Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "For the kingdom of our Father is like a landowner who went out at dawn to hire workers for his vineyard. Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omuntu ssemaka, eyakeera mu makya n’apangisa abakozi okukola mu nnimiro ye ey’emizabbibu.
2 He agreed to pay the workers a full day's wage and sent them into his vineyard. N’alagaana n’abapakasi okubasasula omuwendo eddinaali emu emu, ze zaali ensimbi ez’olunaku olumu. N’abasindika mu nnimiro ye ey’emizabbibu.
3 About nine o'clock in the morning he went out and saw others standing idle in the marketplace. “Bwe waayitawo essaawa nga bbiri n’asanga abalala nga bayimiridde mu katale nga tebalina kye bakola,
4 He told them, 'You too, go into the vineyard; I'll pay you whatever's right.' So they went. nabo n’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mu nnimiro y’emizabbibu, era nnaabasasula empeera ebasaanira.’
5 Going out again about noon and about three in the afternoon, he did the same. Ne bagenda. “Ku ssaawa omukaaga ne ku mwenda n’asindikayo abalala mu ngeri y’emu.
6 About five in the afternoon, he went out and found others standing there. He asked, 'Why have you stood here idle all day?'" Essaawa nga ziweze nga kkumi n’emu n’asanga abalala nga bayimiridde awo, n’ababuuza nti, ‘Lwaki muyimiridde awo olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’
7 "They said, 'Because no one hired us.' He said, 'You also go into the vineyard.' “Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tetufunye atuwa mulimu.’ N’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey’emizabbibu.’
8 "When evening came, the vineyard owner told his foreman, 'Call the workers and pay them their wages, from the last to the first.' “Awo obudde nga buwungeera nannyini nnimiro n’alagira nampala ayite abakozi abawe empeera yaabwe ng’asookera ku b’oluvannyuma.
9 And when those hired about five o'clock came, each of them received a full day's wage. “Abaatandika ku ssaawa ekkumi n’emu ne baweebwa eddinaali emu emu.
10 When the first came, they thought they would get more, but each got a full day's wage too. Bali abaasookayo bwe bajja ne basuubira nti bo ze banaasasulwa zijja kusingako obungi. Naye nabo yabasasula omuwendo gwe gumu ogw’olunaku olumu nga bali.
11 And on receiving it they grumbled at the landowner, Bwe baagifuna ne beemulugunyiza nannyini nnimiro
12 saying, 'These last worked only one hour, yet you made them equal to us, who bore the day's burden and the scorching heat.' nga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gw’omu tuntu?’
13 "He answered one of them, 'Friend, I'm not wronging you. Didn't you agree with me for a full day's wage?' “Mukama waabwe kwe kuddamu omu ku bo nti, ‘Munnange si kubbye; bwe wabadde otandika okukola tetwalagaanye eddinaali emu?
14 Take what's yours and go. I want to give this last worker the same as you. Twala eddinaali yo ogende. Naye njagala n’ono asembyeyo okumuwa empeera y’emu nga gye nkuwadde.
15 Can't I do what I want with what's mine? Or are you jealous because I'm generous? Siyinza kukozesa byange nga bwe njagala? Obuggya bukukutte kubanga ndi wa kisa?’
16 So the last will be first, and the first last." “Kale nno bwe kityo bwe kiriba abooluvannyuma ne baba aboolubereberye, n’aboolubereberye ne baba abooluvannyuma.”
17 As Jesus was going up to Jerusalem, he took the twelve aside and said to them on the way, Awo Yesu bwe yali ayambuka e Yerusaalemi n’atwala abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, mu kyama. Bwe baali mu kkubo, n’abagamba nti,
18 "See, we are going up to Jerusalem, and the Son of Man will be given over to the chief priests and scribes, who will condemn him to death, “Laba twambuka e Yerusaalemi, Omwana w’Omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, bamusalire omusango ogw’okufa.
19 and hand him over to the Gentiles to mock and flog and crucify—and on the third day he will be raised." Era balimuwaayo eri Abamawanga ne bamuduulira ne bamukuba, era balimukomerera ku musaalaba. Naye ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”
20 Then Zebedee's sons' mother came to him with her sons, kneeling to ask something of him. Awo nnyina w’abaana ba Zebbedaayo, n’ajja eri Yesu ne batabani be bombi, n’amusinza ng’ayagala okubaako ky’amusaba.
21 He asked her, "What do you want?" She said, "Say my two sons will sit one at your right, one at your left, in your kingdom." Yesu n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” N’addamu nti, “Nsaba, mu bwakabaka bwo, abaana bange bano bombi batuule naawe omu ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono.”
22 But Jesus replied, "You don't know what you're asking. Can you drink the cup I am about to drink?" "We can," they said. Naye Yesu n’amuddamu nti, “Tomanyi ky’osaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne baddamu nti, “Tuyinza.”
23 He said, "You will drink my cup, but seating at my right and left is not mine to give—it belongs to those my Father has prepared it for." N’abagamba nti, “Weewaawo ekikompe mugenda kukinywako. Naye eky’okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono nze sikirinaako buyinza. Ebifo ebyo byategekebwa dda Kitange.”
24 When the ten heard this, they were angry at the two brothers. Abayigirizwa bali ekkumi bwe baawulira ebyo abooluganda ababiri bye baasaba, ne babanyiigira nnyo.
25 Jesus called them over and said, "You know the rulers of the Gentiles lord it over them, and their powerful men hold authority over them. Yesu kwe kubayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga babazitoowereza embeera, n’abakulu baabwe babafuza lyanyi.
26 Not so among you. Rather, whoever wants to be great among you must be your servant, Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne.
27 and whoever wants to be first among you must be your slave, Na buli ayagala okuba omwami mu mmwe aweerezenga banne ng’omuddu waabwe.
28 just as the Son of Man came not to be served but to serve, and to give his life as a ransom for many." Mube nga Omwana w’Omuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”
29 And as they went out of Jericho, a great crowd followed him. Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bava mu kibuga Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera.
30 Two blind men sitting by the road heard Jesus was passing and cried out, "Lord, have mercy on us, Son of David!" Abazibe b’amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g’ekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, otusaasire!”
31 The crowd scolded them to be quiet, but they shouted louder, "Have mercy on us, Lord, Son of David!" Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire.”
32 And stopping, Jesus called them and said, "What do you want me to do for you?" Yesu bwe yabatuukako n’ayimirira n’ababuuza nti, “Mwagala mbakolere ki?”
33 They said to him, "Lord, let our eyes be opened." Ne bamuddamu nti, “Mukama waffe, twagala otuzibule amaaso.”
34 And Jesus, moved with compassion, touched their eyes, and immediately they recovered their sight and followed him. Yesu n’abasaasira n’akwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]