Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 At that time the disciples came to Jesus, asking, "Who, then, is greatest in the kingdom of our Father?" Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?”
2 Calling a little child to him, he placed the child among them, Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe.
3 and said, "I tell you truly: unless you turn and become like little children, you'll never enter our Father's kingdom. N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu.
4 Whoever therefore humbles himself like this little child is the greatest in the kingdom of our Father. Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.
5 And whoever welcomes one such little child in my name welcomes me." “Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze.
6 "But whoever trips up one of these little ones who believe in me—better to hang a heavy millstone on his neck and drown him in the depths of the sea." Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”
7 "Disaster for the world because of things that cause stumbling! They must come, but disaster for whoever brings them. “Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta.
8 If your hand or foot makes you stumble, cut it off, throw it away. Better to enter life crippled or lame than keep both hands or both feet and be thrown into the eternal fire." Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri.
9 If your eye trips you up, tear it out and throw it away. Better to enter life with one eye than to keep both and be thrown into hell's fire. Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.”
10 "See that you don't look down on one of these little ones. I tell you, their angels in heaven always see my Father's face in heaven." “Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
11 Not in this edition Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula.
12 "What do you think? If a man has one hundred sheep and one wanders off, won't he leave the ninety-nine on the hills and go look for the one that wandered? “Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze?
13 If he finds it, I assure you: he rejoices over it more than over the ninety-nine that never strayed. Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze.
14 So it is not your Father in heaven's will that one of these little ones perish.' Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.”
15 "If your brother sins against you, go, show him his fault—you and he alone. If he listens, you've won your brother over. “Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo.
16 But if he won't listen, bring one or two more with you, so every matter stands by the mouth of two or three witnesses. Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo.
17 If he won't listen to them, tell the church. If he won't listen to the church either, treat him like an outsider or a tax collector. Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo.
18 Truly I tell you, whatever you bind on earth will be bound in heaven, and whatever you loose on earth, loosed in heaven. “Ddala ddala mbagamba nti byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.
19 Again, truly I tell you: if two of you on earth agree about anything they ask, my Father in heaven will do it for them. “Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera.
20 For where two or three are gathered together in my name, there I am among them." Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”
21 Then Peter came to Jesus: "Lord, how many times must I forgive my brother who sins against me? Up to seven times?" Awo Peetero n’ajja n’abuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bw’ansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?”
22 Jesus answered, "I tell you, not seven times, but seventy-seven times. Yesu n’amuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”
23 So the kingdom of our Father is like a king who wanted to settle accounts with his servants. Awo Yesu n’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye eby’ensimbi, n’abaddu be.
24 When he began settling accounts, a man owing a fortune was brought to him. Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gw’abanja ettalanta omutwalo gumu.
25 Since he could not pay, his master ordered him and his wife, children, and all he had sold, and the debt repaid." Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe.
26 So the servant knelt before him, pleading, "Be patient with me, and I will repay everything. “Naye omuddu oyo n’agwa wansi mu maaso ga mukama we, n’amwegayirira nti, ‘Ngumiikiriza, nzija kukusasula ebbanja lyonna.’
27 The master of that servant, his heart moved with compassion, released him and forgave him the debt." “Mukama we n’asaasira omuddu oyo n’amusonyiwa ebbanja lyonna!
28 "That servant then went out, found a fellow servant who owed him one hundred days' wages, grabbed him, and began choking him: 'Pay back what you owe me!'" “Omuddu oyo bwe yafuluma n’asanga munne gwe yali abanja eddinaali kikumi, n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’
29 So his fellow servant knelt and pleaded with him, "Be patient with me; I'll repay you. “Naye munne n’agwa wansi, n’amwegayirira ng’agamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula.’
30 But he refused, went and threw him into prison until he paid the debt. “Naye amubanja n’agaana okumuwuliriza, n’amuteeka mu kkomera akuumirwe omwo okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna.
31 Seeing what had happened, his fellow servants were deeply grieved, went, and told their master all that had happened." Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye.
32 Then the master summoned him. "Wicked servant," he said, "I forgave you all that debt because you begged me. “Awo mukama we n’atumya omuddu gwe yali asonyiye n’amugamba nti, ‘Oli muddu mubi nnyo. Nakusonyiye ebbanja eryo lyonna, kubanga wanneegayiridde,
33 Shouldn't you also have shown your fellow servant mercy, as I showed you mercy? naye ggwe kyali tekikugwanira kusaasira muddu munno nga nange bwe nakusaasidde?’
34 Furious, his master handed him to the torturers until he repaid the whole debt. Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, n’amukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna.
35 My heavenly Father will do the same to you, unless each forgives his brother from the heart." “Kale ne Kitange ali mu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]