Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 As they neared Jerusalem and reached Bethphage, at the Mount of Olives, Jesus sent two disciples ahead, Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali basemberera Yerusaalemi nga batuuse kumpi n’ekibuga Besufaage ku lusozi lwa Zeyituuni, Yesu n’atuma babiri ku bayigirizwa be.
2 telling them, "Go to the village ahead of you. You'll at once find a donkey tied, with a colt beside her. Untie them and bring them to me. N’abagamba nti, “Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa awo wamu n’omwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano.
3 If anyone says anything to you, say, 'The Lord needs them,' and the Lord will send them at once." Naye omuntu yenna bw’anaabaako ky’abagamba, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’azeetaaga,’ amangwago ajja kuziweereza.”
4 This took place to fulfill what the prophet had said: Kino kyabaawo okutuukiriza ebigambo nnabbi bye yayogera nti,
5 "Say to the daughter of Zion, 'Look, your king is coming to you, humble and mounted on a donkey, on a colt, the foal of a beast of burden.'" “Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti, ‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli nga muwombeefu, nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.’ ”
6 The disciples went and did as Jesus had directed them. Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira.
7 They brought the donkey and colt, put their cloaks on the animals, and Jesus sat on the cloaks. Ne baleeta endogoyi n’omwana gwayo, ne baaliirako eminagiro gyabwe ku ndogoyi, n’agyebagala.
8 Most of the crowd spread their cloaks on the road; others cut branches from the trees and spread them on the road. Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo n’abalala ne batema amatabi g’emiti ne bagaalira mu luguudo.
9 The crowds ahead of him and behind him kept shouting, "Hosanna to the Son of David! Blessed is he who comes in the name of our Father! Hosanna in the highest!" Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” “Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.” “Ozaana waggulu ennyo!”
10 And when he entered Jerusalem, the whole city was stirred, asking, "Who is this?" Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi, ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, “Ono ye ani?”
11 And the crowds said, "This is the prophet Jesus, from Nazareth of Galilee." Abaali mu kibiina ne baddamu nti, “Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.”
12 Then Jesus entered the temple, drove out all selling and buying there, overturned the money-changers' tables and the dove sellers' seats. Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba.
13 He told them, "It is written: 'My house will be called a house of prayer,' but you're making it a den of robbers." N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’”
14 And the blind and the lame came to him in the temple, and he healed them. Awo abazibe b’amaaso n’abalema ne bajja gy’ali mu Yeekaalu n’abawonya.
15 When the chief priests and teachers of the law saw the wonders he did, and the children shouting in the temple, "Hosanna to the Son of David!" they grew angry, Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baalaba eby’ekitalo bye yakola, n’abaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga.
16 and said to him, "Do you hear what these say?" Jesus said to them, "Yes. Have you never read, 'Out of the mouths of infants and nursing babies you have prepared praise'?" Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?” Yesu n’abaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti, “ ‘Abaana abato n’abawere abayonka balimutendereza!’ ”
17 He left them, went out of the city to Bethany, and spent the night there. N’abaviira, n’afuluma mu kibuga n’agenda e Besaniya, n’asula eyo.
18 Early in the morning, as he returned to the city, he was hungry. Awo enkeera bwe yali ng’addayo mu kibuga n’alumwa enjala,
19 Seeing a fig tree by the road, he went to it but found only leaves. He said, "May you never bear fruit again!" At once the tree withered. n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka.
20 Seeing this, the disciples were amazed and asked, "How did the fig tree wither so fast?" Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?”
21 Jesus answered, "I tell you the truth: with faith, no doubting, you'll not only do what happened to the fig tree—you'll even tell this mountain, 'Be lifted up and thrown into the sea,' and it will happen. Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo.
22 And whatever you ask in prayer, if you believe, you will receive it." Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”
23 Entering the temple, he was teaching when the chief priests and elders of the people came and asked, "What authority do you have for these things, and who gave you this authority?" Awo Yesu bwe yakomawo mu Yeekaalu bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza ebyo, era ani yakuwa obuyinza obwo?”
24 Jesus replied, "I'll ask you one thing too. Tell me the answer, and I'll say by what authority I do these things. Yesu n’addamu nti, “Mumale okunziramu ekibuuzo kyange kino, nange ndyoke mbabuulire obuyinza bwe nkozesa bino.
25 John's baptism—where was it from? From heaven, or from man?" They discussed among themselves, "If we say, 'From heaven,' he will say to us, 'Then why did you not believe him?' Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?” Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, “Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’
26 But if we say, 'From man,' we fear the crowd—they all view John as a prophet." Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi.”
27 They answered Jesus, "We don't know." He said, "Neither will I tell you by what authority I do these things." Bwe batyo ne baddamu nti, “Tetumanyi!” Yesu kwe kubaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino.”
