Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 22 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jesus spoke to them again in parables, saying: Yesu n’addamu n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti,
2 "The kingdom of our Father is like a king who prepared a wedding feast for his son. “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga ey’obugole.
3 He sent his servants to summon the invited guests to the wedding feast, but they refused to come. N’atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga, ne batayagala kujja.
4 Again he sent other servants, saying, 'Tell those invited: Look, I have prepared my dinner; my oxen and fattened cattle are killed, everything ready. Come to the wedding feast.' “Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’
5 But they paid no attention and went off, one to his farm, another to his business, “Naye ne batassaayo mwoyo, omu n’alaga mu nnimiro ye, omulala n’alaga mu bya busuubuzi bye.
6 while the rest seized his servants, mistreated them, and killed them. Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta.
7 The king was enraged, and he sent his troops, destroyed those murderers, and burned their city. Awo Kabaka n’asunguwala, n’ayungula ekibinja ky’abaserikale n’azikiriza abatemu abo, n’ayokya ekibuga kyabwe.
8 Then he told his servants, 'The wedding is ready, but those invited weren't worthy. “Awo kabaka n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira.
9 Go therefore to the main roads and invite to the wedding feast as many as you find.' Noolwekyo mugende mu nguudo z’omu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’
10 Those servants went out into the roads and gathered everyone they found, bad and good, and the wedding hall filled with guests. Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi n’abalungi, ekisenge ky’embaga ne kijjula abagenyi.
11 "But when the king came in to see the guests, he saw a man not dressed in wedding clothes. “Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga.
12 He asked, 'Friend, how did you get in here without wedding clothes?' He was speechless. Kabaka n’amubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina ky’addamu.
13 Then the king told the servants, 'Tie his hands and feet, and throw him into the outer darkness, where there will be weeping and grinding of teeth.' “Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’
14 For many are called, but few are chosen." “Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”
15 Then the Pharisees went and plotted how to trap him with his own words. Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo.
16 They sent their disciples to him, with the Herodians, saying, "Teacher, we know you are truthful and truly teach God's way; you defer to no one, since you don't judge people by rank. Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu.
17 Tell us, then, what you think: Is it lawful to pay taxes to Caesar, or not?" Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”
18 But Jesus, knowing their malice, said, "Why are you testing me, you hypocrites? Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa?
19 Show me the coin used for the tax." And they brought him a denarius. Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali.
20 And he said to them, "Whose image is this, and whose inscription?" N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?”
21 They said, "Caesar's." Then he said to them, "So pay Caesar what belongs to Caesar, and our Father what belongs to our Father." Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”
22 When they heard it, they were amazed; and they left him and went away. Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda.
23 That same day Sadducees came to him, who say there is no resurrection, and they asked him, Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti,
24 saying, "Teacher, Moses said: if a man dies childless, his brother must marry the widow and raise offspring for his brother. “Omuyigiriza Musa yagamba nti, ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’
25 Now there were seven brothers among us. The first married, died, and, childless, left his wife to his brother. Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda ow’olubereberye n’awasa, kyokka n’afa nga tazadde mwana, bw’atyo mukazi we n’afumbirwa muganda we.
26 So too the second and the third, down to the seventh. Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w’omusanvu.
27 Last of all, the woman died. Oluvannyuma n’omukazi oyo naye n’afa.
28 In the resurrection, then, whose wife of the seven will she be? For they all had her." Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.”
29 Jesus answered, "You're mistaken—you know neither the Scriptures nor our Father's power. Naye Yesu n’abagamba nti, “Olw’obutamanya byawandiikibwa n’obutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama.
30 For in the resurrection people neither marry nor are married off, but are like angels in heaven. Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu.
31 Now, about the resurrection of the dead, haven't you read what our Father told you: Naye ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ng’agamba nti,
32 'I'm the God of Abraham, of Isaac, and of Jacob'? He's not God of the dead, but of the living." ‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.”
33 And when the crowds heard it, they were astonished at his teaching. Ebibiina ne biwuniikirira bwe baawulira okuyigiriza kwe.
34 But when the Pharisees heard that he had silenced the Sadducees, they gathered together. Abafalisaayo bwe baawulira nga Yesu Abasaddukaayo abamazeeko eby’okwogera, ne bakuŋŋaana.
35 And one of them, an expert in the Law, asked him a question to test him: Omu ku bo eyali munnamateeka n’amubuuza ekibuuzo ng’amugezesa nti,
36 "Teacher, which is the great commandment in the Law?" “Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka.”
37 He said to him, "Love your Father with all your heart, with all your soul, and with all your mind. Yesu n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’
38 This is the great and first commandment. Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu.
39 And a second is like it: You will love your neighbor as yourself. N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’
40 On these two commandments depend all the Law and the Prophets." Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”
41 Now while the Pharisees were gathered together, Jesus asked them, Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu n’ababuuza nti,
42 "What do you think about the Christ? Whose son is he?" They said to him, "David's." “Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.”
43 He asked them, "How then does David, by the Holy Spirit, call him Lord, saying, Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ng’ajjudde Omwoyo bw’ayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we’, ng’agamba nti,
44 'Our Father said to my Lord, "Sit at my right hand, until I put your enemies under your feet"'? “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi w’ebigere byo?” ’
45 If then David calls the Christ Lord, how can the Christ be David's son?" Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?”
46 No one could answer him a word, and from that day no one dared ask him anything else. Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]