Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 23 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then Jesus spoke to the crowds and to his disciples, Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’abayigirizwa be ng’agamba nti,
2 saying, "The scribes and the Pharisees sit on Moses' seat. “Abawandiisi n’Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa.
3 "So do and keep whatever they tell you, but not what they do—they preach, but don't do. Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba.
4 They tie up heavy, hard-to-carry loads and put them on people's shoulders, but they themselves won't lift a finger to move them. Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe.
5 They do everything to be seen by others; they widen their phylacteries and lengthen their tassels, “Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba.
6 and they love the place of honor at feasts and the best seats in the synagogues, Baagala nnyo ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro.
7 and greetings in the marketplaces and being called 'Rabbi' by others. Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’
8 You must not be called 'Rabbi,' since you have only one teacher, and you're all brothers. “Temweyitanga ‘Labbi ,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda.
9 And call no one on earth your father, for you have one Father, who is in heaven. Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo.
10 Don't let anyone call you 'instructor,' for you have one instructor, the Christ. Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo.
11 The greatest among you will be your servant. Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe.
12 Whoever raises himself will be humbled; whoever humbles himself will be raised. Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.
13 Woe to you, scribes and Pharisees, hypocrites! For you shut the kingdom of our Father before people, neither entering yourselves nor letting in those trying to enter. “Zibasanze mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo. Bannanfuusi mmwe! Muziyiza abantu abalala okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, ate nammwe ne mutayingira.
14 Not in this edition “Bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulowoozesa abantu nti muli batuukirivu nga musaba essaala, so ng’ate mwekyusa ne mugobaganya bannamwandu mu mayumba gaabwe.
15 Woe to you, scribes and Pharisees, hypocrites! For you cross sea and land to make one convert, then make him twice the child of hell you are. Zibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bw’akyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri.
16 Woe to you, blind guides! You say, 'Swearing by the temple means nothing, but swearing by the temple's gold makes the oath binding.' “Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso abagamba nti, ‘Okulayira Yeekaalu, si nsonga, naye oyo alayira zaabu ali mu Yeekaalu, asaana okukituukiriza!’
17 Blind fools! Which is greater: the gold, or the temple that makes the gold sacred? Mmwe abatalina magezi abazibe b’amaaso! Ku ebyo byombi kiruwa ekisingako obukulu, zaabu oba Yeekaalu efuula zaabu okuba entukuvu?
18 And you say, 'Swearing by the altar is nothing, but swearing by its gift is binding.' Ate mugamba nti, ‘Omuntu okulayira ekyoto, kirina amakulu, naye bw’alayira ebirabo ebireeteddwa ku kyoto, asaana okukituukiriza!’
19 You blind men! For which is greater, the gift or the altar that makes the gift sacred? Mmwe abazibe b’amaaso, ku byombi kiruwa ekisinga kinnaakyo obukulu, ekirabo ekiri ku kyoto oba ekyoto kyennyini ekifuula ekirabo ekyo okuba ekitukuvu?
20 So whoever swears by the altar swears by it and by everything on it. Bwe mulayira ekyoto, muba mulayira ekyoto n’ebikiriko byonna,
21 And whoever swears by the temple swears by it and by him who lives in it. era bwe mulayira Yeekaalu muba mulayira Yeekaalu ne Katonda agibeeramu.
22 And whoever swears by heaven swears by our Father's throne and by him who sits on it. Era bwe mulayira eggulu, muba mulayira n’entebe ya Katonda ey’obwakabaka n’oyo yennyini agituulako.
23 Woe to you, scribes and Pharisees, hypocrites! You bring the tenth of mint, dill, and cumin, yet neglect the law's weightier matters—justice, mercy, faithfulness. These you should have done, without neglecting the others. “Zibasanze, mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kintu, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, okutuukira ddala ne ku kalagala akasinga obutono, naye ne mulagajjalira ebintu ebisinga obukulu eby’amateeka, ng’obwenkanya, n’okusaasira n’okukkiriza. Weewaawo musaanidde okuwaayo ekitundu eky’ekkumi, naye ebintu ebirala ebisinga obukulu temusaanidde kubiragajjalira.
24 You blind guides, straining out a gnat and swallowing a camel! Mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira!
25 Woe to you, scribes and Pharisees, hypocrites! You clean the cup and dish outside, but inside they're full of greed and excess. “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kw’ekikopo ne kungulu kw’ebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu n’okwefaako mwekka.
26 Blind Pharisee! First clean the inside of cup and dish, so the outside is clean too. Mmwe Abafalisaayo abazibe b’amaaso! Musooke mulongoose munda w’ekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu.
27 Woe to you, scribes and Pharisees, hypocrites! You are like whitewashed tombs, appearing beautiful outside but full of dead people's bones and all impurity inside. “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulabika ng’amalaalo agatemagana kungulu, songa munda gajjudde amagumba g’abafu n’obuvundu obwa buli ngeri.
28 So you also outwardly appear righteous to others, but inside you are full of hypocrisy and lawlessness. Mulabika ng’abantu abatuukirivu kungulu, songa munda mujjudde obunnanfuusi n’obumenyi bw’amateeka.
29 Woe to you, scribes and Pharisees, hypocrites! For you build tombs of the prophets and decorate the monuments of the righteous, “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, ne mutimba ebijjukizo, by’abatuukirivu,
30 saying, 'Had we lived in our fathers' days, we would not have joined them in killing the prophets.' ne mulyoka mugamba nti, ‘Naye ddala singa twaliwo mu biseera bya bajjajjaffe tetwandisizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gw’abannabbi.’
31 So you testify against yourselves that you are the sons of those who murdered the prophets. Bwe mwogera mutyo muba mwessaako omusango nga bwe muli abaana b’abo abatta bannabbi.
32 Fill up, then, the measure of your fathers. Mugenda nga mutuukiriza ebyo bajjajjammwe bye bataamaliriza.
33 You serpents, you brood of vipers, how are you to escape being sentenced to hell? “Mmwe emisota! Abaana b’embalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena?
34 So I am sending you prophets, wise men, and scribes—some you will kill and crucify, some you will flog in your synagogues and persecute from town to town, Kyenva mbaweereza bannabbi, n’abasajja ab’amagezi, n’abawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, n’abalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe.
35 so that all righteous blood shed on earth may come upon you—from righteous Abel's blood to Zechariah son of Berekiah's, whom you murdered between the sanctuary and the altar. Bwe mutyo omusango gw’okutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu n’ekyoto, ne gubasingira ddala.
36 Truly, I say to you, all these things will come upon this generation. Ddala ddala mbagamba nti ebyo byonna birituuka ku mulembe guno.
37 Jerusalem, Jerusalem—killing the prophets, stoning those sent to you! How often I wanted to gather your children, as a hen gathers her chicks under her wings, but you refused. “Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana.
38 Look, your house is left to you desolate. Laba kaakano ennyumba yo esigalidde awo, kifulukwa.
39 I tell you, you won't see me again till you say, 'Blessed is the one coming in our Father's name.'" Kubanga nkugamba nti toliddayo kundaba nate, okutuusa ng’oyogedde nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]