28 "But what do you think? A man had two sons. Coming to the first, he said, 'Son, go work today in the vineyard.' “Kale mulowooza mutya ku kino? Waaliwo omusajja eyalina abaana be babiri, n’agamba omubereberye nti, ‘Genda okole mu nnimiro y’emizabbibu leero.’
29 And he answered, 'I will not,' but later he changed his mind and went. “Omulenzi n’addamu nti, ‘ŋŋaanyi,’ naye oluvannyuma ne yeerowooza n’agenda.
30 He went to the second and said the same. This one answered, 'I'll go, sir'—but didn't go. “Ate kitaabwe n’agenda eri omulala n’amugamba ekintu kye kimu. Naye ye n’addamu nti, ‘Nnaagenda mukama wange.’ Naye n’atagenda.
31 Which of the two did his father's will?" They said, "The first." Jesus told them, "Truly I tell you, tax collectors and prostitutes enter the kingdom of our Father ahead of you." “Kale, ku bombi aliwa eyagondera kitaawe?” Ne bamuddamu nti, “Omulenzi ow’olubereberye.” Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, abasolooza b’omusolo ne bamalaaya balibasooka okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
32 "For John came to you in the way of righteousness, and you didn't believe him, but tax collectors and prostitutes did. Even after seeing that, you didn't change your minds and believe him." Kubanga Yokaana yajja ng’abuulira ekkubo ery’obutuukirivu naye ne mutamukkiriza. Wabula abasolooza b’omusolo ne bamalaaya baamukkiriza, newaakubadde nga mwakiraba, oluvannyuma temwenenya kumukkiririzaamu.”
33 "Hear another parable: A landowner planted a vineyard, put a fence around it, dug a winepress in it, built a watchtower, leased it to tenants, and went away on a trip. “Muwulirize olugero olulala. Waaliwo omusajja ssemaka eyalina emizabbibu, n’agyetoolooza olukomera, n’asimamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo.
34 When the harvest time drew near, he sent his servants to the tenants to collect his fruit. Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma abaddu be eri abalimi banone ebibala byamu.
35 But the tenants seized his servants—they beat one, killed another, and stoned another. “Naye abalimi ne badda ku baddu be, omu ne bamukuba, n’omulala ne bamutta, n’omulala ne bamukasuukirira amayinja.
36 Again he sent other servants, more than the first, and they treated them the same way. Ate n’abatumira abaddu abalala nga bangiko okusinga abaasooka, era nabo ne babayisa mu ngeri y’emu nga bali abaasooka.
37 Finally he sent his son to them, saying, 'They will respect my son.' Oluvannyuma n’abatumira mutabani we, ng’alowooza nti, ‘Bajja kumussaamu ekitiibwa.’
38 But the tenants, seeing the son, said to each other, 'This is the heir; come, let's kill him and seize his inheritance.' “Naye abalimi bwe baalaba omwana ng’ajja ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusika, ka tumutte, ebyobusika bwe biriba byaffe!’
39 So they seized him, threw him out of the vineyard, and killed him. Bwe batyo ne bamufulumya ebweru w’ennimiro y’emizabbibu ne bamutta.
40 Now when the owner of the vineyard comes, what will he do to those tenants?" Kale nannyini nnimiro y’emizabbibu bw’alikomawo alibakola atya?”
41 They answered, "He will destroy those evil men horribly, and lease the vineyard to other farmers who will give him the fruit in season." Ne bamuddamu nti, “Abantu abo ababi bwe batyo alibazikiririza ddala, ennimiro y’emizabbibu n’agipangisa abalimi abalala abanaamuwanga ebibala mu ntuuko zaabyo.”
42 Jesus said to them, "Have you never read in the Scriptures: 'The stone the builders rejected became the cornerstone; this came from our Father, and it's marvelous in our eyes'?" Awo Yesu n’ababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti, “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. Kino kyava eri Mukama era kya kyewuunyo.’
43 "So I tell you: the kingdom of our Father will be taken from you and given to a nation that produces its fruits. “Kyenva mbagamba nti, Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.
44 Whoever falls on this stone will be shattered; whoever it falls on will be crushed." Oyo alyesitala n’agwa ku jjinja eryo, alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”
45 When the chief priests and the Pharisees heard his parables, they realized he was speaking about them. Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo bwe baabiwulira ne bategeera nga Yesu bo b’ayogerako.
46 They wanted to arrest him but feared the crowds, who considered him a prophet. Ne baagala bamukwate, naye ne batya ekibiina, kubanga abantu Yesu baamukkiriza, nga nnabbi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]