakes in place after place. Amawanga galirwana ne gannaago, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi.
8 All these are the beginning of birth pains. Naye bino byonna biriba ntandikwa butandikwa ng’ey’okulumwa okuzaala.”
9 Then they will hand you over to suffering and kill you, hated by all nations because of my name. “Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange.
10 At that time many will fall away and will betray and hate one another, Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, n’abalala baliryamu bannaabwe olukwe, n’abalala ne bakyawagana.
11 and many false prophets will appear and deceive many people. Era bannabbi ab’obulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi.
12 Because lawlessness will increase, the love of most will grow cold, Olw’obujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola.
13 but the one who endures to the end will be saved. Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa.
14 This good news of the kingdom will be announced worldwide as a testimony to all nations, and then the end will come. Era Enjiri ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna n’oluvannyuma enkomerero n’eryoka etuuka.”
15 So when you see the desolating abomination Daniel the prophet spoke of standing in the holy place—let the reader understand, “Noolwekyo bwe muliraba ‘eky’omuzizo eky’entiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere,
16 then let those who are in Judea flee to the mountains. n’abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi.
17 "Let no one on the rooftop go down to take anything out of the house, Alibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu.
18 and let no one in the field go back to get a coat. N’oyo alibeera mu nnimiro taddangayo eka okunonayo olugoye lwe.
19 How dreadful it will be in those days for pregnant women and nursing mothers! Naye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo.
20 Pray that your flight will not take place in winter or on the Sabbath. Naye musabe ekiseera ky’okudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti.
21 For then there will be great suffering, unmatched from the world's beginning until now, and never to be matched again. Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana.
22 If those days had not been cut short, no one would survive; but for the elect's sake, those days will be cut short. Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde n’omu alokolebwa. Naye olw’abalonde be ennaku ezo zirikendezebwako.
23 Then if anyone tells you, 'Look, here's the Christ,' or 'There he is,' don't believe it. Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga.
24 False messiahs and false prophets will arise, performing great signs and wonders to deceive, if possible, even the elect. Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda.
25 See, I have told you ahead of time. Laba mbalabudde nga bukyali!”
26 So if they say, 'Look, he's in the wilderness,' don't go out; 'Look, in the inner rooms,' don't believe it. “Noolwekyo omuntu bw’abagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge eby’omunda, temukkirizanga.
27 For just as lightning flashes from the east and shows as far as the west, so will the Son of Man's coming be. Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kw’eraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, n’okujja kw’Omwana w’Omuntu bwe kutyo.
28 Wherever there is a carcass, there the vultures will gather. Era mukimanyi nti awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.”
29 Right after the suffering of those days, the sun will go dark, the moon will give no light, stars will fall from the sky, and the powers of the heavens will shake. “Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa “kw’omu nnaku ezo kuwedde, ‘enjuba eriggyako ekizikiza era n’omwezi teguliyaka, n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”
30 Then the sign of the Son of Man will appear in heaven, and all earth's peoples will mourn, seeing the Son of Man come on heaven's clouds with power and great glory. “Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene.
31 He will send out his angels with a loud trumpet blast, and they will gather his chosen from the four winds, from one end of the sky to the other. Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.”
32 Learn this from the fig tree: as soon as its branch softens and leafs out, you know summer is near. “Kale muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka.
33 So also, when you see all these things, know it is near, at the door. Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo byonna, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi.
34 Truly I tell you, this generation will certainly not pass away until all these things have happened. Ddala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde.
35 Heaven and earth will pass away, but my words will never pass away. Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”
36 "No one knows that day or hour—not the angels in heaven, not the Son—only the Father. “Naye eby’olunaku olwo wadde essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika ab’omu ggulu nabo tebakimanyi, wadde Omwana, okuggyako Kitaffe yekka.
37 As in Noah's days, so will be the Son of Man's coming. Kubanga nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, okujja kw’Omwana w’Omuntu nakwo bwe kuliba.
38 For in the days before the flood, people ate and drank, married and gave in marriage, until the day Noah entered the ark; Nga bwe kyali mu biseera by’amataba, abantu nga balya nga banywa, nga bawasa n’abalala nga bafumbirwa, olunaku ne lutuuka Nuuwa n’ayingira mu lyato,
39 and they knew nothing until the flood came and swept them all away. That is how the coming of the Son of Man will be. abantu ne batamanya, amataba ne gajja ne gabasaanyaawo ne buli kintu, bwe kutyo n’okudda kw’Omwana w’Omuntu bwe kulibeera.
40 Two men will be in the field; one will be taken and the other left. Mu biseera ebyo abasajja babiri baliba bakola mu nnimiro, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa.
41 Two women will be grinding with a hand mill; one will be taken and the other left. Abakazi babiri baliba basa ku mmengo zaabwe mu nnyumba y’emu, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa.”
42 Therefore keep watch, because you do not know on what day your Lord will come. “Noolwekyo mubeere beetegefu, kubanga olunaku Mukama wammwe lw’aliddirako temulumanyi.
43 Understand: had the homeowner known what watch of night the thief was coming, he'd have watched and kept his house from being broken into. Naye mutegeere kino: ssinga ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, yandisigadde ng’atunula, n’ataganya mubbi kumuyingirira.
44 So you too must be ready, because the Son of Man comes at an hour you don't expect. Noolwekyo nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana w’omuntu alijjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”
45 Who then is the faithful and wise servant, whom the master put in charge of his household to give them food at the right time? “Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu?
46 It will be good for that servant whose master finds him doing so when he returns. Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo.
47 Truly I tell you, he will put him in charge of all his possessions. Ddala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebintu bye byonna.
48 But suppose that wicked servant says to himself, 'My master is staying away a long time,' Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’
49 and then begins to beat his fellow servants and to eat and drink with drunkards. n’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda.
50 That servant's master will come on a day he doesn't expect, at an hour he doesn't know. Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi,
51 He will cut him to pieces and place him with the hypocrites, where people weep and grind their teeth." alimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]