Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 19 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Jesus finished these words, he left Galilee and went into the region of Judea, across the Jordan. Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n’ava e Ggaliraaya n’ajja mu bitundu bya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani.
2 Large crowds followed him, and he healed them there. Ekibiina kinene ne bamugoberera era n’awonya abalwadde baabwe.
3 Pharisees came to test him, asking, "Is it lawful for a man to divorce his wife for any cause?" Abafalisaayo ne bajja gy’ali bamugezese nga bagamba nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we olw’ensonga n’emu?”
4 He answered, "Haven't you read that our Father, who made them at the beginning, made them male and female, Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga nti, ‘Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja n’omukazi,’
5 and said, 'So a man will leave his father and mother and cling to his wife, and the two will become one flesh'? era nti, ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu,
6 So they are no longer two but one flesh; therefore, let no one separate what our Father has joined." nga tebakyali babiri naye omuntu omu.’ Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”
7 They said to him, "Why then did Moses command that a man give a divorce certificate and send her away?" Ne bamubuuza nti, “Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja bw’abanga agoba mukazi we amuwenga ebbaluwa ey’okumugoba?”
8 He told them, "Moses let you divorce your wives because your hearts were hard, but it wasn't like that from the beginning. Yesu n’abaddamu nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe, naye nga okuva olubereberye tekyali bwe kityo.
9 I tell you: whoever divorces his wife—except for sexual sin—and marries another commits adultery." Era mbagamba nti omuntu yenna anaagobanga mukazi we okuggyako olw’obwenzi, n’amala awasa omulala, anaabanga ayenze, n’oyo anaawasanga oyo agobeddwa anaabanga ayenze.”
10 The disciples said to him, "If that's the case between husband and wife, it's better not to marry." Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Obanga bwe biri bwe bityo, ekisingako obulungi bwe butawasiza ddala!”
11 He said to them, "Not everyone can accept this word—only those it's given to. Yesu n’abaddamu nti, “Abantu bonna tebayinza kutegeera kigambo kino okuggyako abo Katonda b’akiwa.
12 There are eunuchs born that way from their mother's womb; there are eunuchs made that way by others; and there are eunuchs who made themselves so for the kingdom of our Father. Let the one who can accept this, accept it." Kubanga abamu bazaalibwa nga tebasobola kuwasa abalala balaayibwa bantu bannaabwe ate abalala bagaana okuwasa ne beewaayo okukola omulimu ogw’obwakabaka obw’omu ggulu. Buli asobola okutegeera kino akitegeere.”
13 Then little children were brought to him so he could lay hands on them and pray, but the disciples rebuked those bringing them. Yesu ne bamuleetera abaana abato abasseeko emikono gye abawe n’omukisa. Naye abayigirizwa ne bajunga abaabaleeta.
14 But Jesus said, "Let the little children come to me—don't stop them, for the kingdom of our Father belongs to ones like these." Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu.”
15 And he laid his hands on them and went on from there. N’abassaako emikono n’abawa omukisa n’alyoka avaayo.
16 Just then a man approached him and asked, "Teacher, what good must I do to obtain eternal life?" Awo omuntu omu n’amusemberera n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?”
17 He said to him, "Why ask me about what is good? Only one is good. If you want to enter life, keep the commandments." Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bw’obanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka.”
18 "Which ones?" he asked. Jesus said, "Do not murder, do not commit adultery, do not steal, do not testify falsely, N’amuddamu nti, “Ge galuwa?” Yesu n’amugamba nti, “ ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga,
19 honor your father and mother, and love your neighbor as yourself." ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ ”
20 The young man said to him, "All these I have kept. What do I still lack?" Omuvubuka oyo n’amuddamu nti, “Ebyo byonna nabikwata dda, ate kiki ekimpeebuuseeko?”
21 Jesus told him, "If you want to be complete, go, sell your possessions and give to the poor—you'll have treasure in heaven—then come, follow me." Yesu n’amugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
22 When the young man heard this, he went away grieving, because he had great wealth. Naye omuvubuka bwe yawulira ebyo n’agenda ng’anakuwadde kubanga yali mugagga.
23 Jesus said to his disciples, "Truly, I tell you: a rich person will hardly enter our Father's kingdom. Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ddala ddala mbagamba nti, kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu.
24 I tell you again: a camel fits through the eye of a needle easier than a rich person enters our Father's kingdom." Era mbategeeza nti kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”
25 When the disciples heard this, they were greatly astonished and asked, "Who then can be saved?" Ebigambo ebyo abayigirizwa be ne bibeewuunyisa nnyo, n’okugamba ne bagamba nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”
26 Jesus looked at them and said, "This is impossible for people, but everything is possible with our Father." Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna.”
27 Then Peter said to him, "Look, we've left everything and followed you. What then will we have?" Awo Peetero n’abuuza Yesu nti, “Ffe twaleka byonna ne tukugoberera. Kale ffe tulifuna ki?”
28 Jesus told them, "Truly: in the renewal, when the Son of Man sits on his glorious throne, you who followed me will also sit on twelve thrones, judging the twelve tribes of Israel. Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana w’Omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi n’ebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.
29 "Everyone who has left houses or brothers or sisters or father or mother or children or fields for my name will receive one hundred times more and inherit eternal life. Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olw’erinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.
30 But many who are first will be last, and many who are last will be first." Bangi aboolubereberye, abaliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma ne baba aboolubereberye.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